TOP

RUSSIA: Avuganya Putin bamuwadde obutwa

Added 24th August 2020

Olukwe olw’okumuwa obutwali, abaaluluse baaluyisizza mu muwala omubalagavu akola ku nnyonyi eyabadde emuggye mu kibuga Tomsk mu Siberia ku Lwokuna ng’ayolekedde ekibuga Moscow, eta yabumuweeredde mu caayi.

Navalny eyaweereddwa obutwa.

Navalny eyaweereddwa obutwa.

MUNNABYABUFUZI ow'oludda oluvuganya mu Russia abadde afuukidde Pulezidenti Vladimir Putin akayinja mu ngatto asigaddeko kateetera, oluvannyuma lw'abagambibwa okubeera ba mbega ba gavumenti okumulungira obutwa obw'omutawaana.

Alexei Anatolievich Navalny 44, ali mu kasenge k'abalwadde abayi mu ddwaaliro lya Omsk Hospital erisangibwa mu kibuga Omsk ekyesudde 2,200 km (1,367 miles) mu bugwanjubwa bw'ekibuga Moscow.

Olukwe olw'okumuwa obutwali, abaaluluse baaluyisizza mu muwala omubalagavu akola ku nnyonyi eyabadde emuggye mu kibuga Tomsk mu Siberia ku Lwokuna ng'ayolekedde ekibuga Moscow, eta yabumuweeredde mu caayi.

Ekikopo kya caayi, Navalny yakinyweddeko emimiro ebiri gyokka n'awulira kammunguluze n'ekyaddiridde mmeeme kumusiikuuka n'atandika okuboyaana era abayambi be bwe beekengedde nti kirabika butwa, ennyonyi baagikyusirizza ne boolekera ekibuga Omsk mu ddwaaliro wabula baagenze okumuggya mu nnyonyi nga takyamanyi kiri ku nsi.

Abayambi be baalumirizza nti caayi gwe yanyweredde ku nnyonyi kye kyokulya kye yasoose okuteeka mu lubuto wabula olw'okuba caayi yabadde ayokya, obutwa bwayanguye okusaasaana mu mubiri n'azirikirawo.

Bufalansa ne Bugirimaani baabiyingiddemu ne basindika ennyonyi emuggye e Russia okumutwala mu ddwaaliro lya Charite Hospital e Berlin mu German awali abakugu mu kuvumula abalidde obutwa. Cansala wa German Angela Merkel, yagambye nti beetegefu okumuwa obujjanjabi bwonna obwetaagisa.

Abavuganya balumiriza nti olukwe lw'okumuwa obutwa lwavudde mu gavumenti kubanga bwe baamututte mu ddwaaliro, abasawo ne batandika okumukolako, baalabidde awo ng'eddwaaliro lyebulunguddwa abaserikale abaagaanyi abasawo okufulumya bye baazudde nga bamaze okukebera omusaayi.

Ku Lwokutaano enteekateeka zaakoleddwa ne baasindika ennyonyi okuva e Bugirimaani okumuggya mu Omsk Hospital kyokka abasawo abakugu abaamubaddeko ne bategeeza nti yabadde tasaana kuteeka ku nnyonyi kubanga embeera ye teyabadde nnungi.

Kira Yarmysh akulira ekibiina ekirwanyisa enguzi Navalny kye yatandikawo mu 2011, era omwogezi waakyo ye yatadde obubaka ku ‘twitter' n'akakasaa nti baakizudde ng'alina obutwa mu mubiri.

Abavuganya Putin bangi bayigganyizibwa nga noono abadde akimanyi nti bamulondoola. Mu 2012 waliwo Pyotr Verzilov naye baamuwa obutwa era German n'ebiyingiramu okumujjanjaba.

Omwogezi wa Putin ku Lwokuna yategeezezza nti gavumenti yabadde neetegefu okuyambako okutambuza Navalny okumutwala yonna gy'ayagala okumujjanjabira n'amwagaliza okussuuka obulungi.

Yarmysh yategeezezza nti mukama we yagenze mu kafe ku kisaawe nga tannalinnya nnyonyi n'anywawo ekikopo kya caayi omukalu gwe bateebereza nti mwe baamulungidde obutwa. Yasuze ku byuma ebimuyamba okussa.

Aba kkampuni y'ennyonyi eya S7 Airlines ku nnyonyi S7 2614 kwe yabadde atambulira baategeezezza nti talina kintu kyonna kye yaliiridde ku nnyonyi.

EBIKWATA KU ALEXEI NAVALNY:

Navaly y'omu ku bakulembeze abali mu bibiina eby'oludda oluvuganya era nga yagezaako okwesimba mu kalulu k'Obwapulezidenti mu 2018 okuvuganya Putin kyokka akakiiko k'ebyokulonda ne kamulemesa.

Yatandika okufuna ettutumu nga yeesowoddeyo okwanika enguzi eri mu gavumenti ya Putin mu kibiina kya United Russia n'agamba nti kijjudde abamenyi bamateeka era ababbi. Olw'embeera eno bazze bamusiba emirundi egy'enjawulo.

June w'omwaka guno, Putin yategese akalulu okulonda ku nnongoosereza mu ssemateeka ne bamukkiriza okwongera okufuga ebisanja bibiri ayongere ku bisanja bina bye yaakakulembera kyokka enteekateeka eno Navalny yagiyise kuwamba ggwanga.

Mu 2011 baamukwata ne bamusiba okumala ennaku 15 olw'okukulemberamu okwekalakaasa ng'awakanya okubba obululu mu kulonda ababaka ba palamenti.

Yakwatibwa mu 2013 ne bamuggalira nga kigambibwa nti yali yeenyigide mu kulya enguzi kyokka yagamba nti baali bamulanga byabufuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.