TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnayuganda eyasooka okulondebwa ku bwayinginiya afudde

Munnayuganda eyasooka okulondebwa ku bwayinginiya afudde

Added 28th August 2020

YINGINIYA Christopher Fredrick Kasozi Kaaya, yagenze okufa ng’olugendo lw’atambudde ku nsi alutadde mu bwino.

Abakungubazi mu maka g’omugenzi Kaaya e Kanyanya.

Abakungubazi mu maka g’omugenzi Kaaya e Kanyanya.





Bwino yamulese mu kitabo kye, kye yawandiise ekya "90 years of Noble Character" era yakyanjula ku kabaga kwe yajaguliza emyaka 90 ku ntandikwa y'omwaka guno.

Kaaya ye Munnayuganda eyasooka okuba yinginiya mu kitongole ky'amazzi ekya National Water and Sewerage Corporation mu Kampala. Yafiiridde ku myaka 90 mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu mu ddwaaliro lya The Surgery e Naguru.

Mary Grace Namukasa KaAya, nnamwandu w'omugenzi yategeezezza nti omugenzi aludde ng'atawAanyizibwa obulwadde bwa puleesa, sukaali ne kookolo. "Yafudde ku Lwokusatu emisana ku ssaawa 10:20 ez'ekiro." Nnamwandu wa Kaaya bwe yategeezezza.

We yafiiridde nnamwandu yagambye nti babadde banaatera okuweza okuweza emyaka 59 mu bufumbo nga 16, December omwaka guno.

Yagattibwa ne Mary Grace Namukasa mu bufumbo obutukuvu nga December 16, 1961 mu kkanisa ya All Saints. Alese bamulekwa mukaaga.

Omugenzi waakuziikibwa leero mu maka ge e Kanyanya.

KAYA Y'ANI?

1Omugenzi Kaya yazaalibwa nga January 17, 1930.

2Okusoma yakutandikira ku Mackay Primary School-Nateete.

3Mu 1945 yeegatta ku Aggrey Memorial Secondary School,

Bunamwaya. Omugenzi yasomerako ku King's College Buddo gye yaliko omukulembeze w'abayizi(prefect).

Oluvannyuma yafuna sikaala ne yeegatta ku Trivandrum University gye yasomera ddiguli y'obwayinginiya okumala emyaka mukaaga.

EMIRIMU GYE

  • Mu 1963-1965, yakolerako mu kitongole kya Kampala City Council nga Senior assistant Engineer.
  • 1965-1973, yalondebwa okubeera maneja (Engineer Manager)w'ekitongole kya Kampala and District Water Board kati ekiyitibwa National Water and Sewerage Corporation. l1975-1988, yatandikawo kkampuni eya Turkey Engineering Consultant.
  • 1977-2004, yalondebwa okuvunaanyizibwa ku nkulaakulanya y'ekizimbe kya Albert Cook n'ebisulo bya ba nnaasi e Mengo. lYakulirako ekibiina kya Uganda Insititute of Professional Engineers. A
  • badde mmemba ku lukiiko olufuzi olw'eddwaaliro ly'e Mengo. n'olukiiko olufuzi ku ssomero lya Old Kampala SSS. Yaliko ssentebe w'ekibiina kya NRM e Kawempe.
  • Yaliko ssentebe wa LC I Wampamba zzooni gy'abadde abeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...

MOHAMMED Ssegirinya ayimbud...

MOHAMMED Ssegirinya bamuyimbidde mu kkomera e Nalufeenya gy'amaze ennaku mukaaga bwe yakwatibwa ng'awa amawlire...

Walukagga bamugguddeko emis...

POLIISI eggudde emisango ebiri ku Mathias Walukagga omuli okukozesa erinnya lye okukunga abantu okwekalakasa ku...

Dr. Katebalirwe Amooti.

AKAKIIKO K'EDDEMBE LY'OBUNT...

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kavumiridde ebikolwa by'okutyoboola eddembe ly'obuntu ebyetobese mu kwegugunga okwabaddewo...

Looya Kityo.

Looya Kityo ne mukazi we ba...

MUNNAMATEEKA w'Ekika ky'Ekkobe bamubikidde mukyalawe nti afudde naye n'akutuka. John Fredrick Kityo, eyatandikawo...