TOP

Kitegeeza ki eri kabineti baminisita 15 okugwa

Added 8th September 2020

BAMINISITA 15 okugwa mu kamyufu ka NRM kitegeeza ki eri kabineti, Gavumenti tekoze oba abalonzi baakangavvudde baminisita ng’abantu olw’obutakola?

Polof. Mwambutsya Ndebesa omusomesa w'ebyobufuzi n'ebyafaayo e Makerere yagambye nti abamu ku baagudde kyavudde ku butawuliriza balonzi. N'awa ekyokulabirako kya Evelyn Anite (Koboko munisipaali) avunaanyizibwa ku bamusigansimbi eyawanguddwa Dr, Charles Ayume. Ono yakulembera ‘eby'okugikwatako' n'alaga nti abalonzi kye baali bamutumye ng'ate si bwe gwali.

Agamba nti baminisita n'ababaka abaawa endowooza yaabwe kyokka ne bagisiba ku balonzi bonna baabakangavvudde mu kalulu. Yagasseeko Mary Karooro Okurut (Bushenyi) gattako eyaleeta ekiteeso kya Togikwatako, Raphael Magyezi owa Gavumenti Ez'ebitundu gwe yagambye nti yalabuse n'ateesimbawo.

Kyokka yagambye nti kino tekitegeeza nti Museveni naye agenda kuwangulwa kubanga alina enkizo ku baminisita. Ekirala ebintu ne bwe biba tebitambulidde Museveni bulungi alina ye Ndebesa ze yayise ensimbi ezimala z'ateeka mu kalulu gattako okukozesa ebitongole by'ebyokwerinda.

Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola agamba nti ekibiina kya NRM kyamaanyi wadde ng'obuganzi bukendeddeko. Agamba nti ekyawanguzza baminisita abamu butaba na budde bukolera bantu mu konsitityuwense.

N'awa ekyokulabirako kya Okello Oryem Minisita w'eggwanga ow'ensonga z'ebweru amala obudde obusinga ebweru n'ataweereza bantu b'e Kitgum wadde ng'eggwanga aliweereza.

Harold Kaija amyuka Ssabawandiisi wa FDC, agamba nti pulezidenti okulonda baminisita ng'abaggya mu babaka ba Palamenti kibanafuya. Kubanga baminisita abateesa mu palamenti boogera nsonga za minisitule zaabwe mu kifo ky'ensonga z'ebitundu bye bakiikirira.

Col. Shaban Bantariza amyuka omwogezi w'ekitongole kya Gavumenti eky'ebyamawulire yagambye nti baminisita okuwangulwa tekirina kakwate ku kulonda kwa pulezidenti kuba baabasudde ku lwabwe.

Abantu bakimanyi bulungi nti Pulezidenti ne baminisita buli omu alina obuvunanyizibwa bwanjawulo.

Yagambye nti emu ku nsonga eyasudde baminisita kwe kubeera ng'ebiseera ebisinga tebabeera mu konsitityuwensi. Kino kibalemesa okulondoola enteekateeka za Gavumenti ez'okuggya abantu mu bwavu.

BAMINISITA ABAAWANGUDDWA

Abamu ku baawanguddwa ye Benny Namugwanya (mukazi/Mubende) era minisita omubeezi avunanyizibwa ku nsonga za Kampala, Evelyn Anite (Koboko munisipaali) avunanyizibwa ku bamusigansimbi, Henry Okello Oryem (Chua East) minisita omubeezi ow'ensonga z'ebweru.

Mary Karooro Okurut (mukazi/Bushenyi) owa guno na guli, John Byabagambi (Ibanda South) ow'ensonga za Karamoja, Mwesigwa Rukutana (Rushenyi) omubeezi ow'ekikula ky'abantu, Elioda Tumwesigye (Sheema munisipaali), Agnes Akiror (Kapir) ow'ensonga za Teso.

Adolf Mwesige (BuLwakubiri nyangabu) omubeezi ow'ebyokwerinda, Isaac Musumba (Buzaaya) omubeezi ow'enkulaakulana y'ebibuga, Moses Kizige (Bugabula North) omubeezi owa Karamoja, Joy Kafura Kabatsi (Lwemiyaga) omubeezi ow'ebyenguudo ne Christopher Kibanzanga (Bughendera) omubeezi ow'ebyobulimi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...