TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akasattiro akaabadde mu lumbe lw'omuyimbi wa Gagamel: Abakugubazi babuuse ebibanda abeebyobulamubwe bategeezezzanga yafudde corona

Akasattiro akaabadde mu lumbe lw'omuyimbi wa Gagamel: Abakugubazi babuuse ebibanda abeebyobulamubwe bategeezezzanga yafudde corona

Added 24th August 2020

KAABADDE kaseera kazibu era kasattiro kennyini abakungubazi mu lumbe lw’omuyimbi bwe baabunye emiwabo ng’abakungu b’ebyobulamu babazinzeeko oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti omuntu eyabadde agenda okuziikibwa yabadde afudde bulwadde bwa corona.

Abeebyobulamu nga bakola ku kuziika bokka nga bwe bakuumibwa abaserikale. Mu katoto ye mugenzi Shortcut

Abeebyobulamu nga bakola ku kuziika bokka nga bwe bakuumibwa abaserikale. Mu katoto ye mugenzi Shortcut






Bino byabadde ku kyalo Kyambogo muluka gw'e Kayanja mu ggombolola y'e Lwankoni mu disitulikiti y'e Kyotera. Olumbe lwabadde lwa Allan Masengere, 32, abadde omuyimbi mu kibiina kya kya Bebe Cool (Moses Ssali). Omugenzi abadde akozesa erinnya lya Shortcut yafiiridde Nsambya ku Lwokusatu.

Abakungubazi ng'abasinga baabadde batuuze ku kyalo ekyo n'ebyalo ebiriraanyeewo abaabadde batudde mu tenti bangi baabuuse butebe okweyoka ensiko.

Abaabadde basoose ku layini y'emmere okubaako kye balya, amasowaani buli omu yakasuse gy'asanze olwo ab'empale empanvu n'abakyala abaabadde mu gomesi ne bateekako kakokola tondeka nnyuma.

Bino okubaawo, abeebyobulamu e Kampala baabadde bamaze okutegeeza ku bannaabwe abakwatibwako e Kyotera ku kyabadde kisse omugenzi. Wano ttiimu y'e Kyotera ng'ekulembeddwaamu Dr. Edward Muwanga n'akulira ttiimu erondoola Covid 19 (Survillence Covid Team) mu Kyotera, Dr. Joakim Lubega Wasswa baasitukiddemu okutuuka awaabadde olumbe.

Abakungubazi abasoose okulaba emmotoka z'ebyobulamu nga mulimu abeekapise ebyambalo bo beemuludde mpola. Oluvannyuma nga batuuse awaabadde ttenti, Dr. Muwanga yategeezezza ekyabadde kituuseewo kyokka abakungubazi abamu ne batalinda kuwulira bye yabadde azzaako ne badduka.

Obumu ku butebe abakungubazi kwe badduse mu kidaala.

Abeebyobulamu baalagidde okukebererawo abakungubazi bonna abaabadde bajjidde ku mulambo okuli omuyimbi Bebe Cool, mukyala we Zuena n'abayimbi abalala aba Gagamel n'aba Uganda Funeral Services abaabadde bakola ku by'okuziika. Kino nga kikolebwa baagasseeko okufuuyira eddagala emmotoka zaabwe zonna nga tebannalagirwa kudda Kampala!

Ttiimu y'abeebyobulamu oluvannyuma yaakuliddemu okuziika omugenzi ku kiggya awatali kukkirizzaayo muntu mulala yenna!

Bino nga bigenda mu maaso, Bebe Cool yabadde atudde mu mmotoka ye ng'aliko bannaabwe abalala be yabadde akubira obutatuuka mu lumbe bakome mu kkubo kuba ekifo kyabadde kisaliddwaako!

Dr. Muwanga oluvannyuma yafulumizza ekiwandiiko mwe yalagidde nti ono ye muntu eyasoose okufa Corona n'aziikibwa mu disitulikiti y'e Kyotera n'asaba abantu okwongera okwekuuma obulwadde buno nga bagoberera ebiragiro bya minirsitule y'ebyobulamu.

Abeebyobulamu nga bakebera abayimbi ba Gagamel n'abakkampuni eyabadde ekola ku kuziika.

Rodgers Kiiki omu ku baabadde mu lumbe yannyonnyodde Bukedde nti kaabadde kaseera kazibu Dr. Muwanga bwe yasinzidde ku kazindaalo n'alangirira nti omugenzi yafudde Corona.

"Abantu ebirala tebaabirinze kuba buli omu bakira ayagala kwetegula kibabu. Okutomeregana kwabadde wali n'abalala ne balinnyirwa wansi. Abakugubanzi abaabadde basoose ku layini y'emmere amasowaani buli omu yabadde akasuka bukasusi eri yeetegule ekibabu," Kiki bwe yategeezezza.

Omugenzi yalese abaana babiri abalenzi abaalagiddwa abakungubazi mu lumbe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...