TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri abakuumi ba Trump gye baamuddusizza ng'owemmundu alumbye White House

Engeri abakuumi ba Trump gye baamuddusizza ng'owemmundu alumbye White House

Added 13th August 2020

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale bw’emigabo bwe butandise okudda engulu era nti ebyenfuna bya Amerika bizze engulu, omukuumi we n’amukuba akaama: ‘Ssebo wano vvaawo , ate kati kati, by’oyogera sooka obiwummuzeeko , waliwo omutawaana oguguddewo .’

Omukuumi ng'atwala Trump

Omukuumi ng'atwala Trump




Trump yabadde ng'atawulidde, n'ayitaba nti ‘Yes please, What", kko omukuumi we nti: Mukulu tewali budde ngoberera, ebisinga onoobimbuuza edda".

Awo Trump kwe kuddamu nti, ooooh!, awo n'agoberera omukuumi we ow'ekibinja ekya Secret Service ng'akotese omutwe ne bayingira mu mulyango mu ngeri ey'okusaayirira ebigere , ekiwejjowejjo mu ofiisi ye eya Oval Office.

N'abakungu ba gavumenti omwabadde ne Minisita w'eggwanika ly'ensimbi, Steve Mnuchin nabo baagoberedde Trump olwo abaamawulire ne basigala nga tebategedde kigenda mu maaso.

Ne bwe yatuuse mu Oval office abakuumi gye baamututte, Trump yateewuluzza ku ttaayi ye n'abuuza abakuumi be nti , mutawaana ki, lwaki temunninze ne mmaliriza ‘Press Conference' yasoose kulinda kiddako mu kutya okw'amaanyi.

Trump ng'aggyiddwa we yabadde ayogerera.

Eyo y'embeera eyabaddewo Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump bwe yabadde ayogera eri bannamawulire mu maka g'Obwapulezidenti aga White House mu kibuga Washington, omusajja eyabadde n'emmundu bwe yalumbye ekikomera ky'amaka ago eky'obuuma obumpi okuliraana ekisenge Trump kye yabaddemu n'agamba abakuumi nti agenda kukola akatiisa ate nti alina n'emmundu.

Yakutte mu ngoye ze n'aba ng'alina by'aggyamu nga bw'ayanguyiriza okusembera ku lukomera wabula mu bwangu omu ku bakuumi ba Secret Service abakuuma Pulezidenti wa Amerika ne bamusongamu emmundu.

Teyasaze ku by'ayogera ate mu kifo ky'okuwanika emikono, yagenze mu maaso n'okubeera ng'alina emmundu gy'aggya mu nsawo okukkakkana ng'omusajja ono ow'emyaka 51, akubiddwa amasasi abiri mu lubuto.

Poliisi ng'esazeeko ekifo we baakubidde owemmundu.

Okuwuliziganya kwakoleddwa bunnambiro aba Secret Service ab'amasuuti ababeerera ddala okumpi ne Trump ne bayingirawo mu kisenge gye yabadde ayogerera, omu n'amutuukako n'amukuba akaama nti, ‘Ssebo sooka weetegule ekifo,' ne Trump ne yeetegula. Bakulu banne bwe baabadde mu lukiiko nabo baamugoberedde mu ngeri egamba nti ebisigadde tunaabimanyira eyo.

Akaama akaamukubiddwa kaayise ne mu buzindaalo mwe yabadde ayogerera era bonna baakawulidde olwo ne bannamawulire be yabadde ayogera nabo ne beewuunya ekiddako nga teri amanyi.

Ab'amawulire n'abalala abaasigadde mu kisenge baagaaniddwa okuseguka nga tewali akkirizibwa kuvaamu wadde okuyingira era kaabadde kadde ka bunkenke ne bannamawulire abaabadde ne kkamera ezikwata ebintu nga zibiweereza butereevu eri abantu ne bazibaggyisaako.

PULEZIDENTI wa Amerika,
Donald Trump yabadde
wakati mu lukung'aana lwa
bannamawulire ng'attaanya
ensonga ey'obutale bw'emigabo
bwe butandise okudda engulu
era nti ebyenfuna bya Amerika
bizze engulu, omukuumi we
n'amukuba akaama: ‘Ssebo
wano vvaawo , ate kati kati,
by'oyogera sooka obiwummuzeeko
, waliwo omutawaana
oguguddewo .'
Trump yabadde ng'atawulidde,
n'ayitaba nti ‘Yes please, What",
kko omukuumi we nti: Mukulu
tewali budde ngoberera, ebisinga
onoobimbuuza edda". Awo
Trump kwe kuddamu nti, ooooh!,
awo n'agoberera omukuumi we
ow'ekibinja ekya Secret Service
ng'akotese omutwe ne bayingira
mu mulyango mu ngeri
ey'okusaayirira ebigere , ekiwejjowejjo
mu ofi isi ye eya Oval
Offi ce.
N'abakungu ba gavumenti
omwabadde ne Minisita
w'eggwanika ly'ensimbi, Steve
Mnuchin nabo baagoberedde
Trump olwo abaamawulire ne
basigala nga tebategedde kigenda
mu maaso.
Ne bwe yatuuse mu Oval offi
ce abakuumi gye baamututte,
Trump yateewuluzza ku ttaayi
ye n'abuuza abakuumi be nti ,
mutawaana ki, lwaki temunninze
ne mmaliriza ‘Press Conference'
yasoose kulinda kiddako mu
kutya okw'amaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...