TOP

ManU tetidde Crystal Palace

Added 19th September 2020

LEERO (lwamukaaga) zaakudda okunywa batabani ba Ole Gunnar Solskjaer (aba ManU) bwe banaaba balwana okukakasa ensi nti sizoni eno bali ku mulamwa. ManU, ettunka ne Crystal Palace ku Old Trafford.

Pogba owa ManU (ku kkono) ne Zaha owa Palace baddamu leero okusisinkana.

Pogba owa ManU (ku kkono) ne Zaha owa Palace baddamu leero okusisinkana.








Solskjaer, yatuukirizza ekimu ku bisuubizo bye yawa bakama be eky'okuzza ttiimu eno mu Champions League era nga sizoni eno ayagala kuvuganya n'amaanyi ayongere okubakakasa nti ye yekka agisaanira.

Abawagizi ba ManU balina essuubi nti ku luno olwokaano lw'ekikopo terugenda kubeeramu Man City na Liverpool zokka.

Crystal Palace yamalira mu kya 14 sizoni ewedde era yagenda okuggwaako ng'omupiira gwabakeeta dda. Baalemererwa okuwangula emipiira 8 egyaggalawo sizoni nga kw'egyo, baabakubako 7 egy'omuddiringanwa.

ManU ewa essuubi sizoni eno?

Bruno Fernandes, y'ensonga enkulu lwaki aba ManU balina essuubi lingi sizoni eno. Buli omu alinze alabe ekibeerawo nga Fernandes azannye sizoni enzijuvu.

Fernandes yeegatta ku ManU mu January w'omwaka guno sizoni n'agizannyako kitundu kyokka okuva lwe yatuuka ku Old Trafford, abazannyi baddamu okwekkiririzaamu era ne kiyamba ne ttiimu okukiika.

Fernandes yateeba ggoolo 12 mu mipiira 22. Ng'oggyeeko ffoomu Fernandes gye yamalirako sizoni ewedde, enkolagana ye ne Paul Pogba nayo yacamula abawagizi n'omutendesi.

Buli lwe babeera ku kisaawe, olw'okuba bayiiya balungi babasuubiramu emikisa gya ggoolo essaawa yonna.

Ekirala, sizoni yagenda okuggwaako nga Anthony Martial ne Mason Greenwood bateredde. Ggoolo baali bazifuna.

Ku kyoto, Marcus Rashford ye yekka eyali akyabulamu kyokka bwe baba nga banne bonna baaka, abeera asigazza omukisa gumu kulaba nga naye ayaka, awatali ekyo ayinza okufiirwa ennamba.

Ku bino byonna bw'ogattako ekisenge ekinywevu n'olutalo lw'ani agenda okubeera mu ggoolo, ManU eyinza okuba omuliro sizoni eno. ManU yali yaakusatu sizoni ewedde mu Premier mu ttiimu ezaalina ekisenge ekirungi.

Liverpool eyateebwa ggoolo 33 ne Man City (35), ze zaagisinga kuba baagiteeba 36. Mu mipiira 14 egyasembayo mu Premier, ManU baagiteebamu ggoolo 7 zokka.

Dean Henderson yakkirizza okusigala era ManU egenda kubeera ne baggoolokipa 3 ate nga bonna balungi.

De Gea ne bw'anaaba nga y'asigadde akwata emipiira gya Premier, agenda kubeera ku bunkenke nnyo kuba akimanyi nti wonna w'akolera ensobi, Henderson ennamba agiwamba.

Van de Beek anaazannya wa? Mu katale kano, ManU yaakagula omuzannyi omu yekka, Van de Beek. Muwuwuttanyi kyokka asinga kuzannya nnamba 8 ne 10. Mu kiseera kino ennamba ezo zirimu Bruno Fernandes ne Paul Pogba.

Ennamba ennyangu gy'asobola okuyiikiriza y'eya Nemanja Matic (6). Mu nnamba eno, Solskjaer bw'aba tataddeewo Matic, wabeerawo Fred oba Scott McTominay. Omupiira guno gutuuse buli muzannyi mulamu.

Ku kyoto kuliko Rashford, Greenwood ne Martial. Okuggyako nga Solskjaer agenda kusuula omuteebi omu, Pogba afuneko wingi gy'azannya y'engeri yokka Van de Beek gy'ayinza okubeera mu ttiimu eno.

Abeera amakkati agazannya ne Fernandes ne Matic. Ekirala ky'asobola okukola kwe kufiisa Matic olwo n'alwana okulaba nga Van de Beek amanyiira okuzannya nnamba 6 ng'obudde bukyali.

Singa bino byonna bigaana, Van de Beek ajja kuba asigazza kuva ku katebe. Palace yeefunira ManU sizoni ewedde Oluvannyuma lw'okumala emipiira 25 nga Crystal Palace tekuba ManU, sizoni ewedde batabani ba Solskjaer baagwa ku kyokya bwe yabagwira mu Old Trafford n'ebakuba.

Guno gwe gwali omulundi gwabwe ogusooka okuva mu 1991, okukuba ManU era omulundi ogwokusatu mu byafaayo bya ttiimu eno.

Jordan Ayew ye yasooka okuteeba kyokka Daniel James n'afunira ManU ey'ekyenkanyi mu ddakiika y'e 89 oluvannyuma lwa Rashford okusubwa peneti. Baali baalowooza nti bikomye awo, Van Aanholt n'abakuba vva ku ssente mu y'e 93.

Kati mwaka mulamba bukyanga kino kibeerawo era aba ManU bagamba nti ttiimu yaabwe gye balina kati tesobola kukkiriza ekyo kuddamu kubaawo.

LEERO (lwamukaaga) zaakudda

okunywa batabani ba Ole Gunnar

Solskjaer (aba ManU) bwe

banaaba balwana okukakasa ensi

nti sizoni eno bali ku mulamwa.

ManU, ettunka ne Crystal Palace

ku Old Trafford. Solskjaer, yatuukirizza

ekimu ku bisuubizo bye yawa

bakama be eky'okuzza ttiimu eno

mu Champions League era nga

sizoni eno ayagala kuvuganya

n'amaanyi ayongere okubakakasa

nti ye yekka agisaanira. Abawagizi

ba ManU balina essuubi nti

ku luno olwokaano lw'ekikopo

terugenda kubeeramu Man City

na Liverpool zokka.

Crystal Palace yamalira mu kya

14 sizoni ewedde era yagenda

okuggwaako ng'omupiira gwabakeeta

dda. Baalemererwa okuwangula

emipiira 8 egyaggalawo

sizoni nga kw'egyo, baabakubako

7 egy'omuddiringanwa.

ManU ewa essuubi sizoni eno?

Bruno Fernandes, y'ensonga

enkulu lwaki aba ManU balina

essuubi lingi sizoni eno. Buli

omu alinze alabe ekibeerawo

nga Fernandes azannye sizoni

enzijuvu. Fernandes yeegatta ku

ManU mu January w'omwaka

guno sizoni n'agizannyako kitundu

kyokka okuva lwe yatuuka ku

Old Trafford, abazannyi baddamu

okwekkiririzaamu era ne kiyamba

ne ttiimu okukiika. Fernandes

yateeba ggoolo 12 mu mipiira 22.

Ng'oggyeeko ffoomu Fernandes

gye yamalirako sizoni ewedde,

enkolagana ye ne Paul Pogba nayo

yacamula abawagizi n'omutendesi.

Buli lwe babeera ku kisaawe,

olw'okuba bayiiya balungi babasuubiramu

emikisa gya ggoolo

essaawa yonna.

Ekirala, sizoni yagenda okuggwaako

nga Anthony Martial ne

Mason Greenwood bateredde.

Ggoolo baali bazifuna. Ku kyoto,

Marcus Rashford ye yekka eyali

akyabulamu kyokka bwe baba

nga banne bonna baaka, abeera

asigazza omukisa gumu kulaba

nga naye ayaka, awatali ekyo

ayinza okufiirwa ennamba.

Ku bino byonna bw'ogattako

ekisenge ekinywevu n'olutalo

lw'ani agenda okubeera mu ggoolo,

ManU eyinza okuba omuliro

sizoni eno. ManU yali yaakusatu

sizoni ewedde mu Premier mu

ttiimu ezaalina ekisenge ekirungi.

Liverpool eyateebwa ggoolo 33 ne

Man City (35), ze zaagisinga kuba

baagiteeba 36. Mu mipiira 14

egyasembayo mu Premier, ManU

baagiteebamu ggoolo 7 zokka.

Dean Henderson yakkirizza okusigala

era ManU egenda kubeera

ne baggoolokipa 3 ate nga bonna

balungi. De Gea ne bw'anaaba

nga y'asigadde akwata emipiira

gya Premier, agenda kubeera ku

bunkenke nnyo kuba akimanyi nti

wonna w'akolera ensobi, Henderson

ennamba agiwamba.

Van de Beek anaazannya wa?

Mu katale kano, ManU yaakagula

omuzannyi omu yekka, Van de

Beek. Muwuwuttanyi kyokka

asinga kuzannya nnamba 8 ne

10. Mu kiseera kino ennamba

ezo zirimu Bruno Fernandes ne

Paul Pogba. Ennamba ennyangu

gy'asobola okuyiikiriza y'eya

Nemanja Matic (6). Mu nnamba

eno, Solskjaer bw'aba tataddeewo

Matic, wabeerawo Fred oba Scott

McTominay.

Omupiira guno gutuuse buli muzannyi

mulamu. Ku kyoto kuliko

Rashford, Greenwood ne Martial.

Okuggyako nga Solskjaer agenda

kusuula omuteebi omu, Pogba

afuneko wingi gy'azannya y'engeri

yokka Van de Beek gy'ayinza

okubeera mu ttiimu eno. Abeera

amakkati agazannya ne Fernandes

ne Matic. Ekirala ky'asobola

okukola kwe kufiisa Matic olwo

n'alwana okulaba nga Van de Beek

amanyiira okuzannya nnamba 6

ng'obudde bukyali. Singa bino

byonna bigaana, Van de Beek ajja

kuba asigazza kuva ku katebe.

Palace yeefunira ManU

sizoni ewedde

Oluvannyuma lw'okumala

emipiira 25 nga Crystal Palace

tekuba ManU, sizoni ewedde

batabani ba Solskjaer baagwa ku

kyokya bwe yabagwira mu Old

Trafford n'ebakuba. Guno gwe

gwali omulundi gwabwe ogusooka

okuva mu 1991, okukuba ManU

era omulundi ogwokusatu mu

byafaayo bya ttiimu eno. Jordan

Ayew ye yasooka okuteeba kyokka

Daniel James n'afunira ManU

ey'ekyenkanyi mu ddakiika y'e

89 oluvannyuma lwa Rashford

okusubwa peneti. Baali baalowooza

nti bikomye awo, Van

Aanholt n'abakuba vva ku ssente

mu y'e 93. Kati mwaka mulamba

bukyanga kino kibeerawo era aba

ManU bagamba nti ttiimu yaabwe

gye balina kati tesobola kukkiriza

ekyo kuddamu kubaawo.

LEERO (lwamukaaga) zaakudda

okunywa batabani ba Ole Gunnar

Solskjaer (aba ManU) bwe

banaaba balwana okukakasa ensi

nti sizoni eno bali ku mulamwa.

ManU, ettunka ne Crystal Palace

ku Old Trafford. Solskjaer, yatuukirizza

ekimu ku bisuubizo bye yawa

bakama be eky'okuzza ttiimu eno

mu Champions League era nga

sizoni eno ayagala kuvuganya

n'amaanyi ayongere okubakakasa

nti ye yekka agisaanira. Abawagizi

ba ManU balina essuubi nti

ku luno olwokaano lw'ekikopo

terugenda kubeeramu Man City

na Liverpool zokka.

Crystal Palace yamalira mu kya

14 sizoni ewedde era yagenda

okuggwaako ng'omupiira gwabakeeta

dda. Baalemererwa okuwangula

emipiira 8 egyaggalawo

sizoni nga kw'egyo, baabakubako

7 egy'omuddiringanwa.

ManU ewa essuubi sizoni eno?

Bruno Fernandes, y'ensonga

enkulu lwaki aba ManU balina

essuubi lingi sizoni eno. Buli

omu alinze alabe ekibeerawo

nga Fernandes azannye sizoni

enzijuvu. Fernandes yeegatta ku

ManU mu January w'omwaka

guno sizoni n'agizannyako kitundu

kyokka okuva lwe yatuuka ku

Old Trafford, abazannyi baddamu

okwekkiririzaamu era ne kiyamba

ne ttiimu okukiika. Fernandes

yateeba ggoolo 12 mu mipiira 22.

Ng'oggyeeko ffoomu Fernandes

gye yamalirako sizoni ewedde,

enkolagana ye ne Paul Pogba nayo

yacamula abawagizi n'omutendesi.

Buli lwe babeera ku kisaawe,

olw'okuba bayiiya balungi babasuubiramu

emikisa gya ggoolo

essaawa yonna.

Ekirala, sizoni yagenda okuggwaako

nga Anthony Martial ne

Mason Greenwood bateredde.

Ggoolo baali bazifuna. Ku kyoto,

Marcus Rashford ye yekka eyali

akyabulamu kyokka bwe baba

nga banne bonna baaka, abeera

asigazza omukisa gumu kulaba

nga naye ayaka, awatali ekyo

ayinza okufiirwa ennamba.

Ku bino byonna bw'ogattako

ekisenge ekinywevu n'olutalo

lw'ani agenda okubeera mu ggoolo,

ManU eyinza okuba omuliro

sizoni eno. ManU yali yaakusatu

sizoni ewedde mu Premier mu

ttiimu ezaalina ekisenge ekirungi.

Liverpool eyateebwa ggoolo 33 ne

Man City (35), ze zaagisinga kuba

baagiteeba 36. Mu mipiira 14

egyasembayo mu Premier, ManU

baagiteebamu ggoolo 7 zokka.

Dean Henderson yakkirizza okusigala

era ManU egenda kubeera

ne baggoolokipa 3 ate nga bonna

balungi. De Gea ne bw'anaaba

nga y'asigadde akwata emipiira

gya Premier, agenda kubeera ku

bunkenke nnyo kuba akimanyi nti

wonna w'akolera ensobi, Henderson

ennamba agiwamba.

Van de Beek anaazannya wa?

Mu katale kano, ManU yaakagula

omuzannyi omu yekka, Van de

Beek. Muwuwuttanyi kyokka

asinga kuzannya nnamba 8 ne

10. Mu kiseera kino ennamba

ezo zirimu Bruno Fernandes ne

Paul Pogba. Ennamba ennyangu

gy'asobola okuyiikiriza y'eya

Nemanja Matic (6). Mu nnamba

eno, Solskjaer bw'aba tataddeewo

Matic, wabeerawo Fred oba Scott

McTominay.

Omupiira guno gutuuse buli muzannyi

mulamu. Ku kyoto kuliko

Rashford, Greenwood ne Martial.

Okuggyako nga Solskjaer agenda

kusuula omuteebi omu, Pogba

afuneko wingi gy'azannya y'engeri

yokka Van de Beek gy'ayinza

okubeera mu ttiimu eno. Abeera

amakkati agazannya ne Fernandes

ne Matic. Ekirala ky'asobola

okukola kwe kufiisa Matic olwo

n'alwana okulaba nga Van de Beek

amanyiira okuzannya nnamba 6

ng'obudde bukyali. Singa bino

byonna bigaana, Van de Beek ajja

kuba asigazza kuva ku katebe.

Palace yeefunira ManU

sizoni ewedde

Oluvannyuma lw'okumala

emipiira 25 nga Crystal Palace

tekuba ManU, sizoni ewedde

batabani ba Solskjaer baagwa ku

kyokya bwe yabagwira mu Old

Trafford n'ebakuba. Guno gwe

gwali omulundi gwabwe ogusooka

okuva mu 1991, okukuba ManU

era omulundi ogwokusatu mu

byafaayo bya ttiimu eno. Jordan

Ayew ye yasooka okuteeba kyokka

Daniel James n'afunira ManU

ey'ekyenkanyi mu ddakiika y'e

89 oluvannyuma lwa Rashford

okusubwa peneti. Baali baalowooza

nti bikomye awo, Van

Aanholt n'abakuba vva ku ssente

mu y'e 93. Kati mwaka mulamba

bukyanga kino kibeerawo era aba

ManU bagamba nti ttiimu yaabwe

gye balina kati tesobola kukkiriza

ekyo kuddamu kubaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...