TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enneeyisa ya Kibalama eyawa Bobi Wine ekibiina kya NUP erese bammemba beebuuza ebibuuzo

Enneeyisa ya Kibalama eyawa Bobi Wine ekibiina kya NUP erese bammemba beebuuza ebibuuzo

ENNEEYISA ya Moses Kibalama eyaguza oba okuwa Bobi Wine ekibiina kya NUP erese aba NUP beebuuza ebigerendererwa bye.

Kibalama (ku kkono) lwe yakwasa Bobi Wine ekibiina kya NUP.

Kibalama (ku kkono) lwe yakwasa Bobi Wine ekibiina kya NUP.

Eggulo yasindise looya omupya Enock Mwahinda mu kkooti enkulu n'ategeeza nti yawubisibwa balooya ba Bobi okuli Anthony Wameri ne Medard Seggona (bano era be balooya ba Kibalama) okukyusa ekibiina okuva National Unity Reconciliation and Development Party NURDP okufuuka NUP.

Looya Mwahinda yategeezezza nti ng'akolera ku biragiro bya Kibalama ne Simbwa Kagombe, bazudde nti Bobi yabakwata obujega. Bye bakkaanya okukyusa ekibiina kifuuke NUP bikyamu.

Bagattako nti Bobi yagaanyi n'okutuukiriza endagaano etali mu buwandiike ey'okubawaayo bbiriyooni 18 (doola obukadde butaano). Baasabye kkooti eymirize n'okusazaamu ekibiina kya NUP.

Kyokka balooya ba Bobi baategeezezza omulamuzi nti Kibalama ne banne balina okujja mu kkooti nga September 25 babeeko bye baanukula. Omulamuzi yakikkirizza.

Ensonga za Kibalama ne Bobi zazze mu kkooti ku Mmande ey'omulmuzi Moses Sekana. Looya wa Kibalama yatutteyo ensonga nti NUP kyawandiisibwa mu bukyamu. Omulamuzi n'abagoba ng'agamba nti amannya gaabwe ge gali ku biwandiiko ebiraga nti NUP eriwo mu mateeka.

Ate be bamu abali ku biwandiiko ebigamba nti NUP eriwo mu bukyamu. Omulamuzi n'agattako nti NUP yeetaba dda mu kalulu oluvannyuma lw'okukkirizibwa akakiiko k'ebyokulonda. Okukyusa kati kuba kuleeta kavuyo.

KIBALAMA AFULUMYA AKATAMBI

Ekyazzeeko ye Kibalama okufulumya akatambi ng'annyonnyola engeri Bobi gye yagaana okutuukiriza bye beeyama okuli okumusasula obuwumbi 18.

Aba Bobi bazzeemu nti ebyo bifumbirire era akissa ku Museveni nti y'ali emabega w'ensonga ezo kubanga atidde Bobi. Bobi agamba nti tewali ngeri gy'ayinza kweyama kusasula kibiina buwumbi 18 aba yaziggye wa?

Ekirala alaga akatambi nga Kibalama ategeeza nti ddiiru yaabwe teriimu ssente. Bino bijjidde mu kiseera nga NUP esunsula abanaavuganya ku kaadi yaayo okutandika wiiki ejja. Bano bonna balinze kiddako.

AMAGYE GE GALINA KIBALAMA

Kibalama yava awaka e Buwambo mu Wakiso ku Mmande era famire ye n'etegeeza ku Lwokuna nti abuze tebamanyi gy'ali. Amaka ge gakuumibwa magye. Kyokka amagye gaagambye nti ge gamulina kubanga gaakitegeddeko nti obutakkaanya bw'alina ne NUP buvuddeko okumutiisatiisa.

AKAVUYO KALEKA WA BOBI N'ABALI KU KAADI ZA NUP

Ebiwandiiko n'obujulizi ku byakolebwa ng'ekibiina kya Kibalama kikyusa erinnya biraga nti buli kimu kyagobererwa era bonna bakkaanya. Akakiiko k'ebyoby'okulonda ssaako n'ekitabo kya gavumenti ekiyingiza ebiwandiiko ebikulu (Gazzette) byonna bikakasa nti ensonga zaagobererwa.

Ku mutendera guno, Bobi, ssaako n'esimbyewo ku kkaati ya NUP tewaba kibeeraliikiriza. Munnamateeka Nicholas Opio agamba bwe weetegereza ebigambo bya Kibalama olaba nga tali yekka era tabikola lwa kukkiriza kwe kirabika nga waliwo amukaka.

Okusinziira ku bye yayogera okusooka ne by'ayogera kati basobola okumuggulako omusango mu kkooti olw'okujingirira n'okulimba kkooti. Bwe babeera nga baalina okukkaanya kwe baatuukako ne Bobi Wine, aleete obujulizi abutwale mu kkooti amugguleko omusango ogw'engassi asobole okumusasula ssente z'amubanja.

Kyokka waliwo balooya abalala abagamba nti Bobi tasaanye kweyibaala nnyo kuba oluusi kkooti esobola okukkiriza ekirayiro ekisembyeyo ekisangula ekyasooka olwo Kibalama n'afuna ky'ayagala.

Kyokka waliwo abalowooza ate nga be bangi nti Kibalama yandiba ng'akozesebwa era omusango ne guyingizibwamu ebyobufuzi era awo kkooti eba erina kugugoba.

Eky'okukosa emikisa gya Bobi okwesimbawo oba obuteesimbawo abatunuulira ebyobufuzi bagamba nti wano Bobi talinaawo buzibu bwonna okuggyako ekisoboka kyokka okukyukamu ate nga nakyo kizibu kwe kumulemesa okwesimbirawo ku kkaadi ya NUP.

ENNEEYISA ya Moses Kibalama
eyaguza oba okuwa Bobi Wine
ekibiina kya NUP erese aba NUP
beebuuza ebigerendererwa bye.
Eggulo yasindise looya omupya
Enock Mwahinda mu kkooti enkulu
n'ategeeza nti yawubisibwa
balooya ba Bobi okuli Anthony
Wameri ne Medard Seggona
(bano era be balooya ba Kibalama)
okukyusa ekibiina okuva
National Unity Reconciliation
and Development Party NURDP
okufuuka NUP.
Looya Mwahinda yategeezezza
nti ng'akolera ku biragiro bya
Kibalama ne Simbwa Kagombe,
bazudde nti Bobi yabakwata obujega.
Bye bakkaanya okukyusa
ekibiina kifuuke NUP bikyamu.
Bagattako nti Bobi yagaanyi
n'okutuukiriza endagaano etali
mu buwandiike ey'okubawaayo
bbiriyooni 18 (doola obukadde
butaano). Baasabye kkooti eymirize
n'okusazaamu ekibiina kya
NUP.
Kyokka balooya ba Bobi baategeezezza
omulamuzi nti Kibalama
ne banne balina okujja mu kkooti
nga September 25 babeeko bye
baanukula. Omulamuzi yakikkirizza.
Ensonga za Kibalama ne Bobi
zazze mu kkooti ku Mmande
ey'omulmuzi Moses Sekana.
Looya wa Kibalama yatutteyo
ensonga nti NUP kyawandiisibwa
mu bukyamu.
Omulamuzi n'abagoba
ng'agamba nti amannya gaabwe
ge gali ku biwandiiko ebiraga
nti NUP eriwo mu mateeka. Ate
be bamu abali ku biwandiiko
ebigamba nti NUP eriwo mu
bukyamu. Omulamuzi n'agattako
nti NUP yeetaba dda mu kalulu
oluvannyuma lw'okukkirizibwa
akakiiko k'ebyokulonda. Okukyusa
kati kuba kuleeta kavuyo.
KIBALAMA AFULUMYA AKATAMBI
Ekyazzeeko ye Kibalama okufulumya
akatambi ng'annyonnyola
engeri Bobi gye yagaana okutuukiriza
bye beeyama okuli
okumusasula obuwumbi 18.
Aba Bobi bazzeemu nti ebyo bifumbirire
era akissa ku Museveni
nti y'ali emabega w'ensonga ezo
kubanga atidde Bobi.
Bobi agamba nti tewali ngeri
gy'ayinza kweyama kusasula
kibiina buwumbi 18 aba yaziggye
wa? Ekirala alaga akatambi
nga Kibalama ategeeza nti ddiiru
yaabwe teriimu ssente.
Bino bijjidde mu kiseera nga
NUP esunsula abanaavuganya ku
kaadi yaayo okutandika wiiki ejja.
Bano bonna balinze kiddako.
AMAGYE GE GALINA KIBALAMA
Kibalama yava awaka e Buwambo
mu Wakiso ku Mmande
era famire ye n'etegeeza ku
Lwokuna nti abuze tebamanyi
gy'ali. Amaka ge gakuumibwa
magye. Kyokka amagye gaagambye
nti ge gamulina kubanga
gaakitegeddeko nti obutakkaanya
bw'alina ne NUP buvuddeko
okumutiisatiisa.
AKAVUYO KALEKA WA BOBI N'ABALI
KU KAADI ZA NUP
Ebiwandiiko n'obujulizi ku
byakolebwa ng'ekibiina kya
Kibalama kikyusa erinnya biraga
nti buli kimu kyagobererwa era
bonna bakkaanya. Akakiiko
k'ebyoby'okulonda ssaako
n'ekitabo kya gavumenti ekiyingiza
ebiwandiiko ebikulu (Gazzette)
byonna bikakasa nti ensonga
zaaagobererwa. Ku mutendera
guno, Bobi, ssaako n'esimbyewo
ku kkaati ya NUP tewaba kibeeraliikiriza.
Munnamateeka Nicholas Opio
agamba bwe weetegereza ebigambo
bya Kibalama olaba nga tali
yekka era tabikola lwa kukkiriza
kwe kirabika nga waliwo amukaka.
Okusinziira ku bye yayogera
okusooka ne by'ayogera kati basobola
okumuggulako omusango mu
kkooti olw'okujingirira n'okulimba
kkooti. Bwe babeera nga baalina
okukkaanya kwe baatuukako
ne Bobi Wine, aleete obujulizi
abutwale mu kkooti amugguleko
omusango ogw'engassi asobole
okumusasula ssente z'amubanja.
Kyokka waliwo balooya abalala
abagamba nti Bobi tasaanye kweyibaala
nnyo kuba oluusi kkooti
esobola okukkiriza ekirayiro
ekisembyeyo ekisangula ekyasooka
olwo Kibalama n'afuna
ky'ayagala. Kyokka waliwo
abalowooza ate nga be bangi nti
Kibalama yandiba ng'akozesebwa
era omusango ne guyingizibwamu
ebyobufuzi era awo kkooti eba
erina kugugoba.
Eky'okukosa emikisa gya Bobi
okwesimbawo oba obuteesimbawo
abatunuulira ebyobufuzi
bagamba nti wano Bobi talinaawo
buzibu bwonna okuggyako ekisoboka
kyokka okukyukamu ate nga
nakyo kizibu kwe kumulemesa
okwesimbirawo ku kkaadi ya
NUP.
ABA BOBI TEBANSASULA
Twakkaanya nga tuli baakuweebwa
obukadde butaano obwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...