
Erimu ku ttaka ly'ekkanisa lye balumiriza omubuulizi n'akakiiko akafuga ekkanisa okutunda
Ekkanisa ya Namumira Church Of Uganda mu Busumba bw'e Mpigi mu bulabirizi bw'e Luweero ku kyalo Namumira mu Town Council y'e Busiika mu disitulikiti ye Luweero Abakrisitaayo abagisabiramu be bafunyena obutakkaanya n'omubuulizi waabwe Geoffrey Mubiru wamu n'olukiiko olufuga ekkanisa lwe balumiriza okukozesa olukujjukujju ne batunda ku ttaka ly'ekkanisa ng'Abakrisitaayo tebategeezeddwaako.
Samuel Daaki akulira okuteekerateekera ekkanisa yagambye nti baali baakola enteekateeka zaabwe nga tebamubuulirako era ng'ebigenda mu maaso naye awulira biwulire , n'agamba nti ekkanisa yazimbibwa mu 1973 okutuusa Abakrisitaayo lwe baatandika okuzimba empya etennaba kumalirizibwa .


Yagasseeko nti ettaka ly'ekkanisa ddene nga ziri yiika 108 n'omusobyo era mu kiseera kino Moses Kakembo akulira eby'ettaka mu kkanisa ng'aliwamu n'omubulizi n'abalala abali ku kakiiko baaleeta abapunta ne balipima oluvannyuma ne lisalwamu poloti ne zitandikwa okutundibwa nga bo tebalina kye bamanyi.
Yayongeddeko nti kizuuliddwa nga abapunta omusaala baaweebwa yiika 14 ku ttaka ly'ekkanisa lye baatandise okutemamu poloti nga bazitunda Abakrisitaayo kye bawakanya.


OW'EBYETTAKA MU KKANISA YEEWOZEZZAAKO
Moses Kakembo akulira eby'ettaka mu kkanisa eno bwe yatuukiriddwa ku ssimu yayombesezza munnamawulire nti okugenda ku ttaka ly'ekkanisa yandibadde asooka kumuwandiikira bbaluwa n'amusaba olukusa okusinga okulisalimbira kuba y'alirinako obuvunaanyizibwa kyokka oluvannyuma yakkakkanye n'ategeeza nti buli ekyakolebwa kiri mu makubo matuufu Abakrisitaayo basaanye okuba abakkakkamu.

OMUBUULIZI W'EKKANISA AYOGEDDE
Geoffrey Mubiru omubulizi w'ekkanisa eno yategeezezza nti omwaka oguwedde waaliwo Abakrisitaayo n'abeebibanja abaali ku ttaka ly'ekkanisa abaali baagala okulibba ekyamuwalirizza n'olukiiko olufuga ekkanisa okugenda ku bulabirizi e Luweero ne bufuna olukusa okulyerula.
Yagasseko nti abeebibanja baalagirwa okwegula ng'abasinga baali tebalina ssente ne basalawo okwawuzza mu bibanja byabwe ne bawaako ekkanisa ng'abamu be batandise okutunda ebifo byabwe n'agattako nti ebya yiika 14 ze bagamba nti zaaweebwa abapunta ye talina ky'abimanyiiko.

BISOOPU W'OBULABIRIZI BW'E LUWEERO AYOGEDDE
Bp. Eridard Kironde Nsubuga atwala obulabirizi bw'e Luweero bwe yakubiddwa essimu yalaze nga bw'atalina ky'amanyi n'ategeezza nga bw'agenda okukinoonyerezaako .
