TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Asse mukazi we gw'alumirizza obwenzi: Omulambo agusibidde mu nnyumba n'adduka

Asse mukazi we gw'alumirizza obwenzi: Omulambo agusibidde mu nnyumba n'adduka

Added 16th September 2020

Kigambibwa nti abafumbo bano baasoose kulwana ng'omusajja ateebereza omukazi okuganza abasajja abalala.

Abatuuze n'abaserikale nga bassa omulambo gwa Negabanya ku kabangali ya Poliisi

Abatuuze n'abaserikale nga bassa omulambo gwa Negabanya ku kabangali ya Poliisi

ABATUUZE baazuukukidde mu ntiisa bwe basanze nga mutuuze munnaabwe asse mukazi we, omulambo agusibidde mu nnyumba n'abulawo.

Kigambibwa nti abafumbo bano baasoose kulwana ng'omusajja ateebereza omukazi okuganza abasajja abalala.

Ettemu lino lyabadde ku kyalo Kakukuulu mu ggombolola y'e Kasawo mu disitulikiti y'e Mukono.

Nebaganya eyatemuddwa

Deogratius Kabaganda ye yakubye mukazi we Edith Negabanya,  n'oluvannyuma n'amufumita effumu eryamuggye mu bulamu mu kiro ekikeesezza leero.

Abatuuze bagamba nti bano baatabukidde mu bbaala eggulolimu era ne batandika okulwana nga omusajja alumiriza mukazi we obwenzi.

Okusinziira mu ku Noor Nakakaawa ono nga ssenga w'omugenzi abafumbo bano babadde batera okutabuka nga omwami alum iriza omugenzi okubaliga era nga buli lwe wabaawo obutakkanya amwewerera okumutta.

Kabaganda agambibwa okutta mukazi we

Ssentebe wa LCI Joseph Musisi agambye nti bw'ategedde bino ayise poliisi okuva e Kabimbiri era nayo n'etuuka awagudde emitawana gino.

Abatuuze bavumiridde ekikolwa kya Kabagambe okutta mukazi we.

Baamunoonyezzaako nga bagoberera obuufu mweyayise ng'adduka wabula ababuze byonna ne babirekera poliisi emuyigge.

Sarah Higenyi maama w'omugenzi ng'akaaba

Maama w'omugenzi Sarah Higenyi naye yatuuse wakati mu kwaziraana era nti ono mwana we wakusatu okufa mu bbanga lya myaka ebiri.

OC wa poliisi y'e Kasawo Gerald Kusuro yagambye nti omulambo bagututte mu ddwaliro ly'e Kayungaabasawo abagwekebejje nga n'omuyiggo ku Kabaganda gutandise era bwe bamukwata wakuvunaanibwa ogw'obutemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu