TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalwadde ba Corona abatali bayi bajjanjabirwe waka - Basawo

Abalwadde ba Corona abatali bayi bajjanjabirwe waka - Basawo

Added 31st August 2020

ABASAWO abeegattira mu kibiina kya Uganda Medical Association (UMA), bawabudde Gavumenti ku ngeri ennuhhamu abalwadde ba Corona gye basaaniddde okukwatibwamu n’okujjanjabibwa naddala mu kiseera kino ng’emiwendo gy’abalwadde gigenda girinnya.

Dr. Muhereza (ku kkono) ne Dr. Asiimwe.

Dr. Muhereza (ku kkono) ne Dr. Asiimwe.




Basabye abantu ababeera bazuulidwa ne Corona naye nga si bayi, bajjanjabirwe waka nga bateereddwako ebiragiro okusinga okutwalibwanga mu kalantiini.

Dr. Richard Idro, akulira abasawo mu kibiina kino, yategeezeza nti bagenze okukitunulamu nga balaba ssente z'omuwi w'omusolo nnyingi ezitokomoka mu kukuumira abantu abatali balwadde nnyo mu kalantiini kubanga abasinga si bayi, balina bubeezi bubonero era basobola okujjanjabirwa awaka waabwe.

Alambulude nti ebiseera ebisinga abasawo buli lwe bagendako mu woodi okukebera ku bantu nga bano babasanga bazannya matatu, nga bali ku WhatsApp oba nga beekubya bifaananyi na kwesekera kuba tebalina wabaluma.

Bano bonna Gavumenti eteekeddwa okubalabirira mu by'okulya n'engeri endala nnyingi mu bbanga lyonna lye bamala mu kalantiini.

" Weesanga ng'omuntu atwaliddwa mu kalantini ebbanga ly'amala mu ddwaaliro erya wiiki ebbiri oba esatu Gavumenti emusaasaanyirizaako obukadde obusoba mu busatu," Dr. Idro bwe yategeezezza bannamawulire ku Lwokutaano.

Dr. Frank Asiimwe yannyonnyodde nti okusinziira ku kunoonyereza kwe baakoze baakizudde nti ku bantu abatwalibwa mu kalantini mu malwaliro ga Gavumenti okujjanjabibwa 80 ku buli 100 tebabeera na bubonero bw'amaanyi, 15 babeera n' obubonero butono ddala era nga baatano bokka be babeera abayi.

Yagambye nti kino kitegeeza nti bano ebitundu 95 ku buli 100 bandibadde nga bajjanjabibwa waka nga bateekeddwako ebiragiro bye balina okugoberera naddala engeri y'okwerabiriramu n'obutakkirizibwa kuva waka okumala ekiseera ekigere, okutuusa nga bawonedde ddala, ng'emu ku ngeri y'okuziyiza okusaasanya obulwadde.

"Tusaba Gavumenti eteekewo ambyulensi nga zirimu abasawo waakiri ku buli ggombolola nga bano bayambako okukebera ku balwadde ababeera awaka era singa oli aba agaanye okuwona basobola okumuddusa amangu mu ddwaaliro," bwe yagambye.

Ssaabawandiisi w'ekibiina kino, Dr. Mukuzi Muhereza yagambye nti baagala ne lizaati z'abakebereddwa Corona zikomezebwengawo mangu kiyambeko okuziyiza okusaasaanya obulwadde buno naddala ng'oli abulina naye nga tamanyi.

Mu ngeri y'emu, baagala abasawo abali mu malwaliro g'obwannanyini bongere okubangulwa ku ngeri y'okujjanjabamu aba Corona kubanga abamu ku bajjanjabirwayo bamaliriza bafudde olw'okuba tebaweebwa bujjanjabi bulungi.

dwa mu kalantini ebbanga ly'amala
mu ddwaaliro erya wiiki ebbiri oba
esatu Gavumenti emusaasaanyirizaako
obukadde obusoba mu
busatu," Dr. Idro bwe yategeezezza
bannamawulire ku Lwokutaano.
Dr. Frank Asiimwe yannyonnyodde
nti okusinziira ku kunoonyereza
kwe baakoze baakizudde nti ku
bantu abatwalibwa mu kalantini mu
malwaliro ga Gavumenti okujjanjabibwa
80 ku buli 100 tebabeera na
bubonero bw'amaanyi, 15 babeera
n' obubonero butono ddala era
nga baatano bokka be babeera
abayi. Yagambye nti kino kitegeeza
nti bano ebitundu 95 ku buli 100
bandibadde nga bajjanjabibwa waka
nga bateekeddwako ebiragiro bye
balina okugoberera naddala engeri
y'okwerabiriramu n'obutakkirizibwa
kuva waka okumala ekiseera
ekigere, okutuusa nga bawonedde
ddala, ng'emu ku ngeri y'okuziyiza
okusaasanya obulwadde.
" Tusaba Gavumenti eteekewo
ambyulensi nga zirimu abasawo
waakiri ku buli ggombolola nga
bano bayambako okukebera ku balwadde
ababeera awaka era singa oli
aba agaanye okuwona basobola okumuddusa
amangu mu ddwaaliro,"
bwe yagambye.
Ssaabawandiisi w'ekibiina kino,
Dr. Mukuzi Muhereza yagambye nti
baagala ne lizaati z'abakebereddwa
Corona zikomezebwengawo mangu
kiyambeko okuziyiza okusaasaanya
obulwadde buno naddala ng'oli
abulina naye nga tamanyi.
Mu ngeri y'emu, baagala abasawo
abali mu malwaliro g'obwannanyini
bongere okubangulwa ku ngeri
y'okujjanjabamu aba Corona
kubanga abamu ku bajjanjabirwayo
bamaliriza bafudde olw'okuba
tebaweebwa bujjanjabi bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Nuhu Muzaata.

Kitalo: Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga November 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu...

Sheikh Muzaata

Kitalo Sheikh Muzaata afudde

 KITALO SHEIKH MUZAATA AFUDDE Kitalo! Sheikh Nuhu Muzaata Bbate afudde!. Ono abadde mu ddwaaliro ya International...

Harriet Nakwedde eyagenze okulambula ku Bukirwa mu ddwaaliro.

Maama eyakubwa ttiyaggaasi ...

MAAMA w'abaana Justine Bukirwa 45, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi mu mbugo ne kamwabikiramu, avundira mu kalwaliro...

Basajja ba Bobi be baakubyemu ttiyaggaasi nga babuna emiwabo.

Nobert Aliho musajja wa Bob...

Abawagizi ba Bobi Wine ababadde batambulira ku kabangali bakiguddeko poliisi bwebakubyemu obukebe bwa ttiyaggaasi...

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...