TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga asabye abantu obutagendera ku bya Nankabirwa by'amusiiga enziro

Kadaga asabye abantu obutagendera ku bya Nankabirwa by'amusiiga enziro

Added 18th August 2020

Sipiika wa palamenti, Rebecca Alitwala Kadaga avuddeyo n’ayanukula ku bubaka obuzze buweerezebwa nnampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa ng’amusiiga enziro n’okugaana abantu okumulonda.

Kadaga mu kifaananyi wakati n'abamu ku bakulembeze ba NRM mu Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma abaamuwagidde.

Kadaga mu kifaananyi wakati n'abamu ku bakulembeze ba NRM mu Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma abaamuwagidde.




Kadaga yasabye abantu obutafa ku bubaka bwa Nankabirwa wabula bbo bamanye amazima nti oluusi ebimukyayisa aba alwanirira ebiteeso ebifa ku bantu baabulijjo nga sipiika wa palamenti atalina ludda sso ng'abantu nga Nankabirwa baba baagala agendere ku bya gavumenti nga wadde oluusi biba bikosa abantu.

Okwogera bino, Kadaga yabadde mu nsisinkano n'abakulembeze ku bukiiko obw'enjawulo mu kibiina kya NRM okuva mu disitulikiti okuli; Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma ng'olukiiko luno lwatudde ku Grand Praclos Gardens e Mukono.

Nnampala wa gavumenti Nankabirwa mu bubaka bwe yaweerezza ku ssimu z'abantu butegeeza nga Kadaga bw'aliko abalala b'aweereza sso si kibiina kya NRM nga n'olwekyo tasaanidde kulondebwa kudda ku lukiiko lw'okuntikko olw'ekibiina olwa CEC.

Kadaga mu kifaananyi wakati n'abamu ku bakulembeze ba NRM mu Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma abaamuwagidde.

Kadaga yagambye nti kyewuunyisa okulaba nga ne ggyo ly'abalamu palamenti bwe yawa gavumenti obuwumbi bw'ensimbi okugulira abantu emmere ng'eggwanga liri mu muggalo olwa COVID 19 ate ne bagulamu ebivundu, abantu ng'abo baali tebaagala aveeyo akyogereko n'agamba nti ye tayinza kusirika nga bakola ebyo ebikyayisa gavumenti.

"Era mwalaba bwe navaayo ng'aba UPDF bali ku nnyanja batulugunya abantu, era nsuubira waaliwo okukyusaamu. Kati abantu abo bbo baagala nange nkole nga bbo nsirike nga gavumenti etulugunya abantu," Kadaga bwe yategeezezza.

Wabula mu kukuyega bano abava mu Greater Mukono, yategeezezza nti ye waakugenda mu maaso nga ng'aweereza ewatali kusosola mu bantu nga bbo abalala bwe baagala akole.

Okuva ku kkono, ababaka ba palamenti, Migadde, Ssenyonga, Kadaga, ssentebe wa NRM e Mukono Twahiri Ssebaggala n'omubaka Kumama.

Abeetabye mu nsisinkano eno, mwabaddemu n'ababaka ba palamenti okuli Johnson Muyanja Ssenyonga owa Mukono South, Robert Migadde Ndugwa ow'e Buvuma, Nsamba Kumama okuva e Kayunga ssaako abakulembeze abalala.

Muyanja ne Migadde baalaze ensonga zaabwe lwaki baasazeewo okuwagira Kadaga. Migadde yagambye nti abavuganya bano basaanidde okufuna ensonga ze batunda mu bantu bave mu kuwa obubaka obusosola n'okukutula mu banna NRM kuba ng'okulonda kuno kuwedde ate abawagizi be bamu bagenda kubeetaaga mu kulonda kwa bonna ku ntandikwa y'omwaka ogujja.

Bano baayisizza ekiteeso okuwagira Kadaga nga tebeekutuddeemu nga bagamba nti alina obumanyirivu mu bukulembeze era by'akola tebirumirirwa bantu bokka wabula n'ekibiina kya NRM.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...

Nansimbi (owookubiri ku ddyo) ne bba Dr. Jjagwe ku gumu ku mikolo egisembyeyo mu bulamu bwe.

Nnaabagereka akungubagidde ...

OMUDDUGAVU eyasooka okukulira essomero lya Gayaza Junior School okuva mu 1975 okutuuka 1980, Berry Nansimbi Jjagwe...