TOP

Ssekikubo amezze Kabatsi mu kamyufu ka NRM

Added 6th September 2020

Omubaka Theodore Ssekikubo alangiriddwa okukwata bbendera ya NRM Ku kifo ky'omubaka akiikirira Lwemiyaga mu Palamenti ng'ono amezze Minisita omubeezi ow'ebyenguudo Joy Kafura Kabatsi be banne abalala basatu.

Ebyavudde mu kulonda byalangiriddwa akulira ebyokulonda Robert Ssessanga nga bukya olwaleero wakati mu bukuumi obwamaanyi nga tewali muwagizi n'omu akkiriziddwa kuyingira kitebe kya Disitulikiti eSembabule we bagattidde obululu.

Sekikubo awangudde ku bululu 12,179 n'amegga  Minisita omubeezi ow'ebyentambula Joy Kafura Kabatsi bwebabadde ku mbiranye mu kifo ekyokusatu ng'afunye obululu 5,645 ng'abalala okuli Patrick Kateeba afunye obululu 3,431, Edmond Bwire 6,408 saako Geofrey Tumusiine ng'afunye obululu 187.

Wano ebivudde mu kulonda Minisita Kabatsi abiwakanyizza n'agamba nti okubbira kubadde kungi saako okugulirira abalonzi ku line n'okukiriza abaana abato okulonda.

Wabula ye Theodore Ssekikubo agambye nti obuwanguzi bwa Banna lwemiyaga abamwesize Ku bisanja bina emabega ng'ono ategeezezza anti awangudde Wakati mu birumira okuli okubba akalulu nokwagala okumuwamba.

Ku ky'omubaka omukyala amasaza abiri okuli Mawogola West ne North tebaalonze oluvannyuma lwokusazaamu okulonda nga mu bifo ebirala gyebakironze , Eyesimbyewo Mary Begumisa awangulidde waggulu  n'obululu 45,059, Phoebe Alinitwe 3,128 ate Jovans Twongereire n'afuna obululu 5,371.

Konsituwensi ezitalonze Omubaka Omukyala okuli Mawogola-North saako ne Mawogola-South olunnaku olw'okulonderako lwakulangirira ab'akakiiko olwo byona bigatibwe lumu nga ye Mary Begumisa akyikidde ensingo abakakiiko okubagamba nti okulonda kusaziddwamu ng'obudde bugenze so nga babadde bataddemu dda ssente n'obudde bwabwe nasaba abalonzi nga balangiridde olunaku olulala okugendayo mu bungi balonde.

Mu Mawogola County Dez Byuma akubidde waggulu munne Vincent Kimbugwe Kasana n'obululu 34,694 nga kimbugwe awanduse n'obululu 1,135.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...