TOP

Engeri gy'olaga omwana omukwano n'atafuna kyejo

Added 27th August 2020

MU nkuza y'abaana, abazadde bangi tebafaayo ku nsonga y’okulaga abaana baabwe omukwano. Ate abalala, bw’amugulira ebyo bye yeetaaga, akitwala nti obuvunaanyizibwa bwe buwedde, era omwana amulaze omukwano.






Brain Ssemanda owa Brian Naturals omukugu mu nsonga z'abaana n'amaka agamba nti kikulu nnyo omuzadde okulaga omwana omukwano, kyokka alina okwegendereza ate n'atamwonoona oba okumukola ekyejo.

Ebimu ku bintu buli muzadde by'ateekeddwa okukolera omwana we mulimu;

1. Okumuwa obudde. Omuzadde okuggyako ng'otegedde omwana wo kye yeetaaga tosobola kumulaga mukwano.

Noolwekyo, waayo obudde omanye ky'asinga okwagala olyoke okimufunire oba bwe kitaba kituufu omuluηηamye ng'omubuulira lwaki tokimufunidde.

2 Mulage nti wooli ku lulwe. Buli mwana ayagala omuntu amulaga nti waali ku lulwe. Okugeza, ssinga abaako kye yeetaaga mukakase nti wooli okukimutuusaako ne bw'otoba na busobozi, waakiri mugumye ate bw'abaako obuzibu bwalimu mutegeeze nti ddala oli ku ludda lwe, bw'aba asoma mulage nti ofaayo okulaba ng'asomera mu masomero amalungi ate nga tebamugoba olw'ensonga yonna.

3 Fuba okumuyingiza mu kusalawo kwonna okuba kukolebwa awaka. Omuto waliwo ebintu by'osobola okumukkiriza n'abaako ekirowoozo ky'aleeta. Okugeza okumubuuza kye munaalya, ekyo kyokka kimuleetera eddembe mu mutima n'amanya nti maama oba taata oba ssenga afaayo ku kusanyuka kwange.

4 Okumutonera ebirabo. Wadde nga mu kiseera kino ssente nzibu, naye ng'omuzadde olina engeri gy'osobola okuyiiyaamu n'omutonerayo akalabo ne bwe kaba katono, ajja kumanya nti omwagala.

5 Okumuyigiriza emirimu. Abazadde abamu bakitwala nti okutuma omwana emirimu kabonero akalaga nti tomwagala. Kino si kituufu, era kyandibadde kirungi bw'obaako ky'okola omwana naye n'omulagira akyenyigiremu.

6 Okubagerera engero n'okunyumyako nabo. Edda omuzadde yatuulanga n'abaana be n'abaako obuboozi bw'abanyumiza n'okubagerera obugero n'okubayimbira obuyimba era kino kyaleetangawo okuseka wakati w'omuzadde n'abaana ne kyongera okulaga abaana omukwano omuzadde gw'alina gye bali.

7. Okufunayo obudde bw'okuzannya nakyo kiraga omwana omukwano. Tewali kye kikuggyako nga taata okufukamira ku ttaka n'ovuga akamotoka n'omwanawo oba okusamba omupiira naye, ne maama bw'otyo osobola okubuuka nabo omuguwa. Bino bireetawo omukwano wakati w'omuzadde n'omwana.

8 Obutakugira mwana eri banne. Omwana buli lw'omuteekako olukomera ennyo ekisusse buli kiseera omugamba tova waka sikulaba ewagundi akulaba ng'atamwagala era atamwagaliza kubaako by'annyumirwa ne banne ekiyinza okukwetamwa, naye bw'onoomuwa ekyanya okuzannyako ne banne waakiri n'omuteerawo ebbanga eggere ajja kumanya maama anjagaliza era mu mutima akitwale nti ayagalwa.

9 Okuwabula. Abazadde bangi baagala nnyo okukangavvula okusinga okuwabula ekireetera abaana okubeetwamwa n'abamu ne baguba so nga ssinga omwana omuwabula mu nsobi gy'akoze n'omubuulirira ajja kumanya omwagala era omwagaliza bulungi ekijja okwongera okuleetawo okwagala wakati wammwe.

10 Weewale okukambuwala. Abazadde bangi bwe banyiiga bakambuwala, ate omwana bw'aba y'amunyiizizza kiyitirira. Buli lw'okambuwalira omwana atuuka ekiseera ng'akutya era nga talina kintu kyonna ky'asobola kukugamba. Ekizibu nti omwana eyeeyisa bwati, tekitegeeza nti akussaamu ekitiibwa, nedda abeera akutya butyi. Ekivaamu oluusi kwe kwewaggula n'ava n'awaka kubanga aba amanyi nti tayagalwa. Kirungi bw'okambuwala, ate ofune akadde omwana omuzze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...