TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mao aleese Ssekitto owa KACITA battunke ne Lukwago ku kya Loodi Meeya

Mao aleese Ssekitto owa KACITA battunke ne Lukwago ku kya Loodi Meeya

Added 31st August 2020

PULEZIDENTI wa DP, Mao asuubirwa ekiseera kyonna okwanjula omwogezi w’ekibiina ky’abasuubizi ekya KACITA, Hajji Issa Ssekitto nti DP gw’ereese ku bwa Loodi Meeya okuvuganya Hajji Erias Lukwago eyavudde mu DP ne yeegatta ku FDC.

Enteeseganya wakati wa Mao ne Ssekitto nga zirimu n'abamu ku basuubuzi ab'amaanyi mu Kampala zimaze omwezi mulamba mu kyama era waliwo ekyatuukiddwaako mu wiiki ewedde nga kati Mao ateekateeka okulangirira Ssekitto nga mmemba wa DP amukwase ttikiti y'ekibiina okuvuganya ku bwa Loodi Meeya.

Ensonda mu DP zaategeezezza nti okuva omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleone, DP gwe yali esibiddeko olukoba okuvuganya ku bwa Loodi Meeya lwe yabaabulira ne yeegatta ku kibiina kya National Unity Platform (NUP).

Mao abadde atakula omutwe ng'anoonya omusajja enjasabiggu asobola ‘okunywesa ‘ Lukwago amazzi mu kalulu k'obwa Loodi Meeya okutuusa lwe baamuzingiridde Ssekitto.

Ssekitto amanyiddwa nnyo mu byobusuubuzi n'ebyenfuna kyokka n'ebyobufuzi abitegeera. Era mu 2016 yalina ekirowoozo ekyesimbawo ku bubaka bwa Palamenti okukiikirira Bamunanika kyokka n'abiggyamu enta ku ssaawa envannyuma.

Mao yasoose kutuma babaka ab'enjawulo eri Ssekitto naddala basuubuzi banne okumumatiza akkirize ttikiti ya DP ku bwa Loodi Meeya era ababaka bwe baddizza Mao amawulire nga galaga nti Ssekitto alabika ajja kukkiriza, Mao naye kwe kumukubira essimu ne bakkaanya okusisinkina maaso ku maaso .

Ensonda zaategeezezza nti Mao yennyini y'awomye omutwe mu nteeseganya zino ng'ali n'akola nga Ssaabawandiisi wa DP, Dr. Gerald Siranda n'abalala nga ssentebe wa DP mu Kampala, Farouk Ssentongo Nambaale era baasoose kutuukirira lukiiko lwa KACITA ne balusaba lukkirizise Ssekitto okwesimbawo.

Omwogezi wa ofiisi ya pulezidenti wa DP, Fred Mwesigwa yategeezezza Bukedde nti, mu kiseera kino DP eri mu kwogerezeganya n'abantu bangi okulaba nga beegatta ku kibiina n'abamu abaasangiddwa nga bammemba kyokka nga babadde tebeesimbawo, baakubasikiriza beesimbewo bongere amaanyi mu kibiina.

Ensonda mu DP zaategeezezza nti Mao ne Ssekitto baakasisinkana emirundi egy'enjawulo era balina we batuuse nga kati kisuubirwa nti Mao agenda kulangirira mu bbanga ery'okumpi kubanga n'ekiseera ekyokugaba tikiti ez'ekibiina kigenda kuggwaayo.

Bukedde bwe yatuukiridde Ssekitto yategeezezza nti abiwulira nti waliwo abamwagaliza ekifo ekyo kyokka ajja kutuuza bannamawulire ababuulire bw'anaaba alina ky'asazeewo ku nsonga eyo kyokka mu kiseera kino talinaawo ky'ayosobola kubyogerako.

Akulira DP mu Kawempe, Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola yategeezezza Bukedde nti mu kiseera kino, Mao atadde essira mu kuzimba DP ng'anoonya abantu ab'omuzinzi naddala abayivu okutwala ebifo ebyobukulembeze .

