TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnamateeka mugumu okuwolereza Fik Famaica ku by'okuvvoola abakyala

Munnamateeka mugumu okuwolereza Fik Famaica ku by'okuvvoola abakyala

Added 19th September 2020

MUNNAMATEEKA w’omuyimbi Fik Famaica akubye ebituli mu musango ogw’okukuba oluyimba oluvvoola ekitiibwa ky’abakyala ogwamutwazizza mu kkooti.

Tunuza kkamera ya ssimu yo mu kalambe akali ku kifaananyi okulaba vidiyo.

Tunuza kkamera ya ssimu yo mu kalambe akali ku kifaananyi okulaba vidiyo.


Alaze bwe bateeseteese okuguwoza era agamba singa bawangula ayagala Muky. Praidisia Nagasha eyaloopye omuntu we amuliyirire buwanana.

Fik Famaica ng'amannya ge amatuufu ye Shafi c Walukagga yasoose kwepena okukwata empapula ezimuyita mu kkooti okwewoozaako ku musango gw'oluyimba lwe olwa ‘My Woman my Property' Nagasha lw'agamba nti lulimu obubaka obuvvoola ekitiibwa ky'omukyala kyokka ono kati afunye munnamateeka gw'akwasizza ensonga zino.

Munnamateeka, Derrick Lufunya omu ku beegwanyiza ekifo ky'omubaka wa Lubaga South yategeezezza Bukedde nga bwe bamaze okukung'anya buli kimu ekyetaagisa okuwoza omusango guno era balina essuubi nti bagenda kuguwangula.

"Osobola okuloopa omuntu yenna mu nsi kuba ddembe lyo naye okuwawaabira omuntu oteekeddwa okuba ng'omusango gwo gulimu ensa. Naye bwe weetegereza omusango guno nze ndowooza gumala budde bwa kkooti ate n'omuyimbi wange alina eby'okukola bingi era okumuwaayira nti atyobola ekitiibwa ky'abakyala kiba kikyamu.

Tewali kigambo mu luyimba luno kityoboola bakyala wabula bw'owulira oluyimba l (obwedda lw'ayita hiiti) lusuusuuta omukyala ne lumusussaako ne w'alina okubeera.

Oluyimba luno lumazewo emyaka era okumanya abantu balwagadde nnyo bw'otunuulira abalukozesezza nga baluggya ku mukutu gwa You-tube bagenda kuwera kakadde ate bw'odda ku mikolo n'embaga abalukozesa bangi era bangi lubakoledde bizinensi kale nneewuunya Nagasha ky'ayagala."

Yagasseko nti mu bimu ku bye bagenda okukozesa okuwoza omusango guno lwe luyimba lwa ba P-Square olwa Busy Body ekitegeeza omuntu aba wano ne wali nga talina mulamwa era nti luno lunnyonnyola embeera Nagasha mw'ali.

Nagasha aloopa Fik Famaica, pulodyusa Artin n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumira ku mpewo ekya UCC.

Mu kkooti bagendayo nga December 1, mu maaso g'omulamuzi Musa Ssekana mu kkooti enkulu ewozesa emisango gy'engassi. Ayagala Artin Pro ne Fik Famaica beetondere abakyala n'abawala bonna mu ggwanga mu lwatu ku mikutu gy'amawulire ne "Social media" ate era Fik Famica amuliyirire ssente zonna z'anaaba atadde mu musango guno n'oluyimba luwerebwe.

MUNNAMATEEKA w'omuyimbi Fik
Famaica akubye ebituli mu musango
ogw'okukuba oluyimba oluvvoola
ekitiibwa ky'abakyala ogwamutwazizza
mu kkooti.
Alaze bwe bateeseteese okuguwoza
era agamba singa bawangula ayagala
Muky. Praidisia Nagasha eyaloopye
omuntu we amuliyirire buwanana.
Fik Famaica ng'amannya ge amatuufu
ye Shafi c Walukagga yasoose kwepena
okukwata empapula ezimuyita mu
kkooti okwewoozaako ku musango
gw'oluyimba lwe olwa ‘My Woman
my Property' Nagasha lw'agamba nti
lulimu obubaka obuvvoola ekitiibwa
ky'omukyala kyokka ono kati afunye
munnamateeka gw'akwasizza ensonga
zino.
Munnamateeka, Derrick Lufunya
omu ku beegwanyiza ekifo ky'omubaka
wa Lubaga South yategeezezza Bukedde
nga bwe bamaze okukung'anya
buli kimu ekyetaagisa okuwoza
omusango guno era balina essuubi nti
bagenda kuguwangula.
"Osobola okuloopa omuntu yenna
mu nsi kuba ddembe lyo naye okuwawaabira
omuntu oteekeddwa okuba
ng'omusango gwo gulimu ensa.
Naye bwe weetegereza omusango
guno nze ndowooza gumala budde
bwa kkooti ate n'omuyimbi wange
alina eby'okukola bingi era okumuwaayira
nti atyobola ekitiibwa ky'abakyala kiba
kikyamu.
Tewali kigambo mu luyimba luno kityoboola
bakyala wabula bw'owulira oluyimba
l (obwedda lw'ayita hiiti) lusuusuuta
omukyala ne lumusussaako ne w'alina
okubeera.
Oluyimba luno lumazewo emyaka era
okumanya abantu balwagadde nnyo
bw'otunuulira abalukozesezza nga baluggya
ku mukutu gwa You-tube bagenda
kuwera kakadde ate bw'odda ku mikolo
n'embaga abalukozesa bangi era bangi
lubakoledde bizinensi kale nneewuunya
Nagasha ky'ayagala."
Yagasseko nti mu bimu ku bye bagenda
okukozesa okuwoza omusango guno lwe
luyimba lwa ba P-Square olwa Busy Body
ekitegeeza omuntu aba wano ne wali nga
talina mulamwa era nti luno lunnyonnyola
embeera Nagasha mw'ali.
Nagasha aloopa Fik Famaica, pulodyusa
Artin n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumira
ku mpewo ekya UCC. Mu kkooti
bagendayo nga December 1, mu maaso
g'omulamuzi Musa Ssekana mu kkooti
enkulu ewozesa emisango gy'engassi. Ayagala
Artin Pro ne Fik Famaica beetondere
abakyala n'abawala bonna mu ggwanga
mu lwatu ku mikutu gy'amawulire ne "Social
media" ate era Fik Famica amuliyirire
ssente zonna z'anaaba atadde mu musango
guno n'oluyimba luwerebwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?