TOP

Omusuubuzi bamukutte ku by'okubba mmotoka 11

Added 13th September 2020

OMUSUUBUZI wa mmotoka ez’ebbeeyi mu Kampala agambibwa okuba emabega w’akabinja akabba emmotoka e Bungereza akwatiddwa poliisi n’ezuula emmotoka 11 ezibalirirwamu obuwumbi buna.

Emu ku mmotoka ezivunaanya Safari

Emu ku mmotoka ezivunaanya Safari





Frank Safari omutuuze w'e Bukoto mu Kampala, yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw'okunoonyereza ku mmotoka ezabbibwa e Bungereza ne zitundibwa mu Uganda. Safari ye nnanyini kibanda kya Bottle Link e Nakawa.

Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles Mansio Twine yagambye nti, Safari babadde bamulondoola okuva mu December wa 2019 abaserikale ba poliisi y'e Bungereza lwe bajja kuno nga banoonya mmotoka ezabbibwa mu nsi yaabwe.

Yayongeddeko nti, baagenda okumaliriza okunoonyereza, baazuula mmotoka 11 ekika kya Range Rover Vogue wabula bwe baabuuza gye baaziggya, baategeeza poliisi nti, Safari ye yazibaguza.

Yagasseeko nti, mmotoka ze baali bakutte, bannanyini zo baagenda mu kkooti n'ebalagira zibaddizibwe kyokka oluvannyuma bo bennyini ne bakizuula nti, mmotoka ze baagula zaalimu ebitakwatagana.

Mmotoka ezaakwatibwa, zaatwalibwa ku kitebe kya poliisi y'ensi yonna mu Uganda oluvannyuma ne bakwatagana ne poliisi ya Bungereza n'etwalako mmotoka mwenda ebbiri ne zisigala.

Mmotoka ezaasigala kuliko Range Rover Vogue eyateekebwako nnamba UAX 610B ne Ford Ranger Wildtrak egambibwa okuba nti, yabbibwa South Afrika. Twine yagambye nti, Safari bamuteebereza okuba ng'alina akabinja k'abasajja abava mu mawanga ga West Afrika b'akolagana nabo okubba mmotoka zino ne bazireeta e Uganda.

Yayongeddeko nti, Safari baamubuuzizza gye yaggya mmotoka zino n'abagamba nti, waliwo abantu abaazimuguzab'atannyonnyodde. Ono yatwaliddwa ku poliisi y'e Kabalagala gye baamuggalidde nga bw'alinda okutwalibwa mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...