TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasazeeko omwana omutwe biibino bye yabuulidde poliisi

Eyasazeeko omwana omutwe biibino bye yabuulidde poliisi

Added 19th September 2020

OMUVUBUKA eyakwatiddwa n’omutwe gw’omwana ku Palamenti agambye nti aliko be yakolagana nabo mu ddiiru okuli omukazi eyamuvuze mu mmotoka okuva e Masaka okutuuka e Nateete.

Kyamagero eyatemuddwa. Wakati ye Nuwashaba ku mpingu ate ku ddyo ye Sipiika Kadaga

Kyamagero eyatemuddwa. Wakati ye Nuwashaba ku mpingu ate ku ddyo ye Sipiika Kadaga

Omukazi yamusasudde 80,000/- okutwala omutwe ku palamenti. Joseph Nuwashaba 19, (emyaka gye gyakakasiddwa taata we) yakwatiddwa ku Mmande n'omutwe ku palamenti ng'agamba nti kyabadde kirabo ky'atwalira Sipiika Rebecca Kadaga.

Yagusaze ku mwana Faith Kyamagero 3, (bazadde be baalaze Bukedde akatikiti k'obuzaale bwe). Mwana wa Pasita Charles Ssenyonga ne Gloria Katunguka ababeera e Kijabwemi mu Masaka.

Eggulo (Lwakutaano) bambega bazizzaayo Nuwashaba e Kijabwemi we yattira omwana abalage ne bwe yatambuza omutwe okutuuka ku palamneti. Ensonda zaagambye nti yabadde waakujja n'abaserikale mu mmotoka okuva e Masaka ng'abalaga we baayita n'ebifo we baayimirira okutuuka e Kampala.

Bambega baategeezezza nti Nuwashaba muzibu okuggyamu ekituufu kubanga akyusakyusa ebigambo. Kati baasazeewo kukozesa bukugu baggye amawulire mu nsonda endala.

Okubabuulira bwe waliwo omukazi eyamuvuga okumuleeta e Kampala, bambega baamaze kumulaga bujulizi bw'emmotoka enzirugavu eyalabibwa okumpi n'awattirwa omwana ku Ssande.

Ate okumukkirizisa nti omukazi oyo yamuwa ssente 80,000/-, Pasita Ssenyonga yasoose kutegeeza nga Nuwashaba bwe yalina ssente 80,000/- ze yabba awaka.

Ku Lwokuna Nuwashaba yatwaliddwa mu kkooti ku Buganda Road ey'omulamuzi Gladys Kamasanyu n'akola sitatimenti ku bwe yatta omwana.

Kigambibwa nti yattottodde ebyaliwo n'agamba nti omukazi (amannya bambega bagalina) yamuvuze okutuuka e Nateete. Olwo ye Nuwashaba yabadde alina okutambula okugenda ku kizimbe we yabadde alina okusula mu Ndeeba.

Kyokka Nuwashaba yatidde ng'alaba abaserikale n'abantu abatambula be yalowoozezza nti bayinza okumukwata. Kwe kusalawo okutambula okutuuka mu bitundu by'e Kibuye we yasuze mu loogi.

Bambega baazudde nga Nuwashaba amanyi bulungi ebitundu by'e Kibuye ne Makindye kubanga gye yafunira densite gy'akozesa.

Densite yagifunira Masajja ku luguudo oluva e Kibuye okugenda e Busaabala. Pasita Ssenyonga yasoose kutegeeza nga Nuwashaba bwe yaliko ssente ze yafuna n'agulako essimu gye yakozesanga kyokka buli lwe waabangawo abamukubira ng'ava awali abaawaka n'adda ebbali n'ayogera nga tewali amuwulira.

AKKIRIZZA EMISANGO MU MAASO G'OMULAMUZI

Yakoze sitatimenti eya ‘Extrajudicial statement' Eno, ekolebwa abasibe abali ku misango egya nnaggommola ababa bagikkirizza mu maaso ga poliisi nga tebakakiddwa.

