TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga lwaki tosaanye kugayaalirira mutwe ogwo ogukuluma

Ensonga lwaki tosaanye kugayaalirira mutwe ogwo ogukuluma

Added 16th September 2020

Omutwe oguluma bangi batera okukugayaalirira nga bawoza nti gujja kuwona gwokka ne batamanya nti oluusi guba gulanga endwadde ennene ezeetaaga okwanguyira.

Dr. Robert Ssebunnya

Dr. Robert Ssebunnya

LWAKI TOSAANYE KUGAYAALIRIRA MUTWE OGWO OGUKULUMA 

Omutwe oguluma bangi batera okukugayaalirira nga bawoza nti gujja kuwona gwokka ne batamanya nti oluusi guba gulanga endwadde ennene ezeetaaga okwanguyira. 

Dr Thomas Kiggundu annyonnyola nti omutwe oguluma oluusi guba gulanga endwadde ennene ezeetaaga okwanguyira. 

Oyinza okuba nga wafuunye akabenje omutwe ne gikosebwa munda nga tomanyi, oluusi gulanga kusannyalala naddala mu balina ssukaali oba puleesa. 

Dr Kiggundu era agamba nti oluusi guba gulanga kizimba ku bwongo oba ng'omusaayi gukugenze ku bwongo oba nti eddagala eryo ly'okozesa lye likulumya omutwe. 

OBUBONERO OBWETAAGA OKWANGUYIRWA  

Dr. Robert Ssebunnya agamba nti bw'olaba obubonero buno tera olabe omusawo 

l Omutwe gukuluma nga tokyasobola kuwandiika, tolaba bulungi oba ng'osannyaladde oluuyi olumu, laba mangu omusawo kuba wandibaawo obuzibu obw'amaanyi.  

l Omutwe gukulumira enkoto, kayinza okuba akabonero akalanga ekizimba ku bwongo, ng'omusaayi guyiise mu bwongo, omusaayi ogwekutte mu mutwe, kookolo w'omu mutwe n'obuzibu obulala.   

l Omutwe ogukyukakyuka  ,leero gukulumira mu maaso ate bwe gudda ne gukulumira ku luuyi lw'amatu ate nga gukuluma nnyo naddala mu bantu abalina siriimu olina okulaba amangu omusawo.  

l Ng'olumwa omutwe omulundi gwo ogusookedde ddala naye nga gwa maanyi nnyo oluusi kabeera kabonero ngomusaayi guyiise mu bwongo.  

l Omutwe ogukuluma naye n'ofuna obuzibu obulala nga n'omutima gukulumirako, ebigere nga bizimbye , nga tokyasobola kufuuyisa, olina okulaba amangu omusawo kuba obubonero obwo bulaga nti n'ebitundu by'omubiri ebirala birina obukosefu.  

l Omutwe oguzuukusa omuntu nga yeebase, ogenda okuzuukuka nga gukuluma nnyo, guyinza okulanga okwesika, oba ekintu ekitali kituufu bwongo.  

Emboozi enzijuvu ku mitwe egiruma, ebika byagyo, ebigireeta, bw'ogiziyiza n'obujjanjabi obusookerwako eri mu lupapula lwa Bukedde w'Olwokuna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu