TOP

Abawagizi ba Trump beekaaliisizza n'emmundu

Added 9th September 2020

ABAWAGIZI ba Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump bakubaganye n’abeekalakaasi abagamba nti balwanirira ddembe ly’Abaddugavu mu nkola eya ‘Black Lives Matter’.




Abawagizi bano abeeyita ‘Proud Boys' bazze beetegese nga balina n'ebyokulwanyisa okwabadde emmundu, ebiso, emiggo n'obucupa bwa kaamulali bwe baafuuyidde bannaabwe mu maaso. Bano baabadde mu kibuga Oregon era poliisi we yajjidde okubakkakkanya ng'omusaayi guyiise.

Abawakanya ebikolwa by'okutulugunya Abaddugavu beekuhhaanyizza nga baagala okuyisa ebivvulu nga bakutte embuukuuli z'emiggo n'abawagizi ba Trump ne beetegeka n'ebyokulwanyisa byabwe.

Bino bibaddewo ng'ebula wiiki munaana zokka bakube akalulu mu Amerika okulonda Pulezidenti addako, Joe Biden olwalabye Trump ng'atandise okutabuka ne basajja be n'ategeeza nti ye lutindo olugenda okugatta abantu bonna mu bukulembeze obuliwo n'ebiseera by'omu maaso.

Biden yagenze okwogera bino nga Trump yaakamala okutabukira Gen. John Kelly eyali akulira embeera z'abaserikale mu White House nti y'azunza ebigambo bye bamuteekako nti yatyoboola abazira ba Amerika be baaziika e Bufalansa n'abayita abajega.

Ekyongedde okutabula Trump, be bakugu okufulumya lipooti ku mbeera y'akalulu nga bw'eyimiriidde mu kiseera kino ne bategeeza nti okuva ebigambo ebyo lwe byafulumiziddwa wiiki ewedde, addiridde okusinziira ku maanyi ge yabadde afunye okuva lwe baamaliriza ttabamiruka.

Wano Biden yeesowoddeyo mangu n'ategeeza nti obubonero bwonna obuliwo bumulaga nti amasaza Trump ge yawangula mu 2016 nga Michigan, Pennsylvania ne Wisconsin kuno agatteko obuwanguzi obwamaanyi bw'azze afuna mu masaza nga North Carolina, Florida ne Arizona agalabika nti okuva 1980 ebyenfuna byago okuva mu makolero biddiridde ate ne bikosebwa nnyo ekiseera kya Corona nga Trump ali mu ofiisi.

Okuddamu okuwangula ebitundu aba Republican gye babadde n'obuwagizi obw'amaanyi nga kati Biden yeeraba nti ebivaayo agenda yeeyongera amaanyi olw'ebyenfuna ebigudde mu bitundu ebyali eby'amakolero, we yasinzidde okweyita olutindo olugenda okuyunga aba Democrats okubatuusa mu White House.

TRUMP ATABUKIDDE GENERO:

Trump okutuuka okutabuka kyavudde ku mukutu gwa Atlantic okufulumya amawulire nti yayogedde ku bazira abalwanirira Amerika be baaziika mu limbo e Bufalansa n'abayita abajega.

Yeewuunyizza Gen. Kelly munnamagye eyawummula okuva mu ggye ery'empingu gwe yali yalonda okubeera omuwabuzi we n'amugoba olw'okulemwa emirimu nti kati ali mu kubungeesa bigambo.

"Kelly mmumanyi bulungi twakola naye okumala ekiseera kyokka emirimu gyamulema, yali aweddemu nga takyasobola ne mmukwata ku nkoona," Trump bwe yacwanye ng'agamba nti aba Democrat balemeddwa okuzannya ebyobufuzi eby'ekikulu.

Baasooka kukimuteekako nti musosoze mu langi n'asooka abyegaana kyokka gye buvuddeko azze avaayo n'akiraga lwatu ng'awagira abaserikale Abazungu abazze batuusa ebikolwa eby'obukambwe ku Baddugavu.

Ebyo yabyogeredde mu lukuhhaana lw'abaamawulire ng'asinziira ku White House, olwavuddewo n'adda ku mukutu gwa twitter n'akinaggukira abamuvuganya nti bwe yeerabamu kati awulira akalulu katuuse we kanyumira n'obuwagizi bw'afuna bumulaga nti agenda kuwangulira waggulu okusinga bwe yakola mu 2016.

Yagambye nti bakyetwala, abanyazi, abaayingira Amerika nga tebafunye bisaanyizo n'abakola effujjo ne beeyisa ng'abalalu obuwanguzi bw'agenda okufuna omulundi guno bujja kubaluma nnyo kyokka bonna abasuubira okugondera amateeka.

ABAWAGIZI ba Pulezidenti wa
Amerika, Donald Trump bakubaganye
n'abeekalakaasi abagamba
nti balwanirira ddembe
ly'Abaddugavu mu nkola eya
‘Black Lives Matter'.
Abawagizi bano abeeyita ‘Proud
Boys' bazze beetegese nga balina
n'ebyokulwanyisa okwabadde emmundu,
ebiso, emiggo n'obucupa
bwa kaamulali bwe baafuuyidde
bannaabwe mu maaso. Bano
baabadde mu kibuga Oregon era
poliisi we yajjidde okubakkakkanya
ng'omusaayi guyiise.
Abawakanya ebikolwa
by'okutulugunya Abaddugavu
beekuhhaanyizza nga baagala
okuyisa ebivvulu nga bakutte
embuukuuli z'emiggo n'abawagizi
ba Trump ne beetegeka
n'ebyokulwanyisa byabwe.
Bino bibaddewo ng'ebula wiiki
munaana zokka bakube akalulu
mu Amerika okulonda Pulezidenti
addako, Joe Biden olwalabye
Trump ng'atandise okutabuka
ne basajja be n'ategeeza nti ye
lutindo olugenda okugatta abantu
bonna mu bukulembeze obuliwo
n'ebiseera by'omu maaso.
Biden yagenze okwogera bino
nga Trump yaakamala okutabukira
Gen. John Kelly eyali akulira
embeera z'abaserikale mu White
House nti y'azunza ebigambo
bye bamuteekako nti yatyoboola
abazira ba Amerika be baaziika e
Bufalansa n'abayita abajega.
Ekyongedde okutabula
Trump, be bakugu okufulumya
lipooti ku mbeera y'akalulu nga
bw'eyimiriidde mu kiseera kino
ne bategeeza nti okuva ebigambo
ebyo lwe byafulumiziddwa wiiki
ewedde, addiridde okusinziira ku
maanyi ge yabadde afunye okuva
lwe baamaliriza ttabamiruka.
Wano Biden yeesowoddeyo
mangu n'ategeeza nti obubonero
bwonna obuliwo bumulaga nti
amasaza Trump ge yawangula mu
2016 nga Michigan, Pennsylvania
ne Wisconsin kuno agatteko
obuwanguzi obwamaanyi bw'azze
afuna mu masaza nga North Carolina,
Florida ne Arizona agalabika
nti okuva 1980 ebyenfuna byago
okuva mu makolero biddiridde ate
ne bikosebwa nnyo ekiseera kya
Corona nga Trump ali mu ofiisi.
Okuddamu okuwangula ebitundu
aba Republican gye babadde
n'obuwagizi obw'amaanyi nga
kati Biden yeeraba nti ebivaayo
agenda yeeyongera amaanyi
olw'ebyenfuna ebigudde mu
bitundu ebyali eby'amakolero, we
yasinzidde okweyita olutindo olugenda
okuyunga aba Democrats
okubatuusa mu White House.
TRUMP ATABUKIDDE GENERO:
Trump okutuuka okutabuka
kyavudde ku mukutu gwa Atlantic
okufulumya amawulire nti
yayogedde ku bazira abalwanirira
Amerika be baaziika mu limbo e
Bufalansa n'abayita abajega.
Yeewuunyizza Gen. Kelly munnamagye
eyawummula okuva
mu ggye ery'empingu gwe yali
yalonda okubeera omuwabuzi we
n'amugoba olw'okulemwa emirimu
nti kati ali mu kubungeesa
bigambo.
"Kelly mmumanyi bulungi
twakola naye okumala ekiseera
kyokka emirimu gyamulema, yali
aweddemu nga takyasobola ne
mmukwata ku nkoona," Trump
bwe yacwanye ng'agamba nti aba
Democrat balemeddwa okuzannya
ebyobufuzi eby'ekikulu.
Baasooka kukimuteekako nti
musosoze mu langi n'asooka
abyegaana kyokka gye buvuddeko
azze avaayo n'akiraga lwatu
ng'awagira abaserikale Abazungu
abazze batuusa ebikolwa
eby'obukambwe ku Baddugavu.
Ebyo yabyogeredde mu
lukuhhaana lw'abaamawulire
ng'asinziira ku White House, olwavuddewo
n'adda ku mukutu gwa
twitter n'akinaggukira abamuvuganya
nti bwe yeerabamu kati awulira
akalulu katuuse we kanyumira
n'obuwagizi bw'afuna bumulaga
nti agenda kuwangulira waggulu
okusinga bwe yakola mu 2016.
Yagambye nti bakyetwala, abanyazi,
abaayingira Amerika nga
tebafunye bisaanyizo n'abakola
effujjo ne beeyisa ng'abalalu
obuwanguzi bw'agenda okufuna
omulundi guno bujja kubaluma
nnyo kyokka bonna abasuubira
okugondera amateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...