TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensi egudde eddalu: NRM ezza etya okulonda okw'obukyayi n'ettemu

Ensi egudde eddalu: NRM ezza etya okulonda okw'obukyayi n'ettemu

Added 13th September 2020

BULI muntu ategeera ebyobufuzi, akimanyi nti birimu obukyayi, obulimba, okugulirira abalonzi n’okuyiwa omusaayi. Mu kampeyini, abantu bakonjera bannaabwe agagambo, babuzaawo abeesimbyewo oba okubateega ne babakolako obulabe.

Minisita Rukutana

Minisita Rukutana

NRM bwe yaggya mu buyinza mu 1986, yajja n'enkola y'abatuuze okusimbira ssukaali ennyiriri ku mbuga za LC. Aboobukiiko bwa LC bennyini nabo baasooka kulondebwa mu nkola ya kusimba nnyiriri.

Oluvannyuma enkola eno yadibizibwa n'esikirwa ey'akalulu ak'ekyama ng'omuntu assa akayini kw'oyo gw'ayagala ku bavuganya, akapapula n'akassa mu bookisi.

Gavumenti ya NRM ezze yeewaana bw'eggye eggwanga ewala, eby'okusimbira ssukaali ne bivaawo nga yeeyongedde mu maduuka, n'akalulu ak'ekikopi ak'okusimba abeesimbewo mu mugongo, okusikirwa ak'ekitegeevu ak'okusuula akapapula mu bookisi mu kyama.

Amaka mangi gaguddemu entalo wakati w'omukyala, omwami n'abaana okwawukanya endowooza z'ebyobufuzi nga n'ekibadde kizikendeezezzaako ke kalulu ak'ekyama kuba buli omu gw'alonda amumanya yekka mu mutima.

Mu kalulu ak'ekikopi ak'okusimba mu mugongo, omuntu alina kutunda mwoyo ng'enkoko emira ensanafu obutalonda waaluganda lwe, mukwano gwe, mukama we si nandiki muliraanwa wadde nga wa kibogwe mu bukulembeze. Mu kamyufu ka NRM, effujjo, ettemu, okugulirira abalonzi bye byabadde baana baliwo!

E Ntungamo, minisita Mwesigwa Rukutana alya ku ya basibe e Kitalya ku bya kukozesa bubi mmundu, e Ssembabule famire z'abanene mu ggwanga zeeyuza era awamu okulonda kwayimiriziddwa.

Mu bitundu by'eggwanga bingi abeesimbyewo bakaaba nti abantu abandibalonze baatidde okubasimba mu mugongo ne bagenda mu layini y'abo abaabapokedde omudidi.

Ebikolwa bino mu kamyufu bikukakasiza ddala nti ensi egudde eddalu. Anti ensi bw'egwa eddalu, eggwanga eribadde lyenyumiriza mu kulinnyisa obugunjufu nga likubisa akalulu ak'ekyama, abaliteeseza balizzaayo mu k'ekikopi akasiga obukyayi n'ettemu.

Ate nga ne poliisi n'amagye ebisuubirwa okukuuma emirembe n'okukwata abakozi b'effujjo, bitutunula sseddoolo ne biwulubala

Ensi egudde eddalu ng'abeesimbyewo n'abomu nkambi zaabwe bagulirira abalonzi emisana ttuku, okubasomba mu bitundu ebirala n'okubalirika emigobante okubalemesa okulonda abantu be baagala!

Ensi bw'egwa eddalu, buli akwata ku munne atuga butuzi. Baminisita n'abanene abaludde mu ‘kintu' ensonyi bazifuula obusungu ne banywanywagala nga baggyirayo be bavuganya emmundu babatte olw'okuba babasuuza omugaati!

Gavumenti bw'eteekomye nkola ya ‘ssengavuddemu ngazzeemu' okuzza eggwanga mu nnonda ey'ekikopi esiga obucaayi, effujjo, enguzi n'okuyiwa omusaayi, Katonda ajja kunyiiga abakulembeze abakube bbalaayi bafung'alale.

SIKULIMBA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu