TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abapangisa ku bizimbe bya Drake Lubega bamulangidde obuluvu

Abapangisa ku bizimbe bya Drake Lubega bamulangidde obuluvu

Added 23rd August 2020

ABAPANGISA ku bizimbe by'omugagga Drake Lubega beekalakaasizza ne bamulangira obuluvu n’okweyagaliza ssente yekka kubanga yabakakasa nti abasonyiye emyeezi ebiri kyokka kati abaggadde.






Abamu obwedda boogera amaziga gabayitamu n'okulaga enyiike nga bwe baakava mu muggalo ogubamazeeko ssente zonna kyokka babadde baakamusasula emyezi ebiri ate kati yekyuusizza.

Omu ku bapangisa mu dduuka namba AB10  eyagambye nti ye Julie Nanvule yayombye nti yasasula emyeezi essatu lumu nga omugagga bweyamukakasa . "Buli mwezi nasasula ssente 1,230,000/- eza buli dduuka buli mwezi okumala ekiseera kya myezi essantu. Nkedde okukola nsanze edduuka ligaddwa naye ddala omusajja oyo atwagazaaki" Navule bweyakolimye.

Ssentebe w'ekibiina ekirwanirira abapangisa ekiyitibwa Uganda Tenants needy and squatters Association Kigozi Katanyoleka yayombye nti yaliwo nga Drake Lubega agamba nti asonyiye abasuubuzi ssente za myezi ebbiri era abaagala okukola batandike okumusasula n'omwezi gwa June era bangi ne bakiriza.

Yagambye nti bangi baasasula emyezi ebiri okusobola okubaggulira n'ategeeza nti kati tagenda kuddamu kubaggalira kyokka kimuweddeko Lubega okulaba nti yeekyusizza ate naggalira abasuubuzi. "bannange ono muntu ki gwetulina mu Kampala. Oteesa otya n'abantu ne mukiriziganya ate newayita ennaku ntono abasuubuzi n'obaggalira. Tugenda kumulaba atunyonyole" Katanyoleka bwe yayombye .

Omugagga amadduuka yakedde kugasibako kkufulu ezize ez'eggaali nga tewali akirizibwa kugiggula okugyako ng'agenze mu ofiisi naasasula. Obwedda abakyaala abatunga ebyalaani, abatunda ebitengi balaagyana bayambibwe kyokka nga tewali abaanukula.

Poliisi yazze okukakkanya aembeera kyokka yo nga ebagaana kusala kufulu n'okubawoyaawooya era bangi abaabadde baagala okusala kufulu ne bazivaako.

LUBEGA;

Francies Drake Lubega yegaanye eky'okubasonyiwa ssente ez'emyezi ebiri n'abategeeza nti tebaawuliriza byeyabanyonyola ng'abaggulirawo.

Yagambye nti yabaanjulira enteekateeka gyeyabakolera nga egamba nti omuntu bwaaba alina ssente za myezi essatu mu mpeke zaamusasula, amusonyiwa emyezi ebiri. Yagambye nti eyalina ssente za myezi ebiri mu mpeke ngamusonyiwa omwezi gumu ate eyalina ssente ez'omwezi ogumu ng'amuwa ebbanga okugenda ngasasulako mpola okutuusa zonna lwanaaba azisasula ne ziggwaayo.

Yaweze nti abo abaamutuukirira nga abamumanyi ne bamusaba okubaggulira nga basasuddeko ssente ntono yabakiriza okukola kyokka nga bwebanoonya ssente zonna . Yakalambidde nti ekisonyiwo ky'ebbanga eryemyeezi ebiri yakiteekawo kubapangisa abo abaalina obusobozi okumusasula ssente za myezi essatu lumu  era yabasonyiwa emyezi ebiri.

Kyokka yabayise nti bagenda bateese ng'abantu agenda kubawuliriza kyokka ekisobola okubeeyimirira kyokka ssente nga bamusasudde.

Wabula abamu ku bapangisa abaabadde bakaaba amaziga baamusabye nti abakirize bagyemu ebintu byaabwe babitwaale kubanga amateeka gaalina n'obuluvu bwa ssente obumulimu tabusobola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...