
Bya Amanda Namayo
Emunyenye ya Uganda Joshua Cheptegei ayingidde mu byafaayo by'ensi Yonna bwataddewo likoda empya mu kutolontoka mita 5000 emaze emyaka 16 nga temenyebwa.
Cheptegei yaleebezza banne 15 okubawangula nga kwotadde n'okutekawo likoda empya y'ensi Yonna eye ddakika 12, sikonda 35 n'obutundu 36.
Empaka zino zibadde zakuduka emirundi 12 n'ekitundu mu kisaawe e Monaco e Bufalansa mu kiro ekikesezza olw'okutaano (August 14).

Munayuganda ono amenyewo likoda ebaddewo eya ddakiika 12, sikonda 37 n'obutundu 35 eyatekebwawo Omu Ethiopia Kenesa Bekele mu 2004.
Teyakomye awo, Cheptegei era amenye likoda ya Yuganda eya eddakiika 12, sikonda 50 n'obutundu 72 eyatekebwawo Moses Kipsiro mu 2007.
Kati Cheptegei yenyumirizza okuba nti yakatekaawo likoda sattu ez'ensi yonna nga kwotadde kilomita 10 ne 15 mu zibuna byaalo (road races).

Ate munne Stephen Kissa yamalidde mu kya 14.
Mu bakazi, Halima Nakaayi akutte kyakutaano mu mita 1000 mu ddakika 2 ne sikonda 32 n'obutundu 12 nga naye amenye likooda ya Uganda ate munne Winnie Nanyondo nakwata kya munana ne 2:36.54 nga era mu season eno ya timing ye ekyasize.