TOP

Kibalama ayogedde: 'Aba Bobi tebansasula'

Added 19th September 2020

Kibalama nga bw'afaanana

Kibalama nga bw'afaanana

ABA BOBI TEBANSASULA

Moses Kibalama eyaguza oba okuwa Bobi Wine ekibiina kya NUP ayogedde;

Twakkaanya nga tuli baakuweebwa obukadde butaano obwaddoola zituyambeko mu buzibu bwe twalimu. Twakolagana bulungi wabula tuba tugenda mu maaso twewuunya nga tulaba ate bannaffe (aba Bobi) tebatusasula. Wano we twazuulira nti eno ddiiru yali egaanye era ne tusalawo tubiveemu.

Ne bw'otunuulira butunuulizi ebintu bwe bitambula ebimu si birambulukufu nga tekikyatwetaagisa kukolagana na bantu ng'abo.

Kibalama mu katambi kirabika yabadde ne Simbwa Magombe eyategeezezza nti ye yali omuwandiisi w'ekibiina kya NUP nga tekiNnalonda Bobi era y'omu ku baateekateeka okukikulembera.

Mu katambi, Simbwa yategeezezza nti ebintu byasooka kutambula bulungi nga batuukiriddwa aba People Power abaabasaba okubeegattako ne bakkiriza.

Agamba nti azze ategeeza ttiimu ya Bobi eky'okukola nga bakola byabwe okutuusa lwe baalemereddwa.

Kibala ma bye yas ooka okw ogera Njagala okutegeeza eggwanga nti okuva lwe twasalawo okukola enkyukakyuka z'ekibiina ne tukkaanya ne Bobi Wine ku nsonga y'ekibiina (NUP), mbadde mu buzibu obw'amaanyi ng'abantu abatategeekereka bantiisatiisa okunkolako obulabe nga bambuuza lwaki nakkiriza Omubaka Kyagulanyi okukikulembera.

Waliwo n'abannumba awaka era nasala amagezi ewange saasulawo. Abantu banjogerera bingi naye njagala okubategeeza nti ekibiina wekiri mu mateeka nga kikyakulembera omubaka Kyagulanyi ate kikyali ky'amaanyi.

Mwebale nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

Obugagga bwa Bisaka buwunii...

OBUGAGGA Bisaka bw'alese obuli mu buwumbi buwuniikirizza abantu abagamba nti, tabadde na mulimu mutongole gw'aggyamu...

Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Busega.

Abawagizi ba pulezidenti Mu...

Abawagizi ba pulezidenti Museveni wano mu Kampala bakwatiridde ku makubo okuva e Busega okumwaniriza nga bamukulisa...

Honarebo Ssegirinya ng'alumya abayaaye.

Ssegirinya wansuubiza okunf...

NKUBAKYEYO Goolixy Nalumansi eyali muninkini w'omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akiise ensingo....

Kansala Bitamiisi (ku kkono) abantu gwe baagambye nti muto.

Omwana asuuzizza maama eggaati

ABANTU bawuniikiridde bwe balabye omuwala abamu gwe baayisa omwana ng'awangudde obwakansala okukiikirira eggombolola...

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...