Okutwalibwa mu maaso g'omulamuzi okukola sitatimenti baba baluubirira okuggyawo okubuusabuusa okuyinza okuteekebwawo nti abasibe baakakibwa okukkiriza emisango gye batazza. Mu kasenge mwe yakoledde sitatimenti baabaddemu babiri bokka n'omulamuzi Kamasanyu.

Omusibe yasoose kugaana kwogera nga waliwo abaserikale olwo omulamuzi n'abagobamu n'atumya eccupa ya sooda era bakira ayogera amunywa.

Kigambibwa nti mu bikulu bye yayogedde kuliko okwogera abamu ku be yakolagana nabo mu butemu okuli omukazi eyamuvuga mu mmotoka.

Bambega baagambye nti obujulizi obulala bajja kubufuna mu bantu be balondoola okuli omukazi ayogerwako kubanga kiyinzika okuba nga Nuwashaba abamu abaali mu ddiiru naye tabamanyi.

Yayogedde bwe yasala omwana ne bwe yatambuza omulambo okutuuka ku palamenti. Pasita Ssenyonga yategeezezza Bukedde nti yakizudde nga Nuwashaba yagenda ewuwe n'ekigendererwa ky'okutta omwana.

Yamusembeza mu March 2020, ng'alowooza yali amuyamba ng'amulaba ng'aliko ekikyamu. Nuwashaba yali ava Kampala ng'agenda Bushenyi ku bigere oluvannyuma lwa Pulezidenti okulangirira kalantiini olwa corona.

Ssenyonga akitegedde luvavannyuma lwa mwana kuttibwa nti Nuwashaba yali muntu mukyamu.

Bambega baagambye nti mu be babuulirizaako kuliko Ssenyonga ne mukyala we abagambibwa nti enneeyisa yaabwe ereetawo okubuusabuusa oba nga tebaali mu lukwe lwa kusaddaaka mwana waabwe.

Omulambo gwa Faith (ekiwuduwudu n'omutwe) gwabadde gukyali mu ggwanika Mulago.

