TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Batandise omuyiggo gw'abakozi ba NRM abaabulankanya ssente

Batandise omuyiggo gw'abakozi ba NRM abaabulankanya ssente

Added 31st August 2020

EKIBIINA kya NRM kitandise omuyiggo gw'abamu ku bakozi baakyo mu distulikitti ezenjawulo okwetoolola eggwanga abaliira ku nsiko olw'okubulankanya ssente Pulezidenti Museveni ze yawaayo okuyambako ku by'entambula by'abaakwatira ekibiina bbendera okuli  abavubuka, abakadde n'abalema mu kulonda kwabwe okw'obukiiko bw'ebyalo okw'eggwanga okwakomekkerezeddwa.

Akulira ebyamawulire mukibiina kya NRM Emmanuel Dombo ategeezezza abaamawulire nti abamu kubabulankanya ssente zino okuva mudistulikitti ye Buikwe, Luweero ne Busoga baakwatidwa era nga omuyiggo gukyagenda mu maaso ogw'okukwata abalala okuva mu bitundu ebirala.

Ekibiina kya NRM kyateekateeka obuwumbi obusoba mu 6 ezaalina okutemwa temwamu ziweebwe abaakikwattira bbendera ku buli kyalo mu kulonda kuno wabula ebyembi ssente ezisinga obungi zaabulankanyizibwa nga ne gye buli eno abaalina okuziweebwa tebazifuna nga .

Okusinzira ku Dombo kubyaalo 68700 ebiri muggwanga buli kyaalo NRM yalinako abagikwatide bendera 19 , nga kubano abantu 19 buli omu yalina okuweebwa ssente 5000 zimuyambeko mu byentambula wabula ekyennaku ssente zino mu byalo ebimu zaabulankanyizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...