
Agambye nti ye y'engabo ya Bannakampala era kw'olabira engabo y'omulwaayi nnamige asinga eba ejjudde ebinuubule . N'agamba nti bamulwanyisizza ebbanga ave ku nsonga z'abantu naddala abanaku abakolera mu butale, aba bodaboda, abattakisi mu ppaaka , amasomero , ebisaawe ng'abagagga baagala okubitwala naye alemeddeko era eno y'ensonga enkulu abaagala entebe ye gye bamulanga naye tebamusobola.
Akoze omukolo munene mu makaage agasangibwa mu Bulwa zooni e Lubaga kw'atongolezza ekitabo ekirimu by'akoledde Bannakampala okuva mu 2016 okutuusa kati n'okwanjula by'asuubira okwongera okukola ng'azziddwa mu ntebe.
Ayise abakulembeze be yayise kabiriiti abatawangulwa mu kalulu.
Yagambye nti alina ekifaananyi ekinene ky'ayagala Kampala ng'ekibuga ky'eggwanga ekikulu bw'ayagala kirabike era agenda kukola nnyo okulaba nti afuuka engabo ya Bannakampala erwanyisa okunyigirizibwa n'okutulugunya bamufuna mpola.
Engabo erwanyisa obulyi bw'enguzi n'okubba ebintu bya gavumenti, engabo ekuuma ettaka lya gavumenti ne bannannyini obutatwalibwa kibinja kya bamafia.
Ayagala okuba engabo etangira ebikolwa by'okusengula abantu mu bukyamu, engabo ekomya obukulembeze obutatambulira ku mateeka n'ebikolwa byonna ebyokunyigiriza.








By'akoze;
- Ayanjudde by'akoze omuli okunyweza enfuga etambulira ku mateeka mu Kampala okwawuka ku bammeeya abaaliko n'alaga nti mu myaka ena akoleddemu amateeka 14 okuli erifuga obutale, erikuuma abaana mu maka n'okukomya okunyigirizibwa , erifuga obuyonjo n'okunnyikiza enkola ya buli maka okuba ne kabuyonjo ey'omulembe.
- Alaze etteeka erifuga endabirira y'ekibuga naddala okusimba omuddo n'okukirabisa obulungi. Akoze etteeka erifuga ttakisi mu Kampala.
- Akoze amateeka agalung'amya enkola y'abaserikale ba KCCA abakwasisa amateeka okulaba nga bakomya okutulugunya. Yalaze nti akoze etTeeka eriyamba abakolera ku nguudo n'okubalung'amya mu nkola yaabwe.
- Agambye nti tewabadde tteeka lirung'amya nkozesa ya kamera za ku nguudo mu kibuga ssaako okulangira ku bipande ku nguudo. Ssaako okuyamba abaliko obulemu mu Kampala. Ayanjudde amateeka ku bodaboda n'emmotoka ennene ezikolera mu kibuga.
- Lukwago agambye nti ataddewo enkola y'okusengeka emirimu egikolebwa mu kibuga. Muno mulimu okussa amataala ku nguudo, okukola emyala egitambuza amazzi nga gya buwangaazi, okulaba ng'obutonde bwensi bukuumibwa mu mateeka.
- Alaze nti bakoze enteekateeka eyenjawulo ku masomero ga gavumenti nga bulimu okugakuuma n'okukomya abaali bagagabana ng'ebisaawe babitwala.
- Loodi Meeya ategeezezza nti agulubye n'ababbi ba ssente za gavumenti era kati KCCA etambulira ku mateeka agafuga ennyingiza n'ensaasaanya.
- Mu kitabo ataddemu nti ababadde babba ebintu bya gavumenti naddala ssente z'enguudo bonna abaanise era baggya kuzisesema.