TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abeegwanyiza entebe y'obwapulezidenti bakyaggyayo empapula

Abeegwanyiza entebe y'obwapulezidenti bakyaggyayo empapula

Added 14th August 2020

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga bwe bajjumbidde okuggyayo empapula.





Ku Lwokubiri abantu ab'enjawulo bazze okukima empapula nga bawaga okuwangula Pulezidenti Museveni mu kalulu ka 2021 akabindabinda.

Bano kwabaddeko John Herbert Nkangabwa 34, ow'e Kiboga eyategeezezza nga bw'ayagala obwapulezidenti bw'eggwanga atereeze ebiremye omukulembeze aliko.

Yagambye nti ebyenfuna by'eggwanga bigudde ekivuddeko obwavu okusensera eggwanga era kino kye kimu ku byagenda okutandikirako singa aba aweereddwa entebe y'obukulembeze bw'eggwanga.

Okutumbula ebyenjigiriza, okutereeza ebitongole bya Gavumenti ssaako okumalawo ebbula ly'emirimu, Nkangabwa yagambye nti bye bimu ku by'agenda okuteekako essira.

Nancy Kalembe enzaalwa y'e Iganga mu Busoga

Abalala abeegwanyiza entebe kuliko; Charles Kafeero, Edward Mutaasa, Edward Niyonzima, Godwin Ssempebwa Batuwadde, Auna Ainebyoona, Simon Ebetu ne Elizabeth Lugudde.

Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama yaton- gozza omulimu gw'okuwa empapula abaagala okwesimbawo ku bwapulezidenti era n'alambika ebisaanyizo bye balina okuba nabyo.

"Abakomyawo empapula balina okusasula obukadde 20, okufuna emikono gy'abalonzi 100 mu buli disitulikiti n'ebirala bye tujja okwesigamako okubakakasa. Nsaba abajja okufuna empapula muleme kujja na bantu bangi olw'okwerinda ekirwadde kya Corona." Byabakama bwe yayongeddeko.

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe
ky'akakiiko k'ebyokulonda abantu
abeegwanyiza entebe y'obwapulezidenti
bw'eggwanga bwe bajjumbidde okuggyayo
empapula.
Ku Lwokubiri abantu ab'enjawulo bazze
okukima empapula nga bawaga okuwangula
Pulezidenti Museveni mu kalulu ka 2021 akabindabinda.
Bano kwabaddeko John Herbert
Nkangabwa 34, ow'e Kiboga eyategeezezza
nga bw'ayagala obwapulezidenti bw'eggwanga
atereeze ebiremye omukulembeze aliko.
Yagambye nti ebyenfuna by'eggwanga
bigudde ekivuddeko obwavu okusensera
eggwanga era kino kye kimu ku byagenda
okutandikirako singa aba aweereddwa entebe
y'obukulembeze bw'eggwanga.
Okutumbula ebyenjigiriza, okutereeza ebitongole
bya Gavumenti ssaako okumalawo
ebbula ly'emirimu, Nkangabwa yagambye nti
bye bimu ku by'agenda okuteekako essira.
Abalala abeegwanyiza entebe kuliko;
Charles Kafeero, Edward Mutaasa, Edward
Niyonzima, Godwin Ssempebwa Batuwadde,
Auna Ainebyoona, Simon Ebetu ne Elizabeth
Lugudde.
Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon
Byabakama yaton- gozza
omulimu gw'okuwa empapula
abaagala okwesimbawo ku
bwapulezidenti era n'alambika
ebisaanyizo bye balina okuba
nabyo.
"Abakomyawo empapula
balina okusasula
obukadde 20, okufuna
emikono gy'abalonzi
100 mu buli disitulikiti n'ebirala bye tujja
okwesigamako okubakakasa. Nsaba abajja
okufuna empapula muleme kujja na bantu
bangi olw'okwerinda ekirwadde kya Corona."
Byabakama bwe yayongeddeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...