TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnamwandu wa Mabirizi asonyiye abapangisa be lenti wa myezi 3

Nnamwandu wa Mabirizi asonyiye abapangisa be lenti wa myezi 3

Added 13th August 2020

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega Complex, Winnie Mabiriizi eky’okusonyiwa abapangisa ssente ez'ebbanga lye bamaze nga tebakola olwa kkalantiini.

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Mabiirizi yavuddeyo ku Mmande n'ategeeza abasuubuzi be mu butongole nga bwe yabasonyiye ssente ez'emyezi esatu.

"Ekirowoozo ky'okusonyiwa abapangisa nakifuna ng'ekirwadde kya Corona kyakatandika oluvannyuma lw'okuntegeeza ku kusoomoozebwa abasuubuzi kwe bayitamu okuddukanya bizinensi zaabwe," Mabiriizi bwe yagambye.

Yayongeddeko nti abamu yabagambira ku mukutu gwa whatsapp kwe beegattira wadde abamu babadde bakyalina okutya nti ayinza okubeefuulira, kwe kuvaayo mu butongole.

Ekikolwa kino kye kyawalirizza abamu ku bakulembeze b'ebibiina abaakulembeddwa ssentebe w'ekibiina kya KATA, Godfrey Katongole n'omumyuka wa ssentebe wa KAAFO, Ibrahim Mboowa okusaba abagagga omuli Drake Lubega, Mansoor Yanga n'abalala okukoppa ekikolwa kya Mabirizi kye yakoze.

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi
basabye bannannyini bizimbe
okutwala ekyokulabirako kya
nnannyini kizimbe kya Nalubega
Complex, Winnie Mabiriizi
eky'okusonyiwa abapangisa
ssente ez'ebbanga lye bamaze nga
tebakola olwa kkalantiini.
Mabiirizi yavuddeyo ku
Mmande n'ategeeza abasuubuzi
be mu butongole nga bwe yabasonyiye
ssente ez'emyezi esatu.
"Ekirowoozo ky'okusonyiwa
abapangisa nakifuna
ng'ekirwadde kya Corona
kyakatandika oluvannyuma
lw'okuntegeeza ku kusoomoozebwa
abasuubuzi kwe bayitamu
okuddukanya bizinensi zaabwe,"
Mabiriizi bwe yagambye.
Yayongeddeko nti abamu
yabagambira ku mukutu gwa
whatsapp kwe beegattira wadde
abamu babadde bakyalina okutya
nti ayinza okubeefuulira, kwe
kuvaayo mu butongole.
Ekikolwa kino kye kyawalirizza
abamu ku bakulembeze b'ebibiina
abaakulembeddwa ssentebe
w'ekibiina kya KATA, Godfrey
Katongole n'omumyuka wa ssentebe
wa KAAFO, Ibrahim Mboowa
okusaba abagagga omuli Drake
Lubega, Mansoor Yanga n'abalala
okukoppa ekikolwa kya Mabirizi
kye yakoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...