LWAKI MAO ALEESE SSEKITTO

Musuubuzi omugundiivu, alina ddiguli mu by'obusuubuzi okuva e Nakawa era omuganzi mu basuubuzi okwetooloola Kampala ayogera eddoboozi lyabwe ne lituuka.

Ate nga bazze boogera nti abasuubuzi abamaduuka tebakkaanya na Lukwago kubanga y'awagira abatembeeyi okusigala ku nguudo ekintu ekikosa abaamaduuka.

Aba DP balowooza nti olw'okuba Ssekitto afaananya ebintu abiwerako ne Lukwago okuli eddiini n'eggwanga, kigenda kuyamba okussaawo okuvuganya okw'amaanyi.

Ssekitto yasoma ebyenfuna ate ng'aludde mu busuubuzi amanyi ebizibu byabwe ebibanyiga okuva ku misolo gye basasula n'ebisale by'obupangisa ebibaleega.

ABAAGALA EKIFO ABALALA

DP egenze okuperereza Ssekitto nga Loodi Meeya, gye buvuddeko ebadde esibidde ku Joseph Mayanja (Chameleone) kyokka aba DP Block bwe baabadde bagenda mu NUP naye mwe yagendedde.

lLukwago yamaze dda okuggyayo empapula mu kibiina kye ekipya ekya FDC.

lLatiff Ssebaggala, ng'agenda kujjira mu NUP era essaawa yonna waakulangira mu butongole.

lNabilah Naggayi

l Hajji Naser Sebaggala

lDaniel Kazibwe (Rag Dee),

lAhmed Boogere Masembe ne Godfrey Nyakana Amooti. Bano balinze kamyufu ka NRM.

