TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisitule y'ebyobulamu eyagala Famire eyababyeko omulambo bakeberebwe corona

Minisitule y'ebyobulamu eyagala Famire eyababyeko omulambo bakeberebwe corona

Added 16th September 2020

ABAKUNGU mu minisitule y’ebyobulamu bategeezezza nti bateekateeka kutwala basawo baabwe eri aba ffamire y’Omusuubuzi, Annet Nabachwa agambibwa okuba nga yafudde obulwadde bwa Corona, kyokka omulambo gwe ne bagubanyagako ne bagweziikira.

Aba famire nga baziika omuntu waabwe

Aba famire nga baziika omuntu waabwe

Bya Stuart Yiga

ABAKUNGU mu minisitule y'ebyobulamu bategeezezza nti bateekateeka kutwala basawo baabwe eri aba ffamire y'Omusuubuzi, Annet Nabachwa agambibwa okuba nga yafudde obulwadde bwa Corona, kyokka omulambo gwe ne bagubanyagako ne bagweziikira.

Ayogerera minisitule y'ebyobulamu, Emmanuel Ainebyona, yategeezezza Bukedde, nti balindirira ekyenkomeredde okuva eri akulira ttiimu erondoola abagambibwa okuba  n'obulwadde bwa Corona, Dr. Kyobe Bbosa, ababuulire ekyenkomeredde ku nteekateeka zonna oluvannyuma balabe ekiddako.

Nabachwa, abadde omusuubuzi w'ebirime e Jjeza ku luguudo oluva e Kampala, oludda e Mityana, yaziikiddwa ku Mmande, ku kyalo Kibumbiro, ekisangibwa mu ggombolola y'e Muduuma, mu disitulikiti y'e Mpigi wakati mu bunkenke.

Wabula, omu ku booluganda lw'omugenzi, Bernard Muwanga, yategeezezza nti okuziika omuntu waabwe basooka kutegeezebwa omukozi w'omusalaba omumyufu (Red Cross) eyajja n'abasawo n'abakakasa nti si kituufu nti omuntu waabwe yali afudde Corona.

"Bwe baba bagamba nti omuntu waffe yafudde Corona, lwaki eyali amujjanjaba baamusiibula n'adda eka ne yeetaba n'abantu abalala?"Muwanga bwe yabuuzizza.

Yagaseeko nti kijja kubabeerera kizibu okunoonya aba famire bonna abaali mu kuziika kubanga abasing baava mu bitundu bya njawulo era nga baddayo dda.

Ono era yanenyezza aba minisitule n'agamba nti nga tebannaba kutwala mulambo ku kijja kyabwe, bandisoose kwetegereza byakwerinda ebyaliyo so si kusooka kufuna buzibu ne balyoka baleeta Poliisi.

 "Amazima gali nti si kyangu kumanya abaakwata ku mulambo kubanga embeera yali yakavuyo nga n'olwensonga eyo, tekijja kibeera kyangu kuddamu kubakungaanya kubakebera," Muwanga bwe yagaseeko.

Ye Phionah Nalwoga, muwala w'Omugenzi era nga ye yali amujjanjaba mu ddwaliro e Mengo, nga tannakyusibwa kutwalibwa Ntebe mu Grade B, yategeezezza nti, nnyina abadde amaze emyaka egisoba mu kkumi ng'atawaanyizibwa obulwadde bw'ekiwanga ne asima, ekibadde kimuviirako oluusi okufuna obuzibu mu kuffa.

Yagambye nti abuusabuusa okuba nga maama we yafudde Corona, ng'abasawo bwe baagambye nti kuba obubonero kwe baasinzidde okumuyita omulwadde okuli okumulumizibwa omutwe, n'obutassa bulungi,  aludde ng'abulina.

"Nze bukyanga bangoba ne ngenda ewaka, mbadde n'abantu bangi kyokka maama yamaze kufa olwo abasawo ne bava ku disitulikiti e Mpigi okunzigyako sampo," Nalwoga bwe yagambye.

Nabachwa, yatwalibwa mu ddwaliro e Mengo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde kyokka enkeera abasawo ne bakizuula nti yalina obulwadde bwa Corona.

Ku Lwokutaano abasawo baamuggya e Mengo ne bamutwala mu ddwaliro lya Entebe Grade B, gye yafiiridde ku Lwomukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...