TOP

Omubaka Nanyondo asambazze ebyokudda mu D.P

Added 6th September 2020

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y'e Bukomansimbi Veronica Nanyondo asambazze ebibadde biyiting'aana nga bwe yazeeyo mu kibiina kya D.P kye yayabulira gye buvuddeko.

Bino yabyogeredde mu kisaawe  ky'e Ndeeba mu ggombolola y'e Kitanda mu Bukomansimbi bwe yabadde atongoza okugabira abalimi be mwanyi  amatundubali ku Lwomukaaga.

Nanyondo yagambye nti  ye tayinza kudda mu kibiina kya Democratic Party (D.P) olwemivuyo egikirimu era yasalawo okwegatta ku kibiina kya National Unity Parry (NUP) ekikulemberwa omubaka wa Kyadondo East Robert kyagulanyi Ssentamu.

"Nze ndi wa NUP era gyengeda okukwatiira bendera mu 2021,sigenda kudda mabega ntambula ngenda mu maaso" Nanyondo bweyategeezezza.

Yayongeddeko nti abatambuza amawulire ag'obulimba ku mikutu egy'enjawulo bakyagenda mu maaso kyokka ekimwewunyisa bakweka ebibakwatako ekiraga nti balina ekigendererwa ekitali kituufu.

Yawadde abalimi amagezi okujjumbira ebibiina by'obwegasi n'okukolerawamu kibayambe okuganyulwa mu bulimi bwemanyi  n'enteekateeka za gavumenti saako okunyweza omutindo gwe mwanyi nga beyambisa amatundubali ge bafunye nokunoga emwanyi ezengedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...