TOP
  • Home
  • Agawano
  • 'Mugatte BannaNRM tusobole okwenywereza mu buyinza mu 2021'

'Mugatte BannaNRM tusobole okwenywereza mu buyinza mu 2021'

Added 6th September 2020

BANNAKIBIINA kya NRM abaawangudde akamyufu mu Kalungu bawabuddwa nti bakwatagane mu bwangu n'abo be baavuganyizza nabo bagaatte amaanyi aganaabanguyiza okuwangula okulonda okw'awamu okwa 2021-2026 banywereze ekibiina mu buyiinza.

Balabuddwa nti bwe bannassaawo olukonko n'okuyeeya abawanguddwa kijja kubasibirayo baleme okubeegattako mu kalulu ak'awamu ke bagendako ate omwagaanya ogwo ssinnakindi guwaguzibwemu abooludda olubavuganya babamegge.

Entanda eno yabasibiriddwa akulira eby'okulonda mu NRM e Kalungu David Livingstone Matovu Muzang'anda n'abeebaza okuyita mu Kalungu nga tebakusikang'aniddemu bitogi nga bwe kiwulikise mu bitundu ebirala.

Mu kulonda kw'e Kalungu, bannakibiina baddizza omubaka Aisha Ssekindi tikiti y'ekibiina addemu okugivuganyizaako ku kifo ky'omubaka omukyala owa Kalungu bwe baamuwadde obululu 31863 by'ebitundu 96.9 ate Ying. Mary Musoke ne baamuwa obululu 1004 bwokka.

Ate Kalungu West,tikiti baagiddiza Musawo Joseph Mugagga n'obululu 6730 by'ebitundu 76.6 n'amegga Dr Margaret Nabaggala Ntambaazi gwe baawadde obululu 1834 nga Mugagga y'agenda okuddamu okutunka n'eyamuwangula mu 2016 Joseph Gonzaga Ssewungu n'abalala.

Ssekindi naye mu b'agenda okuddamu okwang'ana mwe muli ne gwe yawangula era n'amutwala ne mu kkooti owa DP Aisha Waliggo nga n'aba NUP/People Power basimbyewo Phiona Kiggundu.

Muzang'anda yalangiridde ne minisita w'ebyobulimi,obulunzi n'obuvubi Vincent Bamulangaki Ssempijja ng'eyaddiziddwa bbendera ya Kalungu East gy'atavuganyiziddwako addemu okugivuganyizaako mu kulonda okujja ng'ayambalagana n'abannamwesimbako.

Abalaze okusuuza Ssempijja entebe,mwe muli gwe yagiggamu Alhaj Umaru Lule Mawiya abadde RDC e Kiboga ng'aggya yekka n'aba NUP kuliko Robert Ndaula,Frank Katabaazi,Didas Mugooma, Yoweri Lugambwa ne Sulaiman Ssekasamba Nnamujulirwa.

"Nga banna NRM,okulonda kwe tuvuddemu kubadde kwa mu nju kati tutanduludde ebigere okwang'ana n'abaaga okutusuuza entebe ng'okugatta amaanyi gonna y'engeri yokka ennatuyamba okusigaza obuyiinza obw'eggwanga lyonna",Muzang'anda bwe yakaatirizza.

Ssekindi ne Mugagga baamuwagidde nabo ne basaba bwe bavuganyizza mu kamyufu nti wadde ng'akalulu kabaddemu ebiyitirayitira naye badde mu nju olwo bayunge amaanyi agannabawanguzisa okulonda kw'awamu ne bawera nga bwe batandikiddewo okuyigga akalulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...