TOP

Bannayuganda muve mu tulo - Museveni

Added 12th August 2020

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba n’abali mu bifo by’obukulembeze okulwana obwezizingirire okuzukusa abantu okutandikawo emirimu eginabawa ssente.


Museveni agambye nti ezimu ku nsulo z'obuggagga kuliko; okwenyigira mu by'obulimi n'obulunzi ebitambulira ku mulamwa gw'okutunda sso ssi kufuna mmere ya kulya, okutandikawo amakkolero n'emirimu emirala ng'ebyamasimu,ebyentambula,okubajja,okukola engatto n'ebirala.

Bino abyogeredde ku mukolo gw'okukuza olunaku lw'ensi yonna olw'abavubuka olwabaddewo eggulo kwe yakungidde abali mu bifo by'obukulembeze okuzuukusa abantu batandike okukola n'ekigendererwa ky'okunoonya ssente.

Yagambye nti weyabeerera omutiini mu myaka gy'enkaaga ye kennyini yenyigira mu kukunga abantu b'omu Ankole okuzukuka bave mu kulowooza mu kukolerera ‘'olubuto lwokka''. N'agamba: ‘' Omukulembeze alina okuba ng'alina omulimu gw'akola abalala okumulabirako'' bwe yagambye.

Yagambye nti abantu naddala abavubuka basaanidde okuzukusa abantu ababaliraanye naddala aba famile bave mu ‘'ttulo'' n'ategeeza nti okubala abantu mu Uganda okwaliwo mu 2014 kwalaga nga Bannayuganda 68 buli 100 baali bakyali mu ttulo. Yasabye abantu bave mu kwogera obwogezi n'awabula n'ababaka ba palamenti n'abakungu ba gavumenti abalala obutayonoona ssente na ngendo za kugenda bweru bazireke zikole ebizimba eggwamha.

Yanenyezza n'amasomero agakanda abazadde ensimbi eziyitiridde n'asaba omuze gukome.

Minisita w'ekikula ky'abantu Frank Tumwebaze yagambye nti abavubuka bangi baganyiddwa mu nteekateeka za gavumenti ez'okubakululakulanya. N'ategeeza nti abalala bayambiddwa okulung'amizibwa ku kugenda ebweru okukuba ekyeyo era mu Burawalabu yokka Bannayuganda abaliyo  bawereza ssente nga obukadde bwa ddoola 600 buli mwaka. Kyokka yagambye nti waliwo okusoomozebwa nti abamu bagendayo mu ngeri emenya amateeka ekissa obulamu bwabwe mu matigga.

Minisita w'eggwanga avunaanyizibwa baana n'abavubuka Nakiwala Kiyingi yasabye abantu okwegendereza ekisobya ku bakazi n'abaana naddala mu biseera bya COVID n'agamba nti abakazi n'abawala abawera 4000 be bakasobezebwako mu bukyanga muggalo gutandika.

Abavubuka nga basabye bayongerwe ebifo by'obuvunaanyizibwa mu gavumenti . Era ne basaba ssente z'okubakulakulanya zonna zissibwe mu nsawo emu basobole okuganyulwamu obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...