TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC ewadde Lukwago bbendera okuvuganya ku bwa Loodi meeya

FDC ewadde Lukwago bbendera okuvuganya ku bwa Loodi meeya

Added 13th August 2020

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye bw’aggyeyo empapula mu kibiina ng’ayagala kimukwase bendera yakyo addemu okwesimbawo ku bwa loodi meeya.

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC


Lukwago eyabadde n'abawagizi be abazze bakuba akadodi nga bamusitudde empapula yazikwasizza akulira akakiiko ka FDC ak'ebyokulonda Boniface Toterebuka Bamwenda eyamukakasizza nti bwasusulwa mu kamyufu k'ekibiina n'ayitamu y'agenda okukwasibwa bendera yakyo addemu okuvuganya ku bwa loodi meeya.

Omukolo gwabadde ku kitebe kya FDC mu Kampala. Lukwago abadde omu ku basuubirwa okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw'eggwanga ku tikiti ya FDC kyokka kino tekikyasobose kuba asazeewo kuddamu kuvuganya ku bwa loodi meeya.

Lukwago n'aba FDC nga bawaga

Lukwago yakamala akaseera katono nga yesozze FDC kyokka ng'aludde ng'akitiza n'omutandisi w'ekibiina kino Col. Kiiza Besigye. Tekimananyika oba Besigye anaddamu okwesimbawo ku bwa Pulezidenti nga kino kireeseewo akasattiro mu bawagizi b'ekibiina nga batakula emitwe okuzuula ayinza okumuddira mu bigere.

Lukwago yagambye nti ekisanja kye ekyasooka ku bwa loodi meeya ekyaliwo wakati wa 2011 ne 2016 kyamusala kuba yafumuulwa mu ofiisi ye era talina kye yakolera bantu. N'agamba nti ekya 2016-2021 akitwala ng'ekisoose ng'okuva mu 2021 okutuuka mu 2026 kyajja okutwala ng'ekyokubiri.    

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...