TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC etongozza akakiiko akanagiyiggira akalulu: Eyinza okuzza Besigye

FDC etongozza akakiiko akanagiyiggira akalulu: Eyinza okuzza Besigye

Added 14th August 2020

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza Besigye akyalina omukisa oguddamu okwesimbawo okuvuganya ku bwa Pulezidenti singa aneesowolayo n’agamba nti akyagala.

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.






Akakiiko akagenda okunoomyeza FDC akalulu mu Kampala ne Wakiso kaatongozeddwa omumyuka wa Pulezidenti w'ekibiina kino era meeya wa munisipaali w'e Lubaga Joyce Ssebuggwawo ku mukolo ogwabadde ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi mu Kampala.

Aba FDC baagambye nti akalulu bagenda kukayigga mu ngeri ya ‘'kiyaaye'' engeri gye watagenda kubaawo kukirizibwa kukuba nkung'ana era bajjanga kuyita enkiiko za kiyita mu luggya poliisi enaagendanga okujja nga bo bavuddewo.

Akakiiko kano kaliko abantu bonna abeesimbyewo mu bifo ebitali bimu mu Kampala ne Wakiso era omwogezi w'ekibiina Ssemujju Nganda yabakuutidde nti balina okuba abajjagujjagu kuba ebiseera ebimu enkiiko zijja kuyitibwanga nga tebababulidde mu bulambulukufu we zigenda kutuula okwewala okutataganyizibwa ab'ebyokwerinda.

‘'Tugenda kukozesanga koodi (ennamba ez'ekyama) okubategeeza ebifo we tunatuulanga era olina okumanya koodi gye tukugambye ekifo ky'etegeeza'' Ssemujju bwe yakuutidde bakakuyege ba FDC mu Kampala ne Wakiso. N'asuubiza nti bajja kubongera obukodyo obulala obw'okuyigga akalulu.

Mu kiseera kye kimu Ssemujju yagambye bannmawulire nti COL. Kiiza Besigye wa ddembe okuddamu okukwatira ekibiina bendera bw'aba ayagadde okuvuganya ku okusunsula abaneesimbawo tekunabaawo.  Abaagala entebe w'obwa Pulezidenti bajja kuggyayo empapula zaabwe wakati wa August 18 ne 19 bazikomyewo nga August 25 ne 26. Olwo balyoke basunsulwe.

Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago y'omu ku bababadde basuubirwa okuvuganya ku bwa Pulezidenti kyokka yabigyemu enta n'alemera ku kifo ky'aliko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....