TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olutalo lwa Hajji Mbabaali ne Kiyimba lujulidde Museveni

Olutalo lwa Hajji Mbabaali ne Kiyimba lujulidde Museveni

Added 9th September 2020

Mbabaali alaalise nti ensonga azitwala wa Pulezidenti Museveni gye zinaggweera. Eggulo Mbabaali yatutte okwemulugunya mu kakiiko ka NRM ak’ebyokulonda akakulirwa Dr. Tanga Odoi ku poloti 10 Kyaddondo Road mu Kampala, kyokka n’ategeeza nti alina essuubi nti ne Pulezidenti, era nga ye ssentebe wa NRM, waakuyingira mu nsonga ze ez’okumubba akalulu.

Mbabaali alaalise nti ensonga azitwala wa Pulezidenti Museveni gye zinaggweera. Eggulo Mbabaali yatutte okwemulugunya mu kakiiko ka NRM ak'ebyokulonda akakulirwa Dr. Tanga Odoi ku poloti 10 Kyaddondo Road mu Kampala, kyokka n'ategeeza nti alina essuubi nti ne Pulezidenti, era nga ye ssentebe wa NRM, waakuyingira mu nsonga ze ez'okumubba akalulu.

Bangi bakyewuunya engeri Kiyimba gye yavudde e Nsangi n'awangula Mbabaali okukwatira NRM bendera ku kifo ky'omubaka wa Bukoto South mu disitulikiti y'e Lwengo.

Kiyimba nga mu kiseera kino ye ssentebe wa Kyengera Town Council (Nsangi), yafunye obululu 8,544 ate Mbabaali akiikirira ekitundu kino, n'afuna 5,547.

EMIVUYO

Enkambi ya Mbabaali erumiriza Kiyimba ne banne okwenyigira mu mivuyo egisukkiridde omuli n'okusomba abalonzi okuva e Kampala, Nsangi ne Nansana mu Wakiso ne balondera e Lwengo, n'abalala okuva e Mawogola, nga kimaze okulangirirwa nti akalulu mu kitundu ekyo kayimiriziddwa.

Kuno era baagasseeko n'okukunga aba DP ne People Power okwenyigira mu kulonda kuno, ekikontana n'amateeka ga NRM.

Mu bumu ku bujulizi bwe baggyeeyo kuliko obw'ekyalo Lubanda mu ggombolola y'e Kisekka (Kiyimba we yalondedde), nga bagamba nti waliwo layini gye baggyeemu abantu basatu abaabadde batamanyiddwa ku kyalo. Kyokka Kiyimba yagambye nti yabadde mu maaso era ebyabadde emabega we teyabitegeddeko.

Yasambazze eby'okusomba abantu n'agamba nti ebyo byekwaso, n'asaba Mbabaali ave ku by'okwemulugunya bakwataganire wamu okulaba nga NRM ewangula ebifo byonna mu Lwengo mu kalulu ka bonna.

Enkambi ya Mbabaali egamba nti abamu ku baabadde bakulira okulonda ku byalo, ku miruka n'amagombolola abaaganye okwenyigira mu bubbi badduse ne ku kitundu oluvannyuma lw'okutiisibwa okutuusibwako obuzibu.

John Ssentongo omu ku bakyekukumye, yategeezezza nti baakakiddwa okwongera amannya mu nkalala z'abalonzi wabula nga tebamanyiddwa mu kitundu, era abaakiwakanyizza baabatiisizza nnyo abamu kwe kudduka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...