
Amyuka Cansala wa Makerere University Polof. Barnabas Nawangwa atuuse ku ofiisi y'ebyensimbi n'evunaanyizibwa ku bakozi ku kizimbe ekikulu ekya Ivory Tower ekyakutte omuliro mu kiro ky'Olwomukaaga.
Nawangwa ategeezeza nti kuno kusoomoozebwa kwamaanyi nga yunivaasite yeetegekera okuweza emyaka 100.
Akakasizza nti ofiisi okuli y'ebyensimbi n'evunaanyizibwa ku bakozi zonna zaasaanyewo.
Omuliro guno tegunnamanyika kituufu kwe gwavudde era poliisi ekyagenda mu maaso n'okuguzikiriza.


