TOP

Owa booda omulala yeekumyeko omuliro

Added 15th September 2020

OMUYIZI avudde mu mbeera ne yeekumako omuliro ku poliisi y’e Kireka oluvannyuma lw’abaserikale okumuwambako bodaboda ne bamusaba emitwalo 10.

Poliisi y’e Kireka

Poliisi y’e Kireka

Emmanuel Kabanda 23, asoma ebyenfuna ku Nsamizi Techinical Insititute e Mpigi era nga mukugu mu bya kompyuta, yeekumyeko omuliro ku ssaawa ssatu ez'ekiro ekyakeesezza Mmande.

Abadde mutuuze mu zooni ya Kireka C awali kkampuni eyitibwa Diamond Co-operation Graphics eya Mukulu, we Lasto Kabanda era nga wano w'abadde asinziira olumu n'agenda okunoonya ekyokulya ku bodaboda mukulu we gye yali yabawa okubayambako.

Julius Kavuma, omu ku baabadde ku poliisi nga bino bigwawo, yagambye nti byatandise nga byakusaaga.

Yagambye nti abaserikale olwakutte pikipiki ye yatuuse ku poliisi n'ababeegayirirra okugimuddiza ne bamusaba emitwalo 10.

Kavuma annyonnyola nti omuvubuka yafukamidde wansi n'agamba omu ku baserikale nti: ssebo nninamu emitwalo ebiri gyokka ate giri wano ku ssimu kanziggyeyo zemba nkuwa, kyokka e n'amugoba.

Yagambye nti olwavudde eno, yazze ku mmeeza we bayingiriza emisango ne yeegayirira eyabadde ku kawunta, naye yamuzzeemu kukola kye bamugambye.

Yafunye omuntu gwakubira ng'amusaba ku ssente era kigambibwa nti yamuweerezza 30,000/-.

Yazzeeyo ew'omuserikale ne 50,000/-, wabula ne yeerema, n'amulagira ave ku poliisi. Wano we yaviiridde mu mbeera n'agenda agula amafuta n'adda ne yeekumako omuliro.

Gerald Mugerwa, atera okukanika pikipiki ya Kabanda yagambye nti yamutegeezezza nti: Bansabye emitwalo 10 naye bwe mmuwa etaano n'azigaana, ogenda kuwulira ekinaabeera ku poliisi kuba wayinza okuvaayo omuntu afudde olwa piki yange.

Oluvannyuma lw'akaseera katono yagenze okuddamu okutunula ku poliisi ng'alaba ekitangaala nga n'abantu bakuhhaanye. Kigambibwa nti bwe yeekumyeko omuliro yayagadde atwaliremu omuserikela ono, wabula n'amusukuma wabweru ye ne yeesibira mu ofiisi ye.

Kigambibwa nti abaamutaasizza baavudde ku bibanda bya mbaawo obusukka kkubo ne basumulula taapu y'amazzi eya poliisi ne bazikiza omuliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...