OMUVUBUKA eyakwatiddwa
n'omutwe gw'omwana ku
palamenti agambye nti aliko be
yakolagana nabo mu ddiiru okuli
omukazi eyamuvuze mu mmotoka
okuva e Masaka okutuuka e
Nateete.
Omukazi yamusasudde 80,000/-
okutwala omutwe ku palamenti.
Joseph Nuwashaba 19,
(emyaka gye gyakakasiddwa
taata we) yakwatiddwa ku
Mmande n'omutwe ku palamenti
ng'agamba nti kyabadde kirabo
ky'atwalira Sipiika Rebecca
Kadaga. Yagusaze ku mwana
Faith Kyamagero 3, (bazadde
be baalaze Bukedde akatikiti
k'obuzaale bwe). Mwana wa Pasita
Charles Ssenyonga ne Gloria
Katunguka ababeera e Kijabwemi
mu Masaka..
Eggulo (Lwakutaano) bambega
bazizzaayo Nuwashaba e Kijabwemi
we yattira omwana abalage
ne bwe yatambuza
omutwe okutuuka ku palamneti.
Ensonda zaagambye nti yabadde
waakujja n'abaserikale mu mmotoka
okuva e Masaka ng'abalaga
we baayita n'ebifo we baayimirira
okutuuka e Kampala.
Bambega baategeezezza nti
Nuwashaba muzibu okuggyamu
ekituufu kubanga akyusakyusa
ebigambo. Kati baasazeewo kukozesa
bukugu baggye amawulire mu
nsonda endala.
Okubabuulira bwe waliwo
omukazi eyamuvuga okumuleeta
e Kampala, bambega baamaze
kumulaga bujulizi bw'emmotoka
enzirugavu eyalabibwa okumpi
n'awattirwa omwana ku Ssande.
Ate okumukkirizisa nti omukazi
oyo yamuwa ssente 80,000/-, Pasita
Ssenyonga yasoose kutegeeza
nga Nuwashaba bwe yalina ssente
80,000/- ze yabba awaka.
Ku Lwokuna Nuwashaba yatwaliddwa
mu kkooti ku Buganda
Road ey'omulamuzi Gladys Kamasanyu
n'akola sitatimenti ku bwe
yatta omwana.
Kigambibwa nti yattottodde
ebyaliwo n'agamba nti omukazi
(amannya bambega bagalina)
yamuvuze okutuuka e Nateete.
Olwo ye Nuwashaba yabadde
alina okutambula okugenda ku
kizimbe we yabadde alina okusula
mu Ndeeba.
Kyokka Nuwashaba yatidde
ng'alaba abaserikale n'abantu
abatambula be yalowoozezza
nti bayinza okumukwata. Kwe
kusalawo okutambula okutuuka
mu bitundu by'e Kibuye we
yasuze mu loogi.
Bambega baazudde nga
Nuwashaba amanyi bulungi
ebitundu by'e Kibuye ne Makindye
kubanga gye yafunira densite
gy'akozesa. Densite
yagifunira Masajja
ku luguudo oluva e
Kibuye okugenda e
Busaabala.
Pasita Ssenyonga
yasoose kutegeeza
nga Nuwashaba
bwe yaliko ssente
ze yafuna n'agulako
essimu gye yakozesanga
kyokka buli
lwe waabangawo
abamukubira ng'ava
awali abaawaka n'adda
ebbali n'ayogera nga tewali
amuwulira.
AKKIRIZZA EMISANGO
MU MAASO G'OMULAMUZI
Yakoze sitatimenti eya
‘Extrajudicial statement'
Eno, ekolebwa abasibe
abali ku misango egya
nnaggommola ababa
bagikkirizza mu maaso ga
poliisi nga tebakakiddwa.
Okutwalibwa mu maaso
g'omulamuzi okukola sitatimenti
baba baluubirira
okuggyawo okubuusabuusa
okuyinza okuteekebwawo
nti abasibe baakakibwa
okukkiriza emisango gye batazza.
Mu kasenge mwe yakoledde
sitatimenti baabaddemu babiri
bokka n'omulamuzi Kamasanyu.
Omusibe yasoose kugaana
kwogera nga waliwo abaserikale
olwo omulamuzi n'abagobamu
n'atumya eccupa ya sooda era
bakira ayogera amunywa.
Kigambibwa nti mu bikulu bye
yayogedde kuliko okwogera
abamu ku be yakolagana nabo
mu butemu okuli omukazi
eyamuvuga mu mmotoka. Bambega
baagambye nti obujulizi
obulala bajja kubufuna mu
bantu be balondoola okuli omukazi
ayogerwako kubanga kiyinzika
okuba nga Nuwashaba
abamu abaali mu ddiiru naye
tabamanyi.
Yayogedde bwe yasala omwana
ne bwe yatambuza omulambo
okutuuka ku palamenti.
Pasita Ssenyonga yategeezezza
Bukedde nti yakizudde nga
Nuwashaba yagenda ewuwe
n'ekigendererwa ky'okutta
omwana. Yamusembeza mu
March 2020, ng'alowooza yali
amuyamba ng'amulaba ng'aliko
ekikyamu. Nuwashaba yali ava
Kampala ng'agenda Bushenyi
ku bigere oluvannyuma lwa
Pulezidenti okulangirira kalantiini
olwa corona.
Ssenyonga akitegedde luvavannyuma
lwa mwana kuttibwa
nti Nuwashaba yali muntu
mukyamu.
Bambega baagambye nti
mu be babuulirizaako kuliko
Ssenyonga ne mukyala we abagambibwa
nti enneeyisa yaabwe
ereetawo okubuusabuusa
oba nga tebaali mu lukwe lwa
kusaddaaka mwana waabwe.
Omulambo gwa Faith
(ekiwuduwudu n'omutwe)
gwabadde gukyali mu ggwanika
Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Poliisi eyongedde Cheptegei...

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa...

Abagoberezi ba Paasita Yiga...

Abagoberezi ba Paasita Yiga Mbizzaayo beeyiye ku ddwaaliro e Nsambya okukakasa oba ddala kituufu omutuufu waabwe...

Emiranga n'ebiwoobe bisaani...

Emiranga n'ebiwoobe bisaanikidde ekkanisa y'omusumba Yiga eyavudde mu bulamu bw'ensi. ...

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...