TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FUSO etomedde omuvuzi wa bboodabbooda n'afiirawo e Mpererwe

FUSO etomedde omuvuzi wa bboodabbooda n'afiirawo e Mpererwe

Added 2nd September 2020

EMMOTOKA ekika kya FUSO nnamba UAN 611U eremeredde omugoba waayo okukkakkana ng’esse omuntu e Mpereerwe ssaako n’okulumya abawera.

Afiiridde mu kabenje kano ategeerekese nga Patrick Katende 35, omutuuze w'e Gayaza nga muvuzi wa bbooda.

Emmotoka ekoze akabenje ebadde ettise mmwanyi ng'eva Kawempe- Ttula okudda ku lw'e Gayaza.

Omugenzi abadde akyaamye ku mudaala gwa chapati e Mpereerwe kyokka bwe yalabye ng'emmotoka eggya okutomera piki ye nnamba UEU 161Y w'abadde agipakinze  nadduka agitaase ,eno emmotoka gy'emusanze nemuggwiira.

Abagoba b'emmotoka ekoze akabenje baddusa ng'abatya abantu okubatuusaako obulabe.

Steven Kaddu omuku basimattuse ,agambye nti emmotoka yavudde waggulu ku luguudo oludda e Kawempe Ttula ng'omugoba waayo alekaanira wagulu nti bannange emmotoka egaannye okusiba.

Embeera eno esnnyalaza entambula ku luguudo oludda e Gayaza era obwedda abaserikale okuva ku poliisi e Kanyanya bakola butaweera okuzza embeera mu nteeko.

Emmwannyi zattikiddwa ku mmotoka omulambo n'eguggyibwa wansi w'emipiira gy'emmotoka okutwalibwa mu ggwanika e Mulago.

Patrick Onyango Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano,ategeezezza nti emmotoka yakuttuse buleeki nga kye kyaviiriddeko akabenje.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu