
Lukwago bino abyogeredde Makindye mu Klezia zoona awaagudde ekizimbe ky'omusuubuzi w'omu Kikuubo Juma Kagolo n'ekibiika abakozi abakibaddeko abatannategeerekeka muwendo.
Okusinzira ku batuuze ekizimbe kyagudde ssaawa 2:00 ez'ekiro ku Lwokutaano kyokka nga basobodde okutaasako omu eyategeerekeseeko erya Jimmy eyabategeezezza yabadde alabyeko banne bana mu kizimbe kino nga tekinnaggwa.
Poliisi n'abatuuze bakola kyonna ekisoboka okuyiikuula okulaba oba wakyaliyo omulamu.