PULEZIDENTI wa DP, Mao
asuubirwa ekiseera kyonna
okwanjula omwogezi w'ekibiina
ky'abasuubizi ekya KACITA, Hajji
Issa Ssekitto nti DP gw'ereese ku
bwa Loodi Meeya okuvuganya
Hajji Erias Lukwago eyavudde mu
DP ne yeegatta ku FDC.
Enteeseganya wakati wa Mao
ne Ssekitto nga zirimu n'abamu
ku basuubuzi ab'amaanyi mu
Kampala zimaze omwezi mulamba
mu kyama era waliwo ekyatuukiddwaako
mu wiiki ewedde nga kati
Mao ateekateeka okulangirira
Ssekitto nga mmemba wa DP
amukwase ttikiti y'ekibiina okuvuganya
ku bwa Loodi Meeya.
Ensonda mu DP zaategeezezza
nti okuva omuyimbi Joseph
Mayanja amanyiddwa nga
Chameleone, DP gwe yali esibiddeko
olukoba okuvuganya ku
bwa Loodi Meeya lwe yabaabulira
ne yeegatta ku kibiina kya
National Unity Platform (NUP).
Mao abadde atakula omutwe
ng'anoonya omusajja enjasabiggu
asobola ‘okunywesa ‘ Lukwago
amazzi mu kalulu k'obwa Loodi
Meeya okutuusa lwe baamuzingiridde
Ssekitto.
Ssekitto amanyiddwa nnyo
mu byobusuubuzi n'ebyenfuna
kyokka n'ebyobufuzi abitegeera.
Era mu 2016 yalina ekirowoozo
ekyesimbawo ku bubaka bwa
Palamenti okukiikirira Bamunanika
kyokka n'abiggyamu enta ku
ssaawa envannyuma.
Mao yasoose kutuma babaka
ab'enjawulo eri Ssekitto naddala
basuubuzi banne okumumatiza
akkirize ttikiti ya DP ku bwa Loodi
Meeya era ababaka bwe baddizza
Mao amawulire nga galaga
nti Ssekitto alabika ajja kukkiriza,
Mao naye kwe kumukubira
essimu ne bakkaanya
okusisinkina maaso ku
maaso .
Ensonda zaategeezezza
nti Mao yennyini
y'awomye
omutwe mu
nteeseganya
zino ng'ali
n'akola nga
Ssaabawandiisi
wa DP, Dr. Gerald
Siranda n'abalala
nga ssentebe wa
DP mu Kampala,
Farouk Ssentongo
Nambaale era
baasoose kutuukirira
lukiiko lwa
KACITA ne balusaba lukkirizise
Ssekitto okwesimbawo.
Omwogezi wa ofiisi ya pulezidenti
wa DP, Fred Mwesigwa
yategeezezza Bukedde nti, mu
kiseera kino DP eri mu kwogerezeganya
n'abantu bangi okulaba
nga beegatta ku
kibiina n'abamu
abaasangiddwa
nga bammemba
kyokka
nga babadde
tebeesimbawo,
baakubasikiriza
beesimbewo
bongere
amaanyi
mu
kibiina. Ensonda mu DP zaategeezezza
nti Mao ne Ssekitto baakasisinkana
emirundi egy'enjawulo
era balina we batuuse nga kati
kisuubirwa nti Mao agenda kulangirira
mu bbanga ery'okumpi
kubanga n'ekiseera ekyokugaba
tikiti ez'ekibiina kigenda kuggwaayo.
Bukedde bwe yatuukiridde
Ssekitto yategeezezza nti abiwulira
nti waliwo abamwagaliza ekifo
ekyo kyokka ajja kutuuza bannamawulire
ababuulire bw'anaaba
alina ky'asazeewo ku nsonga eyo
kyokka mu kiseera kino talinaawo
ky'ayosobola kubyogerako.
Akulira DP mu Kawempe,
Munnamateeka Erias Luyimbazi
Nalukoola yategeezezza Bukedde
nti mu kiseera kino, Mao
atadde essira mu kuzimba DP
ng'anoonya abantu ab'omuzinzi
naddala abayivu okutwala ebifo
ebyobukulembeze .
LWAKI MAO ALEESE SSEKITTO
Musuubuzi omugundiivu, alina
ddiguli mu by'obusuubuzi okuva
e Nakawa era omuganzi mu basuubuzi
okwetooloola Kampala ayogera
eddoboozi lyabwe ne lituuka.
Ate nga bazze boogera nti abasuubuzi
abamaduuka tebakkaanya
na Lukwago kubanga y'awagira
abatembeeyi okusigala ku nguudo
ekintu ekikosa abaamaduuka.
Aba DP balowooza nti
olw'okuba Ssekitto afaananya
ebintu abiwerako ne Lukwago
okuli eddiini n'eggwanga, kigenda
kuyamba okussaawo okuvuganya
okw'amaanyi.
Ssekitto yasoma ebyenfuna ate
ng'aludde mu busuubuzi amanyi
ebizibu byabwe ebibanyiga okuva
ku misolo gye basasula n'ebisale
by'obupangisa ebibaleega.
ABAAGALA EKIFO ABALALA
DP egenze okuperereza Ssekitto
nga Loodi Meeya, gye buvuddeko
ebadde esibidde ku Joseph Mayanja
(Chameleone) kyokka aba
DP Block bwe baabadde bagenda
mu NUP naye mwe yagendedde.
lLukwago yamaze dda okuggyayo
empapula mu kibiina kye
ekipya ekya FDC.
lLatiff Ssebaggala, ng'agenda
kujjira mu NUP era essaawa yonna
waakulangira mu butongole.
lNabilah Naggayi
l Hajji Naser Sebaggala
lDaniel Kazibwe (Rag Dee),
lAhmed Boogere Masembe ne
Godfrey Nyakana Amooti. Bano
balinze kamyufu ka NRM.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC ng'ayogera eri abantu.

Ab'e Bukomansimbi mwewale e...

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala...

Isma yeetondedde Full Figur...

Isma abeera ku mikutu gya sosolo midiya ng'ayogerera banne amafuukule kyaddaaki yeetondedde Full Figure gwe yavuma...

Isma atabukidde Bajjo olw'o...

Isma atera okubeera ku mikutu gya sosolo midiya egy'enjawulo ng'avuma abantu n'okuboogerera ebikankana atabukidde...

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda abakulembeze b'aka...

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde...

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

'Pulezidenti tuyambe ku mug...

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde...