TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba LDU bazzeemu okukola ebikwekweto ffululabiswa okufufuggaza abamenyi b'amateeka

Aba LDU bazzeemu okukola ebikwekweto ffululabiswa okufufuggaza abamenyi b'amateeka

Added 14th August 2020

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi b’amateeka mu Kampala.

Bya Stuart Yiga

Ebikwekweto bino  byakoleddwa mu kiro ekyakeesezza olunaku Lw'okutaano, nga bakulembedwamu akulira ebikwekweto ku Poliisi ya CPS, Ivan Nduhura.

Bano  era baasazeeko enguudo okwabadde Kampala road, Dustar street, William, Luwum, Johnson, Ben Kiwanuka, ne Kyaggwe road, Wilson, nga bakwata abantu be basanze nga batambula mu biseera bya kaafiyu.

Wabula abasing ku be baasanze babalabudde era ne babasonyiwa obutaddamu kugyeemera biragiro mateeka ga kaafiyu ate abamu ne bakwatibwa ne batwalibwa ku Poliisi yoku CPS.

Kinajjukirwa nti LDU yali yayimirizibwa oluvannyuma lw'abantu okubemulugunyaako nti baali basusse okubatulugunya. Kino kyawaliriza gavumenti okubayimiriza mu ggwanga lyonna.

Wabula ayogerera amagye ga UPDF, mu ggwanga, Brig.Gen. Flavia Byekweso, yategeezezza nti bafunye okwemulugunya mu bantu ab'enjawulo nti abamenyi b'amateeka babadde bazzeemu okwegazaanya nga bye bimu ku byabaleetedde okukomyawo LDU, basobole okuzza embeera mu nteeko.

Byekwaso, yagaseeko nti kumulundi guno, aba LDU basoose kutendekebwa ku ddembe ly'Obuntu neneeyisa y'omubantu nga bakakkalabya emirimu gyabwe.

Ekirala yagambye nti, LDU, baakwenyigira mu bikwekweto bya kiro byokka so si misana nga bwe kyali  mu kusooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...