TOP

Aba Corona batandise okujjanjabirwa e Namboole

Added 8th September 2020

MINISITULE y’Ebyobulamu etongozza ekisaawe ky’e Namboole okutandika okujjanjabirayo abalwadde ba Corona. Eggulo baataddeyo ebitanda 210 ne biweza omuwendo gwa 1,500 ebiri mu bifo eby’enjawulo mu ggwanga.

Dr. Atwine (mu bbaluwuzi ya ppinki) n’abakungu abalala nga balambula awaateereddwa ebitanda e Namboole.

Dr. Atwine (mu bbaluwuzi ya ppinki) n’abakungu abalala nga balambula awaateereddwa ebitanda e Namboole.

Omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'Ebyobulamu, Dr. Diana Atwine yalambudde ekifo eggulo n'akakasa nti kituukana n'omutindo okujjanjabiramu abantu, n'alagira batandike okutwalayo abalwadde.

Yategeezezza nti eno bagenda kugira nga bajjanjabirayo abantu abazuuliddwa nga balina Corona kyokka nga tebalina bubonero, n'ababulina kyokka nga tebubagonzezza kwebaka ku ndiri. Namboole egattiddwa mu ddwaaliro ly'e Mulago n'e Ntebe, awajjanjabirwa Corona mu kiseera kino.

Minisita yatangaazizza ku by'eddwaliro lya Lira, bwe byafulumye nti baabadde baliggadde.

Yagambye nti baabadde bali mu kukebera bakozi bonna mwe baasangidde abasawo bana nga balwadde, ate babiri nga bakola mu sweeta erongoosa, ekyaviiriddeko okugiggala okumala ekiseera nga bali mu kugifuuyira n'okutta obuwuka.

Eggulo minisitule yalangiridde abantu abaafudde Corona 3(babiri nga basawo okuva e Lira n'eddwaaliro lya yunivasite e Mbarara ) ne kiweza omuwendo gw'abantu 44 abaakafa Corona mu Uganda.

Baazudde n'abalwadde abapya 109 ne kiweza omuwendo gw'abantu 3,776 abaakazuulibwa ne Corona.

MINISITULE y'Ebyobulamu etongoza
ekisaawe ky'e Namboole okutandika
okujjanjabirayo abalwadde ba
Corona.
Eggulo baataddeyo ebitanda 210
ne biweza omuwendo gwa 1,500 ebiri
mu bifo eby'enjawulo mu ggwanga.
Omuwandiisi ow'enkalakkalira mu
minisitule y'Ebyobulamu, Dr. Diana
Atwine yalambudde ekifo eggulo
n'akakasa nti kituukana n'omutindo
okujjanjabiramu abantu, n'alagira
batandike okutwalayo abalwadde.
Yategeezezza nti eno bagenda kugira
nga bajjanjabirayo abantu abazuuliddwa
nga balina Corona kyokka
nga tebalina bubonero, n'ababulina
kyokka nga tebubagonzezza kwebaka
ku ndiri.
Namboole egattiddwa mu ddwaaliro
ly'e Mulago n'e Ntebe, awajjanjabirwa
Corona mu kiseera kino.
Minisita yatangaazizza ku
by'eddwaliro lya Lira, bwe byafulumye
nti baabadde baliggadde.
Yagambye nti baabadde bali mu
kukebera bakozi bonna mwe
baasangidde abasawo bana nga
balwadde, ate babiri nga bakola
mu sweeta erongoosa, ekyaviiriddeko
okugiggala okumala ekiseera
nga bali mu kugifuuyira n'okutta
obuwuka.
Eggulo minisitule yalangiridde
abantu abaafudde Corona
3(babiri nga basawo okuva e Lira
n'eddwaaliro lya yunivasite e Mbarara
) ne kiweza omuwendo gw'abantu
44 abaakafa Corona mu Uganda.
Baazudde n'abalwadde abapya 109
ne kiweza omuwendo gw'abantu
3,776 abaakazuulibwa ne Corona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.

Bobi Wine agudde mu lukwe l...

Asimbudde Fort Portal kumakya olwaleero n’agenda e Bundibugyo kyokka tebamuganyizza kutuuka mu kibuga wakati

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...