TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basomesezza bannaddiini ebiragiro amasinzizo kwe ganaakolera

Basomesezza bannaddiini ebiragiro amasinzizo kwe ganaakolera

Added 14th September 2020

NG’EGGWANGA libindabinda okuggulwawo lyonna abantu baddemu okukola kinnawadda, Gavumenti evuddeyo n’ebiragiro amasinzizo ge birina okukolerako okusobola okukuuma abagoberezi okubataasa ssennyiga omukambwe.

Aba kkwaaya balina okugoberera amateeka g’ebyobulamu nga bayimba mu masinzizo.

Aba kkwaaya balina okugoberera amateeka g’ebyobulamu nga bayimba mu masinzizo.

Ebiragiro bino n'obukwakkulizo byafulumiziddwa ekitongole ky'ebyobulamu era abeebyobulamu batandise okugasomesa abakulembeze ab'enzikiriza ez'enjawulo.

Okusinziira ku Musumba w'Abadiventi, Samuel Kajoba owa Central Buganda Conference, ekitongole ky'ebyobulamu kyatandise okusomesa abakulembeze ab'enzikiriza ez'enjawulo amateeka n'ebiragiro bye bagenda okugoberera mu kusinza ng'emisomo gitegekebwa ku bitebe ebikulu eby'enzikiriza ezo.

Agamba nti enzikiriza yaabwe y'emu ku zaasoose okusomesebwa ebiragiro bino era omusomo gwetabiddwaamu abasumba bonna ku kitebe kyabwe ekikulu e Makerere.

Abakulembeze bonna ab'enzikiriza ez'enjawulo bwe banaamala okusomesebwa bavuunaanyizibwa okusomesa abakulembeze abalala ku mitendera egy'enjawulo okutuukira ddala ku masinzizo agasookerwako.

Okusomesebwa bwe kunaakomekkerezebwa abeebyobulamu bajja kulambula amasinzizo okukakasa nti ebiragiro biteekeddwa Basomesezza bannaddiini ebiragiro amasinzizo kwe ganaakolera mu nkola era bwe banaazuula nti amansinzizo ganaasobola okubituukiriza olwo gaggulwewo.

Samuel Kizito akulira ekitongole ky'ebyobulamu mu kkanisa y'Abadiventi agamba nti abakulembeze ab'enzikiriza ez'enjawulo baasooka ne bateekateeka olukiiko mwe bakkaanyiza ku biragiro ebirina okugobererwa mu kusinza era bino bye byasunsuddwa ekitongole ky'ebyobulamu ne kivaayo n'ebiragiro ku masinzizo bino wammanga:

ABANTU WE BAYINGIRIRA

 Essinzizo lirina okuba n'ekifo oba weema abantu we basookera nga tebannayingira munda. Muno mulina okubaamu obutebe nga bwesudde mmita emu n'ekitundu (1.5).

 Omulyango gulina okubaako endagiriro eraga abantu we balina okusooka okuyimirira era nga wansi walaga mmita emu n'ekitundu okuva ku muntu omu okutuuka ku mulala.

 Walina okubeerawo omusirikale aluηηamya n'okukakasa nti abantu bakuuma ebiragiro.

 Bonna abaagala okuyingira balina okusooka okukeberwa ebbugumu ly'omubiri, ebivaamu ne biwandiikibwa mu kitabo. Ssinga asangibwa ng'ebbugumu lye lisukka ddiguli 38 alina okuteekebwa ebbali okwongera okukeberwa. Ebbugumu bwe litakendeera balina okuyita abasawo ne bamutwala mu bwangu mu kkalantiini.

Abavuunaanyiziibwa okuwandiisa abantu balina okwambala ebyambalo ebibaawula ku balala omuli obukookolo ne giraavusi.

Ebisomesa abantu bye balina okugoberera okuziyiza corona birina okuteekebwa ku bisenge mu bifo eby'enjawulo mu ssinzizo.

Walina okubaawo entebe abantu we beewandisiza, we banaabira engalo ne sanitayiza era nga we babapimira ebbugumu. Abakkiriza balina okwewandiisa ebibakwatako nga kwe kuli amannya gaabwe, ekifo gye babeera n'ennamba zaabwe ez'amasimu. Mu bitabo bino, waliwo we balina okuwandiika obungi bw'ebbugumu n'ennamba y'entebe w'agenda okutuula.

 Buli mulyango gulina okubaako omuntu alina akuuma akapima ebbugumu.

Emiryango egiyingira n'egifuluma girina okuteekebwako obupande obulaga w'olina okuyita ng'oyingira oba ng'ofuluma. Okusinziira ku bugazi bw'ekkanisa, abantu 100 be bakkiriziibwa okubeera mu kkanisa obudde bwonna.

Buli muntu ayagala okuyingira essinzizo alina okubeera n'akakookolo (masiki) ate ng'agyambadde bulungi.

 Emiryango egiyingirirwamu girina okwawulwa ku gifuluma.

AMATEEKA MU KUTUULA

Buli muntu alina okutuula mu kifo ekiba kyamuweereddwa nga yeewandiisa ku mulyango.

Ebifo ebituulwamu birina okuba ebbanga lya mmita 1.5 okutuuka ku mulala mu njuyi zonna.

Mu bifo nga tewali ntebe abantu abayimirira era balina okukuuma ebbanga lya mmita 1.5.

Akatuuti abuulira enjiri kw'ayimirira kalina okuba mu bbanga lya mmita 3 okuva ku bantu kubanga omuntu bw'aba abuulira enjiri aggyako akakookolo. Abayimbi nabo balina okugoberera ebiragiro bye bimu.

Abakkiriza balina okwambala obukookolo obudde bwonna wabula bwe baba batuuse mu kiseera eky'okusembera ku mmeeza entukuvu bakkirizibwa okusooka okubuggyako bwe bamaliriza ne babuzzaako.

Abakkiriza tebalina kutambuza ntebe kuziggya mu bifo abaategese ekkanisa mwe baba baazitadde.

Abaweereza bonna mu kkanisa balina okwambala enkampa ku mikono (giraavusi).

OKUKUUMA OBUYONJO

 Walina okuteekebwawo amazzi agakozesebwa mu kunaaba mu ngalo naddala mu bifo ebiyingirirwamu ne mu kaabuyonjo.

 Awanaabirwa engalo walina okubeerawo ssabbuuni ow'obuwunga oba ow'ekitole.

 Awatali mazzi mulina okufuba okulaba nga waliwo sanitayiza.

 Ku katuuti nakwo kulina okubeerako sanitayiza ekozesebwa okufuuyira omuzindaalo kuba gukozesebwa abantu ab'enjawulo.

 Sanitayiza zirina okuba ku buli mulyango.

KAABUYONJO

Mu kaabuyonjo n'ebiyigo by'essinzizo mulina okuteekebwamu amazzi aganaabibwa engalo agakulukuta.  Kaabuyonjo n'ebiyigo birina okukuumibwa nga biyonjo.

ESSAAWA EZ'OKUSABIRAMU

 Abakkiriza balina okusigala mu bifo bye baba batuddemu nga basaba, tebalina kutaayaaya okutuusa bwe bafuluma.

Balina okwewala okwekwatakwata naddala mu maaso n'okukwata ku balala.

Ababa bamalirizza okusinza balina okufuluma ne bagenda ewaabwe olwo abalala ne balyoka bayingira mu ssinzizo.

 Balina okwewala okugwaηηana mu bifuba.

OBUJJANJABI OBW'AMANGU

Walina okubaawo abasawo abatendeke abakola ku bantu ababa basangiddwaamu obubonero bwa corona.

 Walina okubaawo ekisenge omuteekebwa abasangiddwa n'ebbugumu erisukka ku lyetaagisa we baweerwa obujjanjabi.

Abasawo balina okubeera n'ennamba y'essimu ey'amangu ey'abasawo ba Gavumenti abajjanjaba corona gye basobola okukubako ssinga omulwadde abeera mu mbeera enzibu ennyo.

Ennamba y'essimu ey'amangu eri 0800 10066, erina okutimbibwa mu bifo eby'enjawulo mu masinzizo.

EBITALINA KUKOLEBWA

Okukwatagana mu ngalo.

 Okugwaηηana mu kifuba

 Okugabana omuzindaalo.

 Okugabana ebitabo by'ennyimba ne Bayibuli.

 Okugabana ebibbo ebiteekebwamu ebirabo.

EBIGOBERWA EBIRALA

 Okugoberera ebiragiro by'omukulembeze w'eggwanga.

Okubuulira abantu okugoberera ebiragiro by'abasawo ku buli ntandikwa y'okusinza ne mu kumaliriza okusinza.

 Okubuulira abantu ebikwata ku corona mu Uganda okuli ababa bakwatiddwa, abawonye n'ababa bafudde.

Okunoonya akalulu mu masinzizo tekukkirizibwa.

Okusaba okwa buli kaseera mu nnaku ez'enjawulo era nga kw'abantu batono kukkirizibwa.

Abaana abato abasabira mu nteekateeka ekolerwa abato tebakkirizibwa kukuηηaana mu masinzizo gonna okutuusa ng'amasomero gagguddwaawo.

Obudde bwa kaafi yu bulina okugobererwa.

Ebiteekebwamu ebirabo tebirina kukwatibwako.

Okubeera n'omukuumi aluηηamya abakkiriza.

NG'EGGWANGA libindabinda
okuggulwawo lyonna abantu
baddemu okukola kinnawadda,
Gavumenti evuddeyo n'ebiragiro
amasinzizo ge birina okukolerako
okusobola okukuuma abagoberezi
okubataasa ssennyiga omukambwe.
Ebiragiro bino n'obukwakkulizo
byafulumiziddwa ekitongole
ky'ebyobulamu era abeebyobulamu
batandise okugasomesa
abakulembeze ab'enzikiriza
ez'enjawulo.
Okusinziira ku Musumba
w'Abadiventi, Samuel Kajoba owa
Central Buganda Conference,
ekitongole ky'ebyobulamu kyatandise
okusomesa abakulembeze
ab'enzikiriza ez'enjawulo amateeka
n'ebiragiro bye bagenda okugoberera
mu kusinza ng'emisomo
gitegekebwa ku bitebe ebikulu
eby'enzikiriza ezo.
Agamba nti enzikiriza yaabwe
y'emu ku zaasoose okusomesebwa
ebiragiro bino era omusomo
gwetabiddwaamu abasumba
bonna ku kitebe kyabwe ekikulu e
Makerere.
Abakulembeze bonna ab'enzikiriza
ez'enjawulo bwe banaamala
okusomesebwa bavuunaanyizibwa
okusomesa abakulembeze abalala
ku mitendera egy'enjawulo okutuukira
ddala ku masinzizo agasookerwako.
Okusomesebwa bwe kunaakomekkerezebwa
abeebyobulamu
bajja kulambula amasinzizo okukakasa
nti ebiragiro biteekeddwa
Basomesezza bannaddiini ebiragiro
amasinzizo kwe ganaakolera
mu nkola era bwe banaazuula
nti amansinzizo ganaasobola
okubituukiriza olwo gaggulwewo.
Samuel Kizito akulira ekitongole
ky'ebyobulamu mu kkanisa
y'Abadiventi agamba nti abakulembeze
ab'enzikiriza ez'enjawulo
baasooka ne bateekateeka
olukiiko mwe bakkaanyiza ku
biragiro ebirina okugobererwa
mu kusinza era bino bye byasunsuddwa
ekitongole ky'ebyobulamu
ne kivaayo n'ebiragiro ku
masinzizo bino wammanga:
ABANTU WE BAYINGIRIRA
Essinzizo lirina okuba
n'ekifo oba weema abantu we
basookera nga tebannayingira
munda. Muno mulina okubaamu
obutebe nga bwesudde mmita
emu n'ekitundu (1.5).
 Omulyango gulina okubaako
endagiriro eraga abantu we
balina okusooka okuyimirira era
nga wansi walaga mmita emu
n'ekitundu okuva ku muntu omu
okutuuka ku mulala.
 Walina okubeerawo omusirikale
aluηηamya n'okukakasa nti
abantu bakuuma ebiragiro.
 Bonna abaagala okuyingira
balina okusooka okukeberwa
ebbugumu ly'omubiri, ebivaamu
ne biwandiikibwa mu kitabo.
Ssinga asangibwa ng'ebbugumu
lye lisukka ddiguli 38 alina
okuteekebwa ebbali okwongera
okukeberwa. Ebbugumu bwe litakendeera
balina okuyita abasawo
ne bamutwala mu bwangu mu
kkalantiini.
Abavuunaanyiziibwa okuwandiisa
abantu balina okwambala
ebyambalo ebibaawula ku balala
omuli obukookolo ne giraavusi.
Ebisomesa abantu bye balina
okugoberera okuziyiza corona birina
okuteekebwa ku bisenge mu
bifo eby'enjawulo mu ssinzizo.
Walina okubaawo entebe
abantu we beewandisiza, we
banaabira engalo ne sanitayiza era
nga we babapimira ebbugumu.
Abakkiriza balina okwewandiisa
ebibakwatako nga kwe kuli amannya
gaabwe, ekifo gye babeera
n'ennamba zaabwe ez'amasimu.
Mu bitabo bino, waliwo we balina
okuwandiika obungi bw'ebbugumu
n'ennamba y'entebe w'agenda
okutuula.
 Buli mulyango gulina okubaako
omuntu alina akuuma akapima
ebbugumu.
Emiryango egiyingira n'egifuluma
girina okuteekebwako
obupande obulaga w'olina okuyita
ng'oyingira oba ng'ofuluma.
Okusinziira ku bugazi bw'ekkanisa,
abantu 100 be bakkiriziibwa
okubeera mu kkanisa obudde
bwonna.
Buli muntu ayagala okuyingira
essinzizo alina okubeera n'akakookolo
(masiki) ate ng'agyambadde
bulungi.
 Emiryango egiyingirirwamu
girina okwawulwa ku gifuluma.
AMATEEKA MU KUTUULA
Buli muntu alina okutuula mu
kifo ekiba kyamuweereddwa nga
yeewandiisa ku mulyango.
Ebifo ebituulwamu birina
okuba ebbanga lya mmita 1.5 okutuuka
ku mulala mu njuyi zonna.
Mu bifo nga tewali ntebe
abantu abayimirira era balina
okukuuma ebbanga lya mmita 1.5.
Akatuuti abuulira enjiri kw'ayimirira
kalina okuba mu bbanga
lya mmita 3 okuva ku bantu
kubanga omuntu bw'aba abuulira
enjiri aggyako akakookolo.
Abayimbi nabo balina okugoberera
ebiragiro bye bimu.
Abakkiriza balina okwambala
obukookolo obudde bwonna
wabula bwe baba batuuse mu kiseera
eky'okusembera ku mmeeza
entukuvu bakkirizibwa okusooka
okubuggyako bwe bamaliriza ne
babuzzaako.
Abakkiriza tebalina kutambuza
ntebe kuziggya mu bifo
abaategese ekkanisa mwe baba
baazitadde.
Abaweereza bonna mu kkanisa
balina okwambala enkampa ku
mikono (giraavusi).
OKUKUUMA OBUYONJO
 Walina okuteekebwawo amazzi
agakozesebwa mu kunaaba mu
ngalo naddala mu bifo ebiyingirirwamu
ne mu kaabuyonjo.
 Awanaabirwa engalo walina
okubeerawo ssabbuuni ow'obuwunga
oba ow'ekitole.
 Awatali mazzi mulina okufuba
okulaba nga waliwo sanitayiza.
 Ku katuuti nakwo kulina
okubeerako sanitayiza ekozesebwa
okufuuyira omuzindaalo kuba
gukozesebwa abantu ab'enjawulo.
 Sanitayiza zirina okuba ku
buli mulyango.
KAABUYONJO
Mu kaabuyonjo n'ebiyigo
by'essinzizo mulina okuteekebwamu
amazzi aganaabibwa engalo
agakulukuta.
 Kaabuyonjo n'ebiyigo birina
okukuumibwa nga biyonjo.
ESSAAWA EZ'OKUSABIRAMU
 Abakkiriza balina okusigala
mu bifo bye baba
batuddemu nga
basaba, tebalina kutaayaaya
okutuusa
bwe bafuluma.
Balina okwewala
okwekwatakwata
naddala mu maaso
n'okukwata ku
balala.
Ababa bamalirizza
okusinza balina
okufuluma ne
bagenda ewaabwe
olwo abalala ne
balyoka bayingira
mu ssinzizo.
 Balina okwewala
okugwaηηana
mu bifuba.
OBUJJANJABI
OBW'AMANGU
Walina okubaawo
abasawo abatendeke
abakola ku bantu
ababa basangiddwaamu
obubonero
bwa corona.
 Walina
okubaawo ekisenge
omuteekebwa
abasangiddwa n'ebbugumu erisukka
ku lyetaagisa we baweerwa
obujjanjabi.
Abasawo balina okubeera
n'ennamba y'essimu ey'amangu
ey'abasawo ba Gavumenti abajjanjaba
corona gye basobola okukubako
ssinga omulwadde abeera
mu mbeera enzibu ennyo.
Ennamba y'essimu ey'amangu
eri 0800 10066, erina okutimbibwa
mu bifo eby'enjawulo mu
masinzizo.
EBITALINA KUKOLEBWA
Okukwatagana mu ngalo.
 Okugwaηηana mu kifuba
 Okugabana omuzindaalo.
 Okugabana ebitabo by'ennyimba
ne Bayibuli.
 Okugabana ebibbo ebiteekebwamu
ebirabo.
EBIGOBERWA EBIRALA
 Okugoberera ebiragiro
by'omukulembeze w'eggwanga.
Okubuulira abantu okugoberera
ebiragiro by'abasawo ku
buli ntandikwa y'okusinza ne mu
kumaliriza okusinza.
 Okubuulira abantu ebikwata
ku corona mu Uganda okuli
ababa bakwatiddwa, abawonye
n'ababa bafudde.
Okunoonya akalulu mu masinzizo
tekukkirizibwa.
Okusaba okwa buli kaseera
mu nnaku ez'enjawulo era nga
kw'abantu batono kukkirizibwa.
Abaana abato abasabira
mu nteekateeka ekolerwa abato
tebakkirizibwa kukuηηaana
mu masinzizo gonna okutuusa
ng'amasomero gagguddwaawo.
Obudde bwa kaafi yu bulina
okugobererwa.
Ebiteekebwamu ebirabo tebirina
kukwatibwako.
Okubeera n'omukuumi aluη−
ηamya abakkiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu