TOP
  • Home
  • Amawulire
  • NUP ewangudde NRM mu bitundu gy'ebadde n'amaanyi

NUP ewangudde NRM mu bitundu gy'ebadde n'amaanyi

Added 19th August 2020

ABAVUBUKA ba National Unity Platform (NUP) bawangudde akalulu mu bifo NRM gy’ebadde esinga amaanyi abatunuulizi b’ebyofuzi ne balabula. NUP okuwangula ebifo bino abamu baakalabye ng’akabonero akabawa essuubi ku kalulu ka 2021.

Abavubuka nga basitudde munnaabwe owa NRM eyawagudde wakati mu kibuga mu kulonda.

Abavubuka nga basitudde munnaabwe owa NRM eyawagudde wakati mu kibuga mu kulonda.




Wabula, Pulof. Frederick Golooba Mutebi, omu ku batunuulizi b'ebyobufuzi yagambye nti, akalulu k'abavubuka tekalina kye kategeeza ku ani anaawangula kulonda kwa 2021.

Yagambye nti, anaawangula akalulu ka 2021, kijja kusinziira ku ntegeka n'enkwata y'akalulu n'agamba nti, "NRM eringa musota bw'ogukanga gukubojja, kati NUP yagikanze era egenda kwenyweza okulaba ng'ewangula akalulu." Pulof. Mutebi bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, waliwo ebitundu Pulezidenti Museveni gye bakyamwagala ekiyinza okuyamba NRM okuwangula.

Okulonda kwonna okuzze kubaawo ebiwandiiko by'akakiiko k'eby'okulonda biraga nti, NRM ezze ewangulira waggulu mu bitundu okuli Luweero, Kiboga, Gomba, Butambala, Mubende, Lwengo n'awalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...