TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bizinensi ezirya ku masomero ziraze bwe zibeerawo okuva lwe gaggalwa

Bizinensi ezirya ku masomero ziraze bwe zibeerawo okuva lwe gaggalwa

Added 16th September 2020

ABALI mu bizinensi ezeekuusa ku by'amasomero batandise okwekubako enfuufu n'okuyiiya amasomero gagende okuggulawo gabasange nga bakyali banywevu mu bizinensi.

Bya JALIAT NAMUWAYA

ABATUNZI BEESUNGA KUKOLA MASIKI EZA YUNIFOOMU 

Ronald Mulima mutuuze w'e Kibuli mu ggombolola y'e Makindye ng'eno gy'akakkalabiza emirimu egy'okutunga ekyalaani ng'atunga 
yunifoomu z'abayizi n'engoye eza bulijjo.
Amasomero bwe gaggalwa,  Mulima amaanyi yaggaza ku kutunga bukookolo (masiki) era nga wano w'akyasibidde olukoba. 

MASIKI EZA YUNIFOOMU

Mulima yatandise dda okutuukirira abakulu b'amasomero obutamuyisaako katale ka kutungira bayizi masiki eza yunifoomu ate nga  ziri ku mutindo ogwalagirwa ekitongole ky'omutindo mu ggwanga ekya UNBS era agamba nti asobola n'okuzikubako akabonero k'essomero oba okugiwandiikako erinnya ly'essomero nga nnyini  ssomero bw'aba yeetaaze .

Buli kimu agamba yamaze okukiteekateeka era amassomero we gaddiramu naye w'atandikira .

 

ABAKOLA EBITABO BAZZEEMU

Ku Nasser Road mu Kampala  awasinga okukolerwa ebitabo by'abaana b'amasomero akeetereekerero kaatandise bwe baawulide oluvuuvumo nti amasomero gandiggulwawo nga 21 omwezi guno.

Ibrahim Kibirige akola ebitabo ebinene abayizi bye bawadiikamu (black books) yagambye nti kyenkana okuva amasomero lwe gaggalwa mu February w'omwaka guno nabo bizinensi zaabwe ne zigootaana.
Kibirige yategeezezza nga bwe beekolamu SACCO  ku Nasser bwatyo n'asaba gavumenti okubadduukirirayo ne ssente basobole okwongera mu bizinesi zaabwe kyenkana ezitakyalimu kapito olw'okukosebwa okuggalwa kw'amasomero.

Mu kiseera kino ye ne banne bazzeemu okukola ebitabo okwongereza ku sitoooko enkadde eyasigalawo amasomero lwe gaggalwa yadde ng'essuubi ly'okukola ku ssente eziwera balirina mwaka gujja ebibiina byonna bwe biribeera bigguddwaawo.

ABATUNDA AKAWUNGA

Mu bitundu by'omu Kisenyi mu Kampala abasuubuzi abakuba n'okutunda obuwunga batutegeezezza nti okutuusa ng'omukulembeze w'eggwanga amaze okulangirira  tebayinza kwesunga nnyo kuggulawo kw'amasomero .
Wabula kino tekyatangidde omu ku basuubuzi  ,Khalim Matovu okubaako sitoowa  gy'apangisa nga munno mw'aterese obusawo bw'obuwunga obuwerako era we bagambira nti amassomero gagguddewo ajja kuba  asobola bulungi okugaguza mu bungi  .

Agamba nti gavumenti esaanidde okubaako engeri gy'ekwatirako amasomero kagabeere ga bwannannyini ku ky'okuliisa abayizi .

ABEEBYENJIGIRIZA

Omwogezi wa ministule y'ebyenjigiriza Patrick Muinda yawabuddemu nti tewannabawo lunaku lutuufu lwalambikiddwa  masomero kuggulwawo era n'asaba abayizi ,abazadde n'abasuubuzi okusigala nga bakkakkamu okutuusa bwe banaafuna okulambika okuva mu minisita w'ebyenjigiriza oba omukulu w'eggwanga .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu