TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusiguze yeekumyeko omuliro mu nnyumba ya nnyinimu n'afiiramu

Omusiguze yeekumyeko omuliro mu nnyumba ya nnyinimu n'afiiramu

Added 17th August 2020

OMUSAJJA atabuse ne yekumako omuliro n'afiira mu nju ya nyinimu bw'akitegedde nti omukazi gw'abadde yakasigula ku mukulu we, ate afunyeyo omusajja omulala era agenda kumulekawo.

Abatuuze nga bawuniikiridde

Abatuuze nga bawuniikiridde

OMUSAJJA atabuse ne yeekumako omuliro n'afiira mu nju ya nnyinimu  bw'akitegedde nti omukazi gw'abadde yaakasigula ku mukulu we, ate afunyeyo omusajja omulala era agenda kumulekawo.
Aguze amafuta ga petulooli n'ageyiira ne yeekumako omuliro n'avumbagira omukazi nga bw'amugamba nti okumulekawo waakiri bafa bombi.
Bino bibadde Kyengera mu ggombolola y'e Busaana mu disitulikiti y'e Kayunga.
Omusajja omuliro gumwokezza n'afa ate omukazi asimattuse n'ebiwundu era apooceza mu ddwaliro e Kayunga.
Ebintu by'omu nnyumba okwabadde n'enkoko byayidde ne bisirika.
Madimbo nga bw'abadde afaanana
Omugenzi ye Godfrey Madimbo era nga yeeyokezza n'omukazi Fionah Wazemba gwe yasigula ku mukulu we Tanansi Musisi gwe yali azaddemu abaana babiri.Madimbo nga tannakola butemu buno yasoose kuzuukusa baana n'abafulumya nga abagamba nti baabadde bazindiddwa ensanafu.
Entabwe weyavudde ku ba famire okutuuza abaagalana bano ne balabula Madimbo ave ku omukazi wa mukulu we ne banenya omukazi olw'ejjoogo n'aleeta omusajja mu nju ya bba.
Nnabakyala w'e kyalo Nalubwama Zulaika agambye nti omukazi yasibyemu ebibye agende e Kawongo, Madimbo gyeyali yawulira nti alinayo omusajja omulala era nga kino kye kyamujje mu mbeera n'asalawo yette n'omukazi mu kifo ky'okumulekawo.
Fionah Wazemba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu