TOP

Bamukutte n'omutwe gw'omwana mu kibookisi

Added 15th September 2020

Kyamagero agambibwa okutemwako omutwe. Wakati ye Nowashaba gwe baakutte n'ekibookisi

Kyamagero agambibwa okutemwako omutwe. Wakati ye Nowashaba gwe baakutte n'ekibookisi

OMUVUBUKA yakedde kusalako mwana mutwe e Masaka n'agwetikka okugutuusa ku palamenti n'ategeeza abaserikale: ndeese kirabo kya Sipiika Rebecca Kadaga. Munzigulire nkimutwalire.

Nkola ya palamenti, abaserikale okwaza buli ayingirayo n'okwetegereza ebitereke oba ekintu kyonna ekigenda mu palamenti. Bwe batyo abaserikale baayazizza omuvubuka. Kyabayitiriddeko bwe baayazizza ekirabo kya sipiika nga mutwe gwa mwana oguzingiddwa mu kiveera.

Amawulire gaasaasaanye mangu mu palamenti ekyaddiridde kasattiro mu baserikale n'abakozi.

Poliisi yatadde omuvubuka ku mpingu n'ayingizibwa mu kasenge akenjawulo okwongera okubaako by'annyonnyola.

Omwana eyattiddwa mu bukambwe ye Faith Kyamagero ow'emyaka etaano. Muwala w'Omusumba w'abalokole Charles Ssennyonga ow'e Kijabwemi-Masaka.

Eyasaze omwana ye Joseph Nowashaba ow'emyaka 22. Yajja e Kijabwemi nga kalantiini yaakalangirirwa olwa corona. Kigambibwa nti yava Bushenyi mu Ankole kyokka nga talina w'abeera.

Omusumba Ssenyonga yamusembeza ewuwe bwe yamuzuula nga yandiba ng'aliko ekikyamu ku mutwe.

"Omulimu gwaffe Abasumba kusembeza n'okusabira abalina ebizibu. Nnamulaba aliko ekikyamu ne mmusembeza era buli lunaku mbadde musabira atereere", bwe yategeezezza.

Ku Ssande omuvubuka yavudde awaka ng'ali n'omwana Faith. Maama w'omwana, Glory Ssenyonga bwe yakomyewo n'ategeezebwa nga Joseph bwe yagenze ne Faith n'atya nnyo.

Baanoonyezza omwana n'ababula kyokka eggulo ku Mmande abakozi ku ssengejjero ly'amazzi erya National Water and Sewerage Corporation e Kijabwemi baagudde ku kiwuduwudu ky'omwana. Omulambo gwabadde gusaliddwaako omutwe n'ebitundu by'ekyama.

Gwabadde mu kitaba ky'omusaayi nga kiteeberezebwa nti yasaliddwa ggulo ku maliiri.

Joseph bwe yamaze okusalako omwana omutwe n'aguzinga mu kaveera n'agenda ku siteegi we yalinnyidde cosita eyamuleese e Kampala.

Yayingidde ekibuga ng'essaawa ziri mu 4:00 ez'enkya. Okuva ku ppaaka yatambuzza bigere okutuuka ku palamenti n'omutwe.

Ng'atuuse ku wankaaki abaserikale baamubuuzizza:

Ggwe ani? Oyagala ki?

Okuddamu: Nze Joseph nvudde Bushenyi. Bwe nnatuuse e Masaka, abantu baayo ne bampa ekirabo nkireetere Sipiika Kadaga.

Baamwazizza ne bakebera akaveera nga mulimu mutwe gwa muntu.

Engeri gye yamusse ku Ssande, omusumba ne mukyalawe baabaddeko gye baagenze. Baalese abaana awaka ne Joseph.

Baakomyewo ne bategeezebwa nga Joseph bwe yabadde atambudde ne Faith.

Baanoonyezza ne babulwa Joseph ne Faith gye bali.

Bazze awaka ne basula nga basaba beegayirira Katonda akole ekisinga okuba ekirungi.

Omukozi ku ssengejjero ly'amazzi eyategeerekeseko erya Katumba eyakedde ku mulimu yeekanze omulambo gw'omwana.

Yabadde asaliddwaako omutwe n'ebitundu by'ekyama. Alabika baabadde baakamutta kubanga omusaayi gwabadde tegunnakwata bitole. Kwe kutemya ku boobuyinza.

Ssenyonga agamba nti Joseph yalese agambye abaana abaasigadde awaka nti agenze ku nsiko kunoga ddagala. Yagenze ne Faith n'akambe ke yamusazizza.

"Sirina kye nvunaana. Byonna mbikwasizza Katonda. Nze nnakola ogwange ng'omusumba okulabirira omuvubuka", bwe yagambye.

Maama w'omwana Glory Ssenyonga agamba nti yabadde mu kuziika ne bamutegeeza nga Joseph bwe yabadde abuze n'omwana we.

"Joseph abadde atuweereza bulungi wadde nga weyajjira yali alabika ng'aliko ekikyamu", bwe yagambye.

Kyokka aba LC banenyezza Ssenyonga okuleeta omuvubuka ku kyalo n'atamwanjula mu baabuyinza.

Abantu abaakuhhaanye abaakulembeddwa Robert Asiimwe baasonze ssente okuyambako ffamire mu by'okuziika.

Poliisi yaggyeewo omulambo n'egutwala mu ggwanika e Masaka.

Abatuuze baabadde bakyebuuza Joseph gy'ali ne bategeezebwa bw'akwatiddwa ku palamenti n'omutwe ng'agutwalira sipiika.

RDC w'e Masaka, Herman Ssentongo avumiridde ettemu kyokka n'asaba abatuuze bulijjo okugoberera amateeka g'ebyokwerinda nga banjula abagenyi mu boobuyinza.

Ku palamenti, Joseph yassiddwa mu mmotoka ya buyonjo eyamututte ku kitebe kya bambega e Kibuli ng'ali ku mpingu.

Omutwe gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago.

Aboobuyinza balowooza nga waliwo abaakozesezza Joseph okutta omwana nga y'ensonga lwaki yasaliddwaako ebitundu by'ekyama.

POLIISI BY'EZUDDE

Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles Mansio Twine yagambye nti baazudde ekiwuduwudu ky'omwana e Kijabwemi. Yagasseeko nti omusaayi gwe baggye we baamuttidde n'omutwe baabiwerezza ew'omukugu wa Gavumenti abyekebejje. Gwe baakutte n'omutwe ye Joseph Nuwashaba 22, ava kyalo Kizinda mu Ishaka mu disitulikiti y'e Bushenyi.

Sipiika teyafunyise kwogera ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...