TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okulonda kw'abavubuka nga bwe kwagenze mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo

Okulonda kw'abavubuka nga bwe kwagenze mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo

Added 19th August 2020

OKULONDA KW’ABAVUBUKA NGA BWE KWABADDE MU BITUNDU BY’EGGWANGA EBY’ENJAWULO

Abavubuka nga bagoba Mulyannyama mu kulonda okwabaddewo e Makindye.

Abavubuka nga bagoba Mulyannyama mu kulonda okwabaddewo e Makindye.

1E Kiboga, ku ggombolola munaana ezikola disitulikiti, NUP yawanguddeko 4 ne NRM 4. NUP yawangudde Lwamata Town Council, Kiboga Town Council, Kyekumbya ne Bukomero ate NRM n'ewangula Lwamata, Ddwaniro, Kapeke ne Kibiga.

2Masaka, aba NUP nayo baawangudde mu bitundu ebisinga obungi kyokka kino tekibadde kitundu kya NRM era okulonda okusinga, oludda oluvuganya lubadde luwangulayo.

3Disitulikiti y'e Gomba NRM ebadde yajeefuga kyokka ebyabadde byakavaayo byabadde biraga nga NUP ye yawanguddeyo ebifo ebisinga obungi. 4Ate e Luweero, NRM erudde ng'ekukumba era mu kulonda kwa 2016, Museveni yawangula Luweero ku bitundu 55 n'obutundu 79.

Wabula, okulonda mu byabadde byakavaayo, byabadde biraga nti, aba NUP baabadde baleebya. Akulira ebyokulonda e Luweero, Nathan Nabaasa yagambye nti, ebyalo bingi nnyo era baabadde bakyagezaako okukuhhaanya ebyavudde mu kulonda basobola okumanya abawanguzi.

5 Mu Mityana, NRM yalaze nti ekyali ya maanyi bwe yawangudde ebifo ebisinga obungi. Ku babaka bataano abakiikirira Mityana mu palamenti, basatu ba NRM ate babiri tebalina bibiina. Amaanyi gano, NRM yayongedde okugalaga bwe yawangudde ebifo bya bassentebe b'ababavubuka ku byalo 203 ate NUP n'ewangula ebifo 117, ate abeesimbyewo nga tebalina bibiina ne bawangula ku byalo 135.

6E Lwengo, ku byalo 404, yawanguddeko 307, NUP n'ewangula 30 ate abatalina bibiina ne bawangula ebyalo 67.

7 E Mubende NRM yalaze nti ekyali ya maanyi. Ku byalo 531, yawangudde 388, NUP yawangudde 73, FDC kimu ate abatalina bibiina baawangudde 69.

8Munisipaali y'e Lugazi, ku byalo 29, NRM yawanguddeko 28, DP ekyalo 1, ate NUP teyawanguddeko. Mu ggombolola y'e Buikwe, NUP yawangudde ebyalo 15.

9E Iganga, okulonda kwayiise ku byalo bina ekyawalirizza poliisi okubiyingiramu era omuduumizi waayo, David Ndaula yagambye nti, bajja kuddamu okutegeka okulonda. Mu byalo gye kutaayiise, NRM yeeriisizza nkuuli. Mu munisipaali y'e Nakawa mu Kampala, NRM yalaze amaanyi bwe yawangudde ebyalo 127 ate NUP n'ewangulako 27 byokka.

E Makindye, mmeeya waayo, Ali Nganda Mulyannyama baamututte talinnya oluvannyuma lw'abavubuka mu zzooni Eyoomukaaga mu muluka gwa Lusaka okumwekengera nti, yabadde azze kutabula kulonda. 10Owa NUP, Andrew Akankwasa yawangudde n'obululu 67 n'addirirwa owa DP, Baker Sserunjogi eyafunye obululu 2 ate munna NRM, Patrick Wandera yadduse mu lwokaano.

1E Kiboga, ku ggombolola
munaana ezikola disitulikiti, NUP
yawanguddeko 4 ne NRM 4.
NUP yawangudde Lwamata Town
Council, Kiboga Town Council,
Kyekumbya ne Bukomero ate
NRM n'ewangula Lwamata,
Ddwaniro, Kapeke ne Kibiga. 2Masaka, aba NUP nayo
baawangudde mu bitundu ebisinga
obungi kyokka kino tekibadde
kitundu kya NRM era okulonda
okusinga, oludda oluvuganya
lubadde luwangulayo. 3Disitulikiti y'e Gomba
NRM ebadde yajeefuga kyokka
ebyabadde byakavaayo byabadde
biraga nga NUP ye yawanguddeyo
ebifo ebisinga obungi. 4Ate e Luweero, NRM
erudde ng'ekukumba era mu
kulonda kwa 2016, Museveni
yawangula Luweero ku bitundu
55 n'obutundu 79. Wabula, okulonda
mu byabadde byakavaayo,
byabadde biraga nti, aba NUP
baabadde baleebya.
Akulira ebyokulonda e Luweero,
Nathan Nabaasa yagambye
nti, ebyalo bingi nnyo era
baabadde bakyagezaako okukuhhaanya
ebyavudde mu kulonda
basobola okumanya abawanguzi. 5Mu Mityana, NRM yalaze
nti ekyali ya maanyi bwe yawangudde
ebifo ebisinga obungi.
Ku babaka bataano abakiikirira
Mityana mu palamenti, basatu ba
NRM ate babiri
tebalina bibiina.
Amaanyi gano,
NRM yayongedde
okugalaga
bwe yawangudde
ebifo
bya bassentebe
b'ababavubuka
ku byalo 203 ate
NUP n'ewangula
ebifo 117, ate
abeesimbyewo
nga tebalina
bibiina ne bawangula
ku byalo
135. 6E Lwengo,
ku byalo 404,
yawanguddeko
307, NUP
n'ewangula 30
ate abatalina
bibiina ne bawangula
ebyalo 67. 7 E Mubende NRM yalaze nti
ekyali ya maanyi. Ku byalo 531,
yawangudde 388, NUP yawangudde
73, FDC kimu ate abatalina
bibiina baawangudde 69. 8Munisipaali y'e Lugazi,
ku byalo 29, NRM yawanguddeko
28, DP ekyalo 1, ate NUP
teyawanguddeko. Mu ggombolola
y'e Buikwe, NUP yawangudde
ebyalo 15. 9E Iganga, okulonda
kwayiise ku byalo bina ekyawalirizza
poliisi okubiyingiramu
era omuduumizi waayo, David
Ndaula yagambye nti, bajja
kuddamu okutegeka okulonda.
Mu byalo gye kutaayiise, NRM
yeeriisizza nkuuli. Mu munisipaali
y'e Nakawa mu Kampala,
NRM yalaze amaanyi bwe
yawangudde ebyalo 127 ate NUP
n'ewangulako 27 byokka.
E Makindye, mmeeya waayo,
Ali Nganda Mulyannyama
baamututte talinnya oluvannyuma
lw'abavubuka mu zzooni
Eyoomukaaga mu muluka gwa
Lusaka okumwekengera nti,
yabadde azze kutabula kulonda. 10Owa NUP, Andrew Akankwasa
yawangudde n'obululu 67
n'addirirwa owa DP, Baker Sserunjogi
eyafunye obululu 2 ate
munna NRM, Patrick Wandera
yadduse mu lwokaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.