TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi efulumizza olukalala lwa akeedi ezitagoberera mateeka ga COVID

Poliisi efulumizza olukalala lwa akeedi ezitagoberera mateeka ga COVID

Added 31st August 2020

Enanga ng'ayogera

Enanga ng'ayogera

POLIISI efulumizza olukalala lw'akeedi n'amaduuka amanene mu Kampala agalemeddwa  okussa mu nkola ebiragiro by'okwerinda ssenyiga wa Covid 19 n'erabula okuzziggala singa tezikyusa  mu nkola.

Poliisi era erabudde nti eyolekedde okutandika okukwata abasaabalira ku bodaboda ne takisi abalemeddwa okwambala masiki n'abo abakkiriza okubatikka akabindo singa tebeddako.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga yagambye bannamawulire nti waliwo akeedi n'ebizimbe ebimu ebisizza obulungi mu nkola amateeka g'okulwanyisa ssenyiga wa Covid 19 kyokka n'agamba nti waliwo endala 25 ezikyeremye era bwe ziteddeko eyolekedde okubaako ky'ekolawo.

Akeedi n'ebizimbe ebirala ebitagoberera mateeka ga kulwanyisa Covid mulimu; Nansamba arcade , Fatia  plaza, Sun city arcade, e Towers, Zainabu aziz , Superior complex, Mutumba plaza, Kasiwukira plaza, Quaricell house, God's Grace  arcade , Majestic plaza, White house arcade, Nabanja arcade, Shamba complex, Shawuliyako Plaza, Trade link arcade, Mini price plaza, Ssembatya plaza , French Plaza, Total Plaza ne Kabale plaza.

Enanga era yagambye nti Ssabaduumizi  wa poliisi Okoth Ochola yalagidde abaduumizi  ba poliisi mu bitundu ebyenjawulo okukolagana n'abantu ba bulijjo abakola emirimu egitali gimu okugeza aba takisi, aba bodaboda, abasuubuzi n'abalala okwekolamu obukiiko obugenda okulwanyisa ssenyiga.

Obukiiko bugenda kukolagana ne poliisi okulaba nga bussa mu nkola amateeka g'okulwanyisa ssenyiga mu mirimu gino.

Yasiimye aba ppaaka ya takisi empya olw'amaanyi ge batadde mu kulwanyisa ssenyiga nga batuuse n'okugaana abasaabaze abatalina masiki okuyingira mu takisi.

Yagambye nti pikipiki za bodaboda ezikununkiriza mu 1400 zaayoleddwa mu Kampala olw'okumenya ebiragiro bya COVID 19. N'agamba nti ezimu zitikka abasabaze abasukka mu omu n'endala okutambuza abatalina masiki wamu n'okutambula ng'essaawa zaa kafyu zituuse.

Yategeezezza boolekedde okutandika okukwata abasabaze abatambulira ku pikipiki mu ngeri ezimenya amateeka ga COVID 19.

Ku bannabyabufuzi abakuba enkung'ana mu ngeri emenya amateeka , Enanga yagambye nti abamu batandise okukwatibwa n'okuvunaanibwa.

N'agamba nti omubaka Mbwatekamwa Gafa ayagala okuba omubaka wa Igara West e Bushenyi  ne Kezio Mbogo ayagala eky'e Budaka bakwatiddwa ng'akung'anyizza abantu mu ngeri emenya amateeka  g'okulwaanyisa COVID 19.Kyokka baatereddwa ku kakalu ka poliisi wadde faiyiro zaabwe zikyaliwo.

Mu ngeri y'emu yagambye nti omubaka wa palamenti Thomas Tayebwa poliisi emwetaaga annyonnyole ku musango gw'okuwewenyula abakozi ba Umeme kibooko ogwamuwawabirwa poliisi e Katwe.

Yategeezezza nti wadde  abakubwa embooko okwali Bonny Bukenya ne Edrwad Masembe bagamba nti batuuka ku kukkaanya n'omubaka ensonga zikome awo kyokka waliwo omusango ogwali gumuwawaabiddwa e Katwe era poliisi ekyamwetaaga wadde yaggyeeko essimu ye.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Omusajja alinnye omuti gw'a...

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye...

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo adduse mu ggw...

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta. Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu...

Bannaddiini mu kuziika omugenzi Kibuuka Musoke.

Amagye ga Gavumenti ya Ethi...

ADDIS ABABA, Ethiopia ABANTU 750 ababadde beekwese mu Klezia bazingiddwaako amagye ne battibwa kirindi. Abamu...

Amaka Maj. Zizinga  (mu katono ku kkono) w’abadde abeera.

Ekiraamo kya Zizinga kiwuun...

EKIRAAMO kya Maj. Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga 85, kyasomeddwa mu Lutikko e Namirembe, abakungubazi ne bawuniikirira....

Hajji Jamir Ssebalu.

'Abakozi mufeeyo ku mirimu ...

Omukugu mu by'obusuubuzi n'okusomesa abantu ku ntambuza y'emirimu n'enkwata ya ssente, Hajji Jamir Ssebalu akubirizza...