TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga ataddewo bbiriyooni 37 okusuula Trump mu kalulu

Omugagga ataddewo bbiriyooni 37 okusuula Trump mu kalulu

Added 15th September 2020

OMUGAGGA bifeekeera ayongedde okutabula akalulu ka Amerika bw’akutte obukadde bwa doola 100, mu za Uganda ze bbiriyooni 37 n’aziwa Joe Biden owa DP azikozese mu kalulu abakubire Donald Trump bwe balina embiranye ey’amaanyi.
Micheal Bloomberg 78, ng'akwata ekifo kyamwenda mu bagagga mu nsi yonna, ssente z'awadde Biden aziwereekerezzaako ebigambo ebikambwe ku Trump gw'ayise ekisajja ekitalina mulamwa, buli kimu kimulemye, ali mu kubalaata nga Corona atta abantu n'agamba nti ajja kusaasaasaanya buli ssente eyeetaagisa okumuggya mu White House mu kalulu ka November 3, 2020.

Trump ne Bloomberg bombi bagagga ffugge era ssente zibayataba kyokka Bloomberg akubisaamu Trump ebitundu nga 40.

Okusinziira ku katabo ka Forbes Magazine akasengeka abagagga mu nsi yonna: ebyobugagga bya Bloomberg eyaliko Meeya w'ekibuga New York (2002-2013) bizitowa doola eziri mu bbiriyooni nga 60 era akwata ekifo kyamwenda mu nsi yonna so nga Trump azitowa ddoola bbiriyooni 2 n'obukadde 100 era akwata ekifo kya 715 mu nsi yonna.

Bloomberg yagezaako okwesimbawo mu kalulu bwe yeesogga akamyufu ka ba Democrats wabula n'awanduka kyokka yaleka ataddewo ekyafaayo mu byobufuzi bya Amerika bwe yasaasaanya obutitimbe bwa ssente mu myezi esatu gye yamala mu lwokaano.

Mu myezi ng'esatu gyokka gye yamala mu kampeyini z'akamyufu k'ekibiina ky'aba Democrats okuva November 24, 2019 lwe yalangirira nti yeesimbyewo okutuuka March 4, 2020 lwe yawanduka, Bloomberg yasaasaanya doola obukadde 350, ekitegeeza nti mu nnaku 101 ze yamala mu kampeyini, Bloomberg yasaasaanya doola obukadde 3 n'emitwalo 5 buli lunaku ekyamufuula Munnabyafuzi akyasinze okussa ensimbi mu kampeyini ku kaseera akatono.

Ku ssente doola obukadde 350 ze yasaasaanya mu Kampeyini, obukadde 275 Bloomberg yazzizza mu bulango bwa TV n'emikutu gy'empuliziganya ng'alumba Pulezidenti Trump era yasuubizza okukubisaamu emirundi nga mukaaga kw'ezo z'agenda okussa mu kampeyini za Biden.

Kati Bloomberg asazeewo okussa ssente mu kulwanyisa Trump era doola obukadde 100 z'awaddeyo, Bloomberg ayagala Biden azisse nnyo mu ssaza lya Florida kimuyambe okuliwangula olw'amaanyi gaalyo kyokka nga Trump alinayo ebyobugagga bingi n'olw'abantu abangi b'awa emirimu, alinayo emikisa mingi egy'abalonzi.

Ng'ebya ssente zino bimugudde mu matu ku Ssande, Trump yeewuunyizza omusajja gwe yayise ‘Mini Mike' ng'ategeeza Micheal Bloomberg nti yali alowooza bwe yagwa mu byobufuzi lwe yeesimbawo n'asaasaanya ssente empitirivu n'okwogera ebitakwatagana yabivaamu. Nti kyokka yeekanze akyasaasaanya ssente n'amwewuunya obutakoowa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...