TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubi w'e Nakulabye yeekumyeko omuliro emisana ttuku n'afa

Omusuubi w'e Nakulabye yeekumyeko omuliro emisana ttuku n'afa

Added 14th August 2020

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku ogumugye mu bulamu bw’ensi, omuliro agwekumyeko nga yaakatikkula emmaali ye.

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi





Andrew Mukiibi 29 omutuuze w'e Nakulabye mu Amooti zooni  ng'abadde musuubuzi owamaanyi atikkula amanda ,amatooke n'obumonde obuzungu  ng'emirimu gye abadde agikolera ku siteegi y'e Nabulagala w'abadde alina omudaala omunene era ng'abantu mu kitundu basuubula ku ye yavudde mu mbeera n'agula liita ttaano ya petulooli ne yeggalira mu kinaabiro n'akoleeza ekibiriiti ne yeeyokya.

Ku ssaawa 8:00  ez'emisana Mukiibi yakomyewo ng'avuga emotoka ye mweyavudde n'akadomola  era omu ku bapangisa ba Mukiibi, Robert  Ssentogo yannyonnyodde nti yabadde atudde ku lubalaza lwe n'amulaba ng'ayitawo akutte akadomola ka liita ttaano k'ataategedde kirimu era n'amubuzaako olwo n'awetta ng'adda awali ebiyigo.

Abatuuze nga basobeddwa olwa munnaabwe okwekumako omuliro n'afa

Waayise eddakiika  mbale kwe kuwulira amafuta agawunya n'omukka ogunyooka n'asitukiramu okugenda ku kiyigo gye yasanze ng'omuliro gu tuntumuka n'agezaako okugusindika oluggi okweggula kyokka nga Mukiibi alusibye n'amwegayirira aggulewo ne yeerema  naye  kwe kukduka okuyita banne abazze ne bamuyambako okumenya oluggi kyokka baagenze okuggulawa nga Mukiibi amaze okufa.

Poliisi okuva e Nakulabye yeekebejjezza omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago wakati mu miranga n'ebiwoobe ebyabadde biva mu bantu.

Emmaali y'obumonde Mukiibi gye yalese atikkudde nga tanneekumako muliro

Namwandu Namubiru Harriet annyonnyodde nti bba abadde aludde ng'amugamba alina ekizibu kyokka ng'amwesibyeko amubuulire naye nga tamubuulira era ku Lwokubiri lwa  wiiki eno yamukwata n'amutwalako ne ku kkanisa  ne bamubuulira n'alowooza ateredde ate kyamubuuseko okumutegeeza nti yeekumyeko omuliro.

Omugenzi we yeekumiriddeko omuliro abadde yaakagula emmotoka "wish" nnamba UAE.

Nnamwandu wa Mukiibi ng'akaaba

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

MARTIN Dorcus Mbabazi agamba nti ababadde bamuyita ekidomola oba ekikere olw’enkula ye kye kiseera bategeere amaanyi...

Henderson ayolesezza omutin...

OMUTINDO Dean Henderson gwe yayolesezza mu mupiira gwe ogwasoose mu mujoozi gwa ManU gwongedde okuteeka David De...