TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balinnya awera kweddiza ngatto ya muteebi mu KCCA FC

Balinnya awera kweddiza ngatto ya muteebi mu KCCA FC

Added 8th September 2020

JUMA Balinnya eyasinga okuteeba ggoolo mu sizoni ya 2018/19 mu liigi ya babinywera yeegasse ku KCCA FC n’awera okuddamu okweddiza engatto y’omuteebi asinze 2020/21.

Balinnya ng'awaga oluvannyuma lw'okwegatta ku KCCA FC

Balinnya ng'awaga oluvannyuma lw'okwegatta ku KCCA FC

2018/19, Balinnya ye yasinga abateebi ne ggoolo 19 bwe yali azannyira Police FC ekyasikiriza Young African FC eya Tanzania okumugula wabula yamalayo kitundu kya sizoni ne yeegatta ku Gor mahia FC eya Kenya ng'eno KCCA gye yamuggye.

Ku Ssande September 6, 2020 yayanjuddwa mu butongole ng'omuzannyi w'aba ‘Kasasiro boys' ku ndagaano ya myaka esatu.

"Nkimanyi nti obukodyo, obukujjukujju n'obumanyirivu mu kuteeba ggoolo mbirina era njagala kutandikira we nnakoma mu kulaba obutimba," Balinnya bwe yategeezezza.

Mike Mutebi atendeka KCC FC yategeezezza nga Balinnya bwe yapapa okugenda ebweru wa Uganda nga tannaba kunnyikiza mupiira wano era asuubira nti kati k'akomyewo agenda kutuukiriza ebyo abawagizi b'omupiira bye baali bamusuubiramu.

"Kino nkyogera nnyo eri abasambi Bannayuganda obutapapa kufuluma ggwanga nga bakyabulamu okuteekebwateekebwa, Balinya mumanyi bulungi okuva nga muto era neesunga okulaba KCCA FC ng'eteeba ggoolo ezisukka 100 sizoni ejja," Mutebi bwe yategeezezza.

Ono kati awezezza abazannyi 8 KCCA FC be yaakagula okuli; Denis Iguma, Charles Lwanga, Stefano Mazengo, Andrew Samson Kigozi, Bright Anukani, Brian Aheebwa ne Ashraf Mugume.

Ate abalala nga; Sadam Ibrahim Juma,Jamil Malyamungu, Jackson Nunda,Tom Ikara, Erisa Ssekisambu, Muzamiru Mutyaba, Mike Mutyaba, Muzamiru Mutyaba be baasaliddwaako.

Sizoni ewedde KCCA FC yamalira mu kifo kya kubiri n'obubonero 50, beetegekera kuzannya mu mpaka za CAF Confederations cup